Olwali

Namukadde taggwa ku mpagala

Ali Mivule

January 15th, 2014

No comments

Omukyala akuzizza emyaka ekikumi ekimazeeko buli omu b’apangisizza abantu abazina nga bali bukunya okusanyusa abagenyi be. Doris on ono atambulidde mu motoka kika kya Limosine okutuuka ku kabala w’atadde emikolo gye Atambudde n’akazigo kebasiiga abaana abato kebasoose okumukolesaako masaagi olwo n’asooka anyumira abazina obukunya abasajja […]

Mukozese ba muzibe

Ali Mivule

January 14th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Norway waliwo kkampuni ekoze akalango nga kakubiriza abantu okukozesa ba muzibe . Akalango kano kooleka abagaala na babiri nga basinda omukwano kyokka ng’omukozi waabwe tabalaba era bamala ebyaabwe buli omu n’akola ebibye Akalango kano kagamba nti oyagala kwewala ngambo, kozesa muzibe, tojja […]

Yejjusa okwawukana ne bba

Ali Mivule

January 13th, 2014

No comments

Omukyala enzaalwa ye Bungereza akubye bannamateeka be mu kooti ng’abalanga butamubuulira nti okussa emikono ku kiwandiiko ky’okwawukana ne bba kyaali kyakukosa obufumbo bwe. Jane agamba nti bannamateeka be tebamubuulira kabi kali mu kussa mukono ku kiwandiiko ekibawukanya ne bba Omukyala ono agamba nti mu katuliki […]

Atamanyi kuwuga atuuyanye zikala

Ali Mivule

January 8th, 2014

No comments

Kati bbyo ebyewunyisa tebiggwa mu nsi. Omusajja abadde tasobola kuwuga atuuyanye nga bwezikala ejjego bwerikubye eryaato kw’abadde mu ggwanga lya Taiwan. Ono ekimuyambye nti amaaso agakubye ku kibaawo ekigambibwa okuba ekya ssaduuko y’abafu era kuno kweyerippye okumala ennaku 2. Ono nno ssi muvubi kyokka nga […]

Ka goonya kabasattizza

Ali Mivule

January 8th, 2014

No comments

Kubamu akafananyi ng’obadde owuga n’alaba goonya ng’eri mu kidiba ky’olimu. Mu ggwanga lya Australia, gibadde misinde ate abalala batuuse n’okunywa amazzi okukirako ebyenyanja bwebalabye ka goonya nga kawuga nabo mu mazzi. Omusajja abadde awuga y’asoose okulaba ka goonya kano era n’asooba mpola kyokka nga bw’akoonye […]

Ampangisizza abanoonya omusajja amukwaanye

Ali Mivule

January 7th, 2014

No comments

Omukyala abadde anoonya omusajja gw’asisinkanye kyokka n’atamujjaako namba ya ssimu apangisizza kyaalo kiramba okunoonya omusajja ono Omukyala ono omusajja gw’anoonya amusisinkanye ku mukutu gwa yintaneti mu baala bw’abadde atunda Omukyala ono akuzisizza n’ebipande ng’alanga omusajja amubuzeeko n’asaba amumanyi amubuulire oba ye kenyini omusajja bw’aba abirabye […]

Asobedde abantu

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Wali olabyeeko omuntu agudde ku kabenje ng’alogotaana. Kati nno ono omukyal avudde ku ndogoyi n’agwa wansi kyokka ng’oluzze engulu ng’ayogera lulimi lulala nnyo. Omukyala ono ow’emyaka 50 mugenyi mu ggwanga lya Scotland era ng’olulimi lwaayo abadde talumanyi kyokka kibaweddeko bw’azze engulu ng’alusaza budinda Abasawo bamaze […]

Ono anywedde muka

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Abakyakaze bangi obasanga ekiro nga beepena poliisi olw’ensonga nti baba bayiyeemu ku twenge Abantu okuvuga nga batamidde tekiri Uganda wokka nga mu ggwanga lya America,  waliwo gwebakutte nga gw’anywedde gwo muzibu. Omuvubuka ono Carter alemeredde n’okufuuwa mu kawunyemu nga tasobola kusika mukka Abapoliisi basazeewo okupima […]

Atuuse ku ntikko n’alemerayo

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Abazigera babiraba nti eby’embi bisekerwa Mu ggwanga lya America omukyala abadde ne muganzi we mu ssanyu kimuweddeko bw’alemedde mu mbeera y’okutuuka ku ntikko okumala essaawa ssatu. Ebitandise nga bya ssanyu gafuuse amaziga era muganzi we alabye biri bityo namuddusa mu ddwaliro. Omukyala ono ategerekese nga […]

Kawo abizadde

Ali Mivule

January 3rd, 2014

No comments

Kati ebiseera ebisinga abagalana balayira nti mu bulungi ne mu bubi era nebalayira buli omu okugumikiriza munne. Omukyala mu ggwanga lya Kuwait asazeewo ayawukane ne bba gweyakafumbirwa kati wiiki emu lwabutamanya kuliisa fooko. Ono mu kifo ky’okuliisa kawo  fooko yasazeewo amuliise mugaati omukyala nava mumbeera. […]