Leero lubadde lunaku lwakulimba naye nga bangi balwogerako bingi
Abamu lubanyiiza okuba nti ssi lwakuwummula abalala ate abalala nti luggwaako lutya essaawa omukaaga
Naye obadde okimanyi nti abamu olunaku luno lubanyiiza kubanga kizibu okwesiga omuntu yenna by’akugamba.
Ate waliwo abagamba nti bbo bakoowa abantu abeekola obusolo kubanga bubanyiiza bunyiiza
Kati ggwe eyalimbye ogwa wa…..kyewakoze omuntu kyamusanyusizza oba yakwetamiddwa
Eky’okuddamu nze…
Omwana asitula obuzito ku myaka 8 gyokka yewunyisizza bangi
Brandon okuva mu ggwanga lya Ireland azimbye akanyama era ng’asinga abasajja bangi omuli n’abasitula obuzito buno nga bakulu
Ebifanyi bye ebiri ku mutimbagano kati bitambula okukira oluyiira era bangi babirabye
Omugenzi Paul Kafeero yayimba nti eyayiiya omwenge asobola.
Mu ggwanga lya japan omusajja anywedde omwenge nagangayira nagwa mu luguudo lw’egaali y’omukka agenze okudda engulu nga okugula talina.
Ono akubye emiranga egisombodde abantu naye nga yenenya yekka
Embwa erina amagulu abiri ekubye obulatti nga bagitutte out muli omu nekimuggwaako.
Embwa eno erabiddwaalp ng’ecacanca nga bweyekuba mu musenyu gw’olubalama lw’enyanja
Embwa eyogerwaako atambulira mu kagaali oluvanyuma lw’okugitema amagulu g’emabega ng’ekyaali nto.
Abaana abato bwebabazzaako bakitwala mu ngeri ya njawulo.
Abamu basanyuka ate abalala bayisibwa bubi era nebakyayiira ddala bato baabwe
Kati nno mu ggwanga lya America, omwana omulenzi gwebazizzaako omuwala omulundi ogw’okubiri akubye emiranga egimazeeko bakadde be ebyewungula
Bakadde b’omwana ono bakoze keeki mu ngeri y’okujaguza wabula bwebamubuulidde nti muto we muwala akaabye amaziga nga bw’awogganira waggulu nti akooye…
Emmese eyakula n’ewola alesezzaawo abantu ekiyungu kyaabwe mu ggwanga lya Sweden
Emmese eno ebadde okumanya nene ebadde efubutula ne kkapa y’ewaka n’edduka
Omwami agambye nti mukyala we y’amukubidde essimu ng’ali ku mulimu n’amubuulira ku mmese eno era mu kusooka asoose kubiyita bya lusaago kyokka okugituukako kimuweddeko
Omusajja ono agambye nti ekisinze okumutiisa y’emmese eno okumutunuulira nga temujjaako maaso…
Abantu abawakanira ebintu ebitali bimu tebaggwa
Ono wa nzaalwa ya Romania ng’asibye ensimbi nti asobola okumira fooko ekozesebwa okulya emmere.
Radu ow’emyaka 25, addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lwa fooko okumwekiika n’atandika okwenyoola.
Abasawo abalese banyeenya mitwe oluvanyuma lw’okumwekebejja nebalaba fooko ng’eremedde mu bulago.
Kati abantu abamu tobanyumiza kutya nga baagala okukola ssente.
Mu ggwanga lya Buyindi omusajja aguze ettaka okuli amalaalo nasalawo okugalekamu olwo nazimba ekiriiro ky’emmere nga gali munda.
eKiriilo kino kiri mu kibuga Ahmadabad era eno kusinga wagendayo baba bafa njala.
Kati kirabika abeeno ebyokutya abafu byebavako.
Buli muzadde alina engeri gy’abubiramu omwana we ate nga bwegutuuka ku basajja n’abaana baabwe abawala gujabagira
Basing kweralikirira basajja abayinza okubakwata mu maaso.
Kati ono omuzadde yatuuzizza muwala we ow’emyaka 3 okumukakasa nti abasajja babi
Yamusabye addemu by’ayogera ng’amugamba nti bw’anaakula tajjakufuna musajja.
Omwana ono yazzeemu butlungi kyokka weyatuuse ku ky’okufuna omusajja n’akayaanya taata we ng’agamba nti nedda takikkiriza
Abalabye…
Waliwo enjogera egamba nti buli omu kyalina kyaseera.
Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omuwala asoma obusawo asazeewo yerange ku mukutu gwa yintaneti omusajja anasinga okuva e kasawo y'aba abuuka nekimeeme ye.
Omuwala ono agamba talabanga ku musajja yenna era analoza ku ssanyu lye nga bikira alina kusola nsimbi ziwerako.
Embooko y’omuwalo ono omubalagavu Elizabeth Raine, agamba asuubira okweyolera…