Olwali
Ono alumya
Abakola ebyewunyisa tebaggwa mu nsi Mu ggwanga lya Bungereza, omusajja asangiddwa ng’avuga emmotoka naye nga bonnet ye tagigadde. Ono abadde avuga emmotoka kika kya benz batule ye abadde agitadde ku charger Abapoliisi basoose kumutunuulira nga tebakkiriza kyebalabye kyokka nga bagenze okumusanga ng’ali munda semaka atereedde […]
Omwana azadde mwana munne
Abasawo mu ggwanga lya China batunudde nebasamaalira oluvanyuma ow’okukizuula ntu omwana omulenzi owemyaka 2 abadde lubuto lwa mwana. Omwana ono bamulongoosezza okumujjamu ekintu ekyefananyirizaako omwana yenyini Ekintu kino nno kibadde kinywedde omwana ono ng’alinga eyalwaala entumbi nga yenna amyuukiride akabuto. Abasawo bagamba nti omwana ono […]
Omusajja asinga obumpi mu nsi
Omusajja enzaalwa ya Nepal agamba nti y’asinga obumpi mu nsi yonna. Master Nau ow’emyaka 73 alina centimeter 40
Alangidde mukama we
Buli muntu aliko engeri gy’ava ku mulimu gwe ng’agukooye. Omuwala ow’emyaka 25 Marina Shifrin, abadde akooye mukama we okumutuntuza nga ky’akoze kwekuyiiya akayimba ng’ono akunganyizza bakozi banne ne mukama we ng’abasuubiza okubaleeterayo akapya. Atandise kuyimba akayimba kano wakati mu kuttottola nga bw’abadde akooye mukama we […]
Ono yabaza ekirevu
Ono yabaza ekirevu Ku myaka 29 Isaiah Webb toba mukyaamu kubanga nti y’asinag ekirevu ekiwanvu
Kkappa zeezimu ku nsolo abantu zebanyumira okulunda naye ekizibatamya kwekusaasanya mu nyumba obubi bwazo buwunya okufa. Mu bungereza omusajja alabye bino tabisobola n’atendeka ka kkapa ke okusitama ku tooyi y’abantu era kati mwekamalira ekyetaago kyako. Luke Evans, 29, agamba yali akooye okuyolanga obubi bwa kappa […]
Ensonga eziyinza okukyaaya mu bungereza
Abantu bakyaawa abagaalwa baabwe olw’ensonga ezitali zimu . Gwe gy’okyayira bba wo oba mukyala wo olw’ebwenzi, e Bungereza kizuuliddwa nti omuntu okusanga munne nga tazizzaako kisanikira kya kabuyonjo kimala okumukyaawa Yye gwe obadde okimanyi nti mu Bungereza, obutayoleza muganzi wo kagoye k’akolerako dduyiro kiyinz aokukukyayisa. […]
Ezzike kkanga baana
Mu ggwanga lya Amerika mu kibuga Dallas azzike eribadde liyigganya amazike amalala naddala amakyala lyakusengulwa litwalibwe mu kifo awakumibwa amakize amalala lyongera okubudabudibwa. Ezzike lino eriyitibwa Patrick libadde lyakamala mu kuumiro ly’ebisolo emyaaka 18 wabula nga teryagala kumanya naddala eri amazike amasajja. Ezike lino lirangibwa […]
Ababbi babayiiya
Ababbi buli lwebeyongera okuyiiya nga n’abantu bayiiya engeri y’okukuumamu ebyaabwe Mu ggwanga lya Bungereza, omusajja akozesezza enkola empa ey’okuwandiisa essimu n’eggulawo ng’ekulabye oba ng’ewunyirizza ekitundu kyo Ono yye yawandisaayo nywato ya bbeere lye. Omusajja ono alese buli omu asamaliridde bw’akutte enywanto ye n’agissa ku ssimu […]
Embaga ya bannamaggye
Bw’oba obadde olowooza nti abajaasi tebalina budde bwa laavu osaanye okuwulira gano Abakulembeze mu maggye bategese embaga y’ekirindi eri abajaasi ng’emigogo gy’abajaasi 70 gyegigenda okugattibwa mu bufumbo obutukuvu. Aduumira eggye ly’eggwanga Gen Katumba Wamala agamba nti bategese embaga eno okuwewula abajaasi ku byetaago by’okutegeka embaga