Abantu bangi bambala nebatonnya ku lunaku lwebasaba abagalwa baabwe okukkiriza okubafumbirwa
Ssi bweguli eri omusajja Mike King yye asazeewo okwefuula masikiini ataliiko babe n’agenda mu maka agayamba abantu ng’eno mukyala we gy’akola
Ono atuuse mu maka gano ng’atintima , abantu olumulabye nebanguwa okumuyamba nga muno mwemubadde ne muganzi we era wano n’akka ku maviivi n’amusaba akkirize amufumbirwe
Kyabadde kijjobi ng’abasajjja abakuza ebirevu ne biwola bakungaamye okukuza olunaku lw’abantu abalina enviiri mu maaso
Omukolo guno gubaawo buli mwaka nga gukozesebwa okusiima abo abasinga okulabirira ebirevu byaabwe nokubissaamu stitayiro
Omwaka guno abasajja 300 beebetabye ku mukolo guno ogwatandika okubaawo mu mwaka gwa 1999 mu ggwanga lya Bugirimaani.
Omuwala enzaalwa ye Russia embereera atunda mbuzi ye
Shatuniha ow’emyaka 18 agamba nti kyeky’obugagga kyokka ky’ayinza okutunda n’ajjamu ensimbi zeyetaaga mu kadde kano.
Ono agambye nti bw’aba kyamaguzi kipya ttuku ekitakozesebwanga era ng’abakyetaaga bandibadde bamuwa ensimbi zeyetaga.
Embuzi eno egitunda Euro lukumi mu lusnavu mu ataano nga mu za wano, bwebukadde 61 n’ezigwaamu ziizo
Essimu eno efuuwa akawoowo ka kaawa era nga abamwagala ku luno ssi bakwekwasa
Okufuna akawoowo kano osobola okussaako akadde akapima obudde olwo buli kade wekakuba ng'akawoowo kafuluma
Essimu eno esobola n'okutambulira ku mukutu gwa Facebook nga buli lw'ofuna obubaka, ng'akawoowo kafumluma
Abanywi ba bbiya bangi bwebamufuna banoonya kaggulawo eccupa ate abangu bakozesa mannyo.
Naye obadde okimanyi nti engeri nyingi nnyo z’oyinza okuggulamu bbbiya ono
Mu ggwanga lya China, abagoba b’enyonyi bategekeddwa okukozesa ennyonyi zaabwe okuggula amacupa g’omwenge
Abagoba bano baweebwa eddaakiika munaana okukozesa opena essibwa ku nyonyi zaabwe wansi okuggula eccupa za bbiya
Akazannyo kano kaleeteddwa kupima bukugu abagoba bwebalina…
Omukadde ow’emyaka 86 akimazeeko ab’omu ggwanga lya China
Mukyala Tao ku myaka gye omusuubira kutuula awo nebalabirira naye ssi bweguli
Ono asobola okukola buli kimu omuli n’okubuukabuuka n’okutuuza 180
Ono nga wamulabye wewuunya kubanga asinga n’abato okubeera fiiti
Embwa ebadde asemberedde okufa etaasiddwa
Embwa eno yamenyeka okugula nga tekyabola kutambula era n’egwa eyo
Eno emanyiddwa nga Wufra wabula omutambuzea bade ku gage y’agirengedde n’ayita poliisi
Eno ebadde agudde kumpi n’ekijjukizo kya ssematalo ow’okubiri era agirabye abadde mulambuzi
Abazadde bangi teri kibasanyusa nga kulaba baana baabwe nga bakoze bulungi naddala mu kibiina.
Kati nno omusajja alabye ku bigezo by’omwana we ng’ayise efuuse ekyelorerwa okwetoloola ensi yonna
Omusajja ono omuddugavu naye nga nzaalwa ye Bungereza akubye omulanga ogw'essnayu n’okubuukabuuka ng’omwana omuto oluvanyuma lw’okuwulira amawulire amalungi
Ekisinze okumusanyusa kwekuwulira nti mutabani we abadde ayise okubala bulijjo okumuzannya
Ekyewunyisa nti…
Bw’oba oli eyo nga gwe omu ku bayisiza empewo mu kitanda nga mwebase bakuleeteddeyo akapya
Waliwo obuwale bw’omunda obukoleddwa nga buno bukwata omukka nebukendeeza ku buka bwaagwo emirundi bibiri.
Akawale kano buli lw’okooza oyongeramu eddagala gwe n’obeera nga weetewuluza nga bw’oyagala.
Omwogezi wa kkampuni ekoze obupale buno eya Shreddies mu Bungereza agamba nti ekigendererwa kuyamba bantu okukoma kwekuniza naddala…
Abazigu bakola kyonna ekisoboka okulaba nti tebakwatibwa naye ono naye yaleese.
Omusajja ono Luis Santana omumerica alabye abasirikale bagenda okumutuukako kwekubakasukira enkusu ebadde epapaala
Enkusu eno naye erabika ebadde yatendekebwa kubanga etanadikiddewo okubojja omupoliisi era mu kavuyo ako, omusajja ono yemuludde n'adduka.
Ono wabula poliisi oluvanyuma emukukunudde mu nju bw’abadde yekwese era ng’agenda kuvunaanibwa misango gya bubbi nakulumba…