Olwali

embwa efunye engatto

Ali Mivule

January 29th, 2014

No comments

Abaganda bagamba nti buli mbwa n’olwaayo. Akagero kano katuukidde ku mbwa eyambadde engatto  omulundi ogusoose Embwa eno bakama baayo bagyigulidde engatto olw’omuzira oguusukkiridde mu kibuga New York kyokka ng’erabiddwaako nga yonna acacanca nga bw’edduka okwetoloola enyumba.

Ono omukwano gumusudde eddalu

Ali Mivule

January 27th, 2014

No comments

Abantu bakola obumodi obutali bumu okusanyusa baganzi baabwe. Kati yye omuvubuka abadde ayagala okusaba muganzi we okumukkiriza amufumbirwe abiyingizizzaamu poliisi. Mat van ateesezza n’aba poliisi nebamukwata ne muganzi we nga batambulira mu mmotoka . Babasanze batambula nebamusikayo  mu motoka era wano omuwala n’atandikirawo okukaaka. Wano […]

Owa Man U yekyaaye

Ali Mivule

January 25th, 2014

No comments

Omusajja abadde yesiye amagengere akubidde poliisi essimu ng’ayomba Ono asoose kubasaba nti ayagala kwogera ne Ferguson era bwebamwirisizza n’abatandikako Akulira poliisi mu Kibuga Manchester agambye nti kiba kya nnaku nyo ng’omuntu tiimu ye ewanguddwa kyokka nga’okukuba essiimu yaabwe ssi kye ky’okuddamu

Abanja za ssaala ze

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Waliwo omusajja enzaalwa ya South Africa akubye kkampuni y’amasanyalaze mu mbuga z’amateeka ng’alumiriza nti essaala ze zeezalemezaako amasanyaalaze mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ezaali mu ggwanga lino mu mwaka 2010. Omusajja ono ayagala aba Eskom ababunya amasanyalaze mu South Africa bamusasule obukadde 250 olw’essaala ze […]

Ono omukka ogujjuza emipiira aguyisa mu nyindo

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Ebyewunyisa tebiggwa mu nsi. Omusajja ow’emyaka 61 mu ggwanga lya China yeegulidde erinnya lwakukozesa nyindo ye kufuuwa mukka mu mipiira. gwe gy’ogendera ku masundiro g’amafuta okupika omukka mu mipiira yye addira nyindo ye n’atandika okusikuma ommukka era wayita mbale omupiira guno nga gujjudde Nie Yongbing […]

Bu kkapa bwambala jiini

Ali Mivule

January 22nd, 2014

No comments

Abantu bangi balina ebisolo naye nga tebamanyi ngeri yakubisanyusa Obadde okimanyi nti teri kisanyusa kkapa nga kwambala jiini Bu kkapa buno kizuuliddwa nti bwagala nnyo okwambala jiini nga zisibiddwaamu n’omusipi nga buli bwebutambula nga bugikulula ee, esanyu nerikirako omwookyi wa gonja Gujabagira ssinga bu kkapa […]

yeloopye yekka

Ali Mivule

January 22nd, 2014

No comments

Omusajja poliisi gw’ebadde ewenja yewaabye yekka bw’assizza ekifananyi kye lu mukutu gwa facebook mu butanwa Anthony James abadde ayiggibwa okuva omwaka oguwedde kyokka nga wayise eddakiika 45 zokka okumukwata bw’atadde ekifananyi ku facebook Omusajja ono abadde ayiggibwa ku bigambibwa nti aliko omusajja gweyakuba

Ebibumbe biwanuddwaayo

Ali Mivule

January 22nd, 2014

No comments

Mu china ebibumbe 2 nga biri bwerere biwanuddwa ku kifo ekiribwaamu emmere  ekimu lw’abantu kwekubira enduulu mu b’obuyinza. Ebibumbe bya ba Budha bino nanyini kiriiro yali yabiwanika ku kasolya k’ekiriro kye wabula banansi bategezezza nti kuno kujooga kwenyini okwambula Budha abantu abangi gwebakiririzamu n’okugoberera ediini […]

Ono asomye ekirango kye

Ali Mivule

January 21st, 2014

No comments

Okufa buli omu akumanyi nti gyekuli naye nga teri ayagala kukola kiraamo yadde okukkiriza nti atuuse okufa Mu ggwanga lya Sweden omusajja ow’emyaka 81 afunye obutakkaanya ne famile ye asazeewo kubasomera kiraamo kye Omusajja ono abadde ku ndiri , abenganda ze balowozezza nti afudde kwekukima […]

ono ayoya

Ali Mivule

January 16th, 2014

No comments

Abantu booya ebintu bingi omuli ebbumba , kaawa n’ebiralala naye ate ono asusse Okukyala ono bw’akwata kun appi erimu omusulo asulawo busuzi Omukyala ono abeera mu kibuga queen muu newyork agamba nti tasobola kumala ssaawa nga tasise ku musolo era nga nappy gy’ekoma okunnyikira naye […]