Enjogera y’ekisa kitta etuukidde bulungi ku mboozi eno,
Mu ggwanga lya Germany, omukyala atutte endogoyi ewuwe okugiwonya omuyaga yejjusa
Endogoyi eno egaanye okuddayo ewaabwe waayo
Omukyala ono agambye nti alabye ng’omuyaga guno guyinza okweera endogoyi eno negujiviirako okufa era bw’atyo kwekugyetikka okutuusa ewuwe
Endogoyi eno asiiba yeeyagalira mu nju ey’ebbeeyi era nga Kati erya ne ku mmere y’abantu
Sebo endogoyi…
Omukyala ono atabuse nga ssi nsonga ndala wabula Kaboozi
Ashley Marie Prenovost, 24, nga wa mu kibuga Arizona, akanyizza kusendasenda bba nga talina ky'akola era ky'akoze kukwata mwana waabwe ow'emyezi ena n'adduka naye ngabw'awogganira waggulu nti bamummye akaboozi.
Mu Kwecakula kuno, omwana ono akubye omutwe ku ndabirwaamu n'alumizibwa
Ono era afunye ebisago kubanga akubye ekisenge ebikonde, era nga…
Abantu bangi naddala abagoba b’emmotoka bangi obasanga nga bawanda abapoliisi olulusu
Bangi bakoma wano naye ssi bangi eri ono abeera mu Kyrgyzstan.
Ono yayimiriziddwa owa poliisi era naye n’ayimirira wabula nageze azze mu maaso g’emmotoka n’asimbula
Mu kwewala okukoonebwa, omupoliisi abuukidde emmotoka neyenywereza ku bonnet kyokka tekirobedde mugoba wa motoka kugenda mu maaso.
Mu ggwanga lya Japan abasajja 9000 beyambudde engoye nebatandika okulwanira obuti bubiri obugambibwa okubeera obw’omukisa.
Bino bibeerawo buli mwaka nga abasajja bagyamu engoye nebalwanira obuti buno obuyitibwa shingi obugambibwa okubeera obw’omukisa enyo.
Entujjo eno yakamala emyaka 500 nga yeetabwamu abajapani bano.
Ebyewunyisa tebiggwa munsi naye mu ggwanga lya Brazil namukadde ow’emyaka 84 asangiddwamu omwana atanazalibwa mu lubuto lwe nga yakamalamu emyaka 44.
Namukadde ono agamba nti yali amanyi olubuto lwavaamu kubanga omwana yali takyekyuusa.
Wabula yatandise okulumwa ebisa nga ate ku kyalo tekulu basawo batendeke kwekusalawo okwolekera eddwaliro lya Porto Nacional eno gyebakamutemedde nga bwalina omwana munda.
Ono olumaze…
Abantu bangi balwaawo nga tebaliiko bagalana era nga bawulira okiwuubulo emirundi mingi nga tebalina ababeezabeeza
Kati nno abazungu engeri gyebayiiya buli kimu bayiyiiza ka pillow akaliko n’emimwa abatalina bagalwa kebanakozesanga okweyigiriza oba obuterebira bwebanywegeera
Bu pillow buno bukoleddwa mu kibuga Florida ekya America nga buyamba ko abo abamenyeka emitima nabatamanyi kunywegeera
Akoze bu pillow buno agambye nti abukoledde…
Ekigambo kwetonda kizibu nyo era bangi kibalema.
Naye wali wevuddemu newetonda kyokka omuntu n’atakusonyiwa.
Kati yyo kkapa eyasazeewo okwetondera ginaayo n’egaana okugisonyiwa kata afe ekisungu.
Kkapa eno esoose kukkakkana neyekulukuunya ku ginaayo mu ngeri y'okwetonda kyokka nga eringa efuuyira endiga omulere.
Kalabye biri bityo nekecanga, akabadde ketonda ate nekatandika okukakwagula mu ngeri y’okulaga essungu.
Ng’olunaku lwa Valentayini lusigaddeko olunaku lumu lwokka, abagaazi b’emizannyo abatasobola kugyerekereza bazze n’agaabwe
Bayiiyiiza kawale akaliko n’akaleega akaliko ebigambo ebisikiriza
Buno bugenda kwambalwa bannabyamizannyo mu America okusikiriza abalala okugenda er baganzi baabwe
Akoze obupale uno agambye nti ebigambo ebissiddwa ku bupale buno ebisendasenda bisobola kumenya omutima gw’omuntu abadde mu mizannyo n’adda eri muganzi we.
Ekigendererwa kusikiriza bantu kuba na…
Tiimu y’eggwanga lya Iran ey'abakyala ey’omupiira egobye abantu 4 ku tiimu eno lwakusangibwa nga balina ebitundu by’ekyama eby'abasajja n’eb'yabakyala.
Bano bewozezaako nga bwebewulira nga abakyala era bagenda kulongosebwa basigale n’obwerere obwa bakyala naye nga buterere.
Wabula abakulira tiimu eno babasuubizza okubazza ku tiimu amangu ddala nga bamaze okubalongoosamu obukyala.
Abazungu tebaggwa kuyiiya era nga bakozesa buli mukisa
Kati bbo abalina ettaka elyetolodde enguudo z’eggali z’omukka bagaanye okufiirwa nga balizimbyeemu enyumba
Enyumba eno kati etundibwa ku bukadde bwa pawunda 2 kyokka nga bw’obeera ku lubalaza lwaayo osobola okubuuka n’ogwa ku nyonyi.
Abagiranga bagamba nti tetawaanya nga nebwooba okooye obuuka katono n’ogwa ku gaali y’omukka n’ekutwaala
Kino kyebayita okuyiiya n’obutakkiriza…