Olwali
Yeeyambulidde akabumbe
Mu kibuga Johannesburg ekya South Africa, abantu bawunikiridde omukyala bweyeeyambudde n’asigala buswa ng’agenda okwekubisa ekifananyi n’ekibumbe kya Nelson Mandela Omukyala ono asoose kukubira kibumbe kino saluti nga tannakigwa mu kifuba n’okukikuba bukiisi obw’okumukumu Ebifananyi by’omukyala ono ebikwatiddwa bimwolese ng’ali buknta kyokka gay ye tafaayo era […]
Ono laavu emulumye n’eyitawo
Abantu bangi bagamba nti ekigambo laavu tekikyalina makulu naye nga baaba abakitegeera bakyaliyo Mu Kibuga London, omusajja atambudde mailo omutwalo mulamba okutuuka ku muwala we gw’abadde ayagala okuwa ekimuli ku mazaalibwa ge Jack Harries atambudde okumala essaawa 28 okusisinkana muganzi we ow’emyaka 19 Omusajja ono […]
Ekikere kimize empeta
Ekikere ekimize empeta y’omukyala w’awaka kimalidde wa musawo Omukyala ono abadde akomyeewo ewaka yeeyambudde empeta n’agissa ku meeza era kuno ekikere kwekibadde kitudde Omusajja nanyini kikere kino agambye nti abadde n’ekikere kino kati myaka 10 kyokka nga kibadde tekikola nga ko kikolwa kino. Ekikere kino […]
Omupoliisi atabukidde ow’emmotoka
Abakulu mu poliisi ya China basabiddwa obutagoba mupoliisi eyalabiddwaako mu bifananyi nga yeeyambudde essaati okulwanagana n’omugoba w’emmotoka. Jiang Hu akwatiddwa ku lutambi nga yeezoba n’omusajja gweyawadde tikiti ya paakingi kyokka n’agaana okusasula Mu mbeera ng’eno wandisuubidde abantu okunyiiga kyokka ng’abantu bano kati basaba nti omupoliisi […]
Abbye ekiteeteeyi bimukalidde ku matama
Mu ggwanga lya America, omukyala abadde yeemolera mu kateteyi akabbe essanyu lye teriwangadde poliisi bw’emuyodde Danielle Saxton, 27 akagoye kano akabbye mu dduuka ly’engoye okumpi n’ekibuga mw’abeera ekya Illinois Nga wakayita essaawa ntono, omukyala ono yekubisizza ebifananyi mu kateeteeyi kano n’abissa ku mukutu gwa Fecebook […]
Akajogoli ka laavu asembye nako
Omusajja awandikidde bba ebbaluwa eyoleka emirundi gyebakegatta ebintu bimukyukidde ate omukyala bw’anyiize obunyiizi Omusajja ono kino akikoze okusanyusa mukyala we abadde agenda Safari ng’alaga n’emirundi gy’abadde amwesulubabba Kino akikoze okumulaga nti asobola okulinda nga taliiwo kubanga era alinda yadde nga waali. Omukyala ategeddemu birala era […]
Embwa ekuba ennanga
Akatambi akalaga ng’embwa esuna Enanga ate nga yonna bw’enyumirwa kafuuse luyiira Abantu abasoba mu mitwalo 4 beebakalaba akatambi kano akooleka obwagaazi embwa eno bw’erina Embwa eno erabika ng’ekunnukkiriza okutuuka ku nnanga era ng’ekyewunyisa nti mwattu ebadde ebintu ebisobola .
Ayita bukunya
Abakozi ne bakasitoma ku garage emu mu Poland enviiri zibavudde ku mutwe, omukyala abadde obuswa bw’abakyaliddeko ku kkolero lyaabwe Omukyala ono alinze bulungi ng’asimba mu lukalala lw’abakolebwaako Omukyala ono avudde mu motoka ebadde enywa amafuta n’akyaama ku kaduuka akali okumpi ne garage okugula eby’okulya n’okunywa […]
Ono ayiiyiizza ssente baaba
Omusuubuzi eyatadde keesi y’abafu ku mugga n’eseyeeyeza okwo ayolese okuggulwaako emisango Omusuubuzi ono mu ggwanga lya New Zealand keesi eno egisibyeeko ebipande ebiraga wwa gy’osanga kkampuni ye. Omwogezi wa poliisi Nick Bohm agambye nti bayitiddwa bukubirire nga buli omu olowooza nti keesi eno mulimu omufu […]
Awasizza goonya
Meeya mu kibuga kya San Pedro ekisangibwa mu mu ggwanga lya Mexico asazeewo kufumbirwa ggoonya ku mukolo makeke ogusombodde abampi n’abawanvu Omugole omukazi nga ye goonya ayambadde olugoye nga lweeru era obwedda abagenyi balwana bulwaanyi okuzinako naye Goonya eno egambibwa okuba ng’eva mu lubu olulangira […]