Olwali
Yakatambula emyaka 10
Abakola ebyamagero tebaggwa mu nsi Omusajja enzaalwa ye China okutambula kumusingira okudduka Ono kati awezezza emyaaka etaano ng’atambula Ono nno yali mukungu mu gavumenti kyokka n’alekulir aera okuva olwo yatandika okutambula ng’ava kyaalo ku kyaalo ku bigere era kati myaka 10 ng’akola. Ono atambula n’ensawo […]
Ono baaba Yeekaza
Kubamu akafananyi nga muwezezza emyaka etaano ne muganzi wo nga mwagalana. Oyiiya eky’okukola ekyenjawulo okugezesa mukyala wo era ekikujjira kyakumulimba nti oyagala akusonyiwe kubanga oliko omuwala oba omusajja gwewayagala . Kino okikola kugezesa mukyala wo oba balo kyokka nga naye akugamba nti naye ayagala omusonyiwe […]
Lunkumpe yeeyisizza kigagga
Omukyala eyagabira lukumpe ataliiko w’asula essimu kimuweddeko, lunkumpe ono bw’agikomezzaawo. Omukyala ono nno okugaba essimu teyakigenderera nga yakikola mu butanwa yagyerabira mu mugugu gweyagaba. Lunkumpe ono agambye nti mu kifo ky’okubba essimu eno, kimulumirizza okulaba nti essimu eno egizzayo eri nyini yo era ng’akikoze. Wano […]
Embizzi eyingidde ebyafaayo
Mu ggwanga lya Bungereza waliwo embizzi eyingidde mu bitabo by’ebyafaayo lwa kuzaala obwana 27 mu myezi mwenda Embizzi eno yazaala obwana 11 mu mwezi gw’okubiri nga kati yazade obulala 16 ssabiiti ewedde Embizzi eno amanyiddwa nga Daisy ya myaka 2
Abakunganyizza okusaba omukwano
Omusajja amaze ssabiiti mukaaga nga yetegeka kusaba muganzi we okumufumbirwa kyadaaki akikubyeewo Lee Vernon apamgisa kwaaya namba , abazinyi kko n’abakumba nga balina bandi nga bano bayise ku nguudo ezitali zimu Bano obwedda buli gyebayita ng’abantu era batuukidde w’abadde ne muganzi we , bwaatyo afukamidde […]
ow’engalo 12 yekyaaye
Omusajja eyazaalwa n’engalo 12 afuuse ensonga Ono bw’omussa ku komputa awandiika ebigambo 100 mu ddakiika emu Vijay Singh ng’alina n’ebigere 12 ateekateeka kusenguka okuva e Buyindi okudda mu Bungereza oluvanyuma lw’okulemererwa okufuna omulimu mu ggwanga lye. Omusajja ono agambye nti yakasaba emirimu egisoba mu 50 […]
Awaabye ku poliisi bamusibye
Bulijjo bagamba nti ssi kirungi kweyingiza mu bitakwatako, Kakati mu kibuga Florida, omukyala eyakubidde poliisi amasimu g’okumukumu ng’awaaba abantu ababadde batamiridde mu baala nebafuuka ebyeneena ate yye gwebasibye Omukyala ono ow’emyaka 58 avunaaniddwa gwakumalira poliisi budde Poliisi egambye nti ebbaala ebeera mu banywi era bamala […]
Keeki y’emitwe
Embaga kafuuka kaseera kakukola kyanjawulo era kino tekikoma mu Uganda wokka Mu ggwanga lya Bungereza, abagole bakoze keeki mu bifananyi by’emitwe gyaabwe nga gitemeddwaako gibunye omusaayi okulaga nti kufa kwekuli bawukanya Omugole omukyaala mufumbi wa keeki era nga yamaze essaawa 40 ng’ajjayo ekifananyi ky’emitwe egibunye […]
Akapiira kasizza endabirwaamu
Akapiira ga galimpitawo akakasukiddwa okuyita mu ddirisa kagudde ku ndabirwaamu y’emmotoka nekagyaasa Abagalana ababadde bagenze okwemalako ejjakirizi mu loogi eri waggulu ku kizimbe kya myaliro 20 beebakasuse akapiira kano oluvanyuma lw’okukakozesa. Bino bibadde mu ggwanga lya China. Nanyini mmotoka ono ayitiddewo poliisi nayo esitukiddemu era […]
Adduse lwa musaala munene
Abantu bangi badduka ku mirimu lwa misaala mibi Ssi bweguli eri omusajja ono omukugu mu byuuma bikali magezi eyasuddewo omulimu olw’ensimbi enyingi. Sandeep Jia, yaweereddwa pawunda 45o ekintu ekyamwewunyisizza n’asalawo okuva ku mulimu Omusajja ono enzaalwa ye Buyindi agamba nti ensimbi zino zimuleese ebirowoozo n’okumumaleko […]