Olwali

Ono atamiira mpewo

Ali Mivule

September 23rd, 2013

No comments

Abantu bangi batamiira olw’ensonga nti beesiwa amagengere. Kubamu akafananyi ssinga ozuukuka otamidde naye nga tonnakomba ku mwenge. Omusajja ow’emyaka 61 awereddwa ekitanda ng’atamidde naye nga tannakomba ku kenge konna Abasawo bagamba nti omusajja ono alina obulwadde bw’okutamiira nga talina ky’anywedde ng’olubuto lwe lufulumya amazzi agalinga […]

Abadde abuusa omwana gamumyuuse

Ali Mivule

September 23rd, 2013

No comments

Abakyala bangi babuusa abaana, nebabawuuba n’okuzannya obuzannyo obutali bumu okusanyusa abaana baabwe Binyuma ssinga bitambula bulungi. Omukyala abadde awuuba omwana mu butanwa amukasuse mu Nyanja negamumyuuka Elizabeth abadde awuuba omwana we ow’emyezi omukaaga nga bali ne bba ku lubalama lw’enyanja Omukyala ono okuva e Californi […]

Kanyama agonze

Ali Mivule

September 20th, 2013

No comments

Omusajja abadde awakanira obwa serulungi omukwano gumutisse n’akka ku maviivi n’asaba mukyala we akkirize okumufumbirwa Omusajja ono abadde ayambadde akapale ka kamiimo nga kalinag akawugirwaamu Omusajja ono abuse wakati mu ssnayu oluvanyuma lwa muganzi we okumukkirize. Omusajja ono agambye nti kino kimwongedde amaanyi okusigala mu […]

Akanya ku muliro

Ali Mivule

September 16th, 2013

No comments

  Abaziinya mooto bayitiddwa bukubirire okutaasa akanya ku muliro. Akanya kano bakataddeko oxygen okusobioola okuddamu okussa. Akanya kano era bakatadde ku byuuma ebyefananyirizaako eby’abantu Omuliro okugutte ekifo awabadde akanya kano guvudde ku masanyalaze.    

Emmotoka esinga obutono

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Emmotoka eyakasinga obutono eyingidde ebyafaayo. Emmotoka eno yenkanira ddala ng’eno abaana zebazanyisa naye ng’eno yaddala . Esabaaza omuntu omu era nga kyangu emmotoka za bulijjo okugirinnya nga tebagirabye Abantu abasinga abalabye ku mmotoka eno basigala bakuba nduulu nga balayira nti tesobola kutambula. Bangi bbo obwedda […]

Embizzi enywedde omwenge neyekola obusolosolo

Ali Mivule

September 11th, 2013

No comments

Abantu okugenda mu ma baala nebanywa omwenge olwo nebanaawuza entalo tekikoma ku bbo bokka, N’ebisolo bikikola Embizzi enywedde obucupa bwa beer 18 eguddewo olutalo ku buli kintu. Omwenge guno tegwakomye kukutamiiza mbizzi eno wabula n’okugileka ng’erumwa enjala. Embizzi eno obwedda etomera buli gw’esanga kko n’’okuyiwayiwa […]

Wuuno akola masaagi

Ali Mivule

September 11th, 2013

No comments

Mu ggwanga lya Georgia omukazi akola ssente empya n’enkadde lwa kukola basajja masaagi. Wabula ekimufuula ow’enjawula kubanga  masaagi agikozesa mabeere amanene obulungi. Bere ddene ono Kristie love agamba omulimu gwe guno agwenyumirizaamu nyo kubanga gumufudde wattutumu ate nga tasasula zabupangisa kubanga agukolera wuwe.

Yeerabidde Mukyala we

Ali Mivule

September 10th, 2013

No comments

Omusajja gwebakubye eddagala nga bamulongoosa akimazeeko mukyala we bw’azze engulu nga takyamujjukira. Omusajja ono atandise na kwegomba mukyala amubadde mu maaso era n’atandikirawo okumusuula obugambo ng’amutenda nga bw’ali omubalagavu. Omusajja ono yebuuzizza oba abasawo beebabadde bamuwadde omukyala ono oluvanyuma lw’okuyita ku kufa. Omusajja bw’ategeezeddwa nti […]

Omukyala ono tasaaga

Ali Mivule

September 10th, 2013

No comments

Mu bakyala ate mulimu abakazi. Mu ggwanga lya Georgia ,omukazi ow’emyaka 40 akuumye omulambo gwa mutabani we okumala emyaka 18 nga gukyaliwo. Oluvanyuma lwa Joni Bakaradze  okufa ku myaka 22,  maama we yasalawo akuume omubiri gwe kubanga mukyala we yali lubuto kale ng’ayagala muzzukulu we […]

Asinga olulimi oluwanvu

Ali Mivule

September 9th, 2013

No comments

Omusajja eyakasinga olulimi omuwanvu ayogedde okwewunyisa abantu Olulimi lwe luweza inch ssatu n’obutundutundu munaana Stephen Taylor kizuuliddwa nti olulimi lwe lweyongedde okuwanvuwa ate nga lukyakula Ono nno yadde abamu bamutya , eri abalala  kyakwelolera era nga yoomu ku bantu abakasinga okunywegerwa emirundi egisinga obungi mu […]