Olwali
akomye ku ttaka
Ba kitunzi tebaggwaayo na Bukodyo Mu ggwanga lya Canada, omusajja akola ssabuuni akozesebwa okusimuula asazeewo okukozesa ssabuuni ono okulongoosa olukuubo w’ayiye emmere n’atandika okugirya Ravi Dalchand akozesezza ssabuuno amanyiddwa nga Bissell Symphony okulongoosa olukuubo luno Atuuse n’okukwata omugaati okugusiimuuza suupu abadde wansi n’oluvanyuma n’alya Abamulabye […]
Namukadde atabukidde abamubise
Namukadde w’emyaka ekinaana, enviiri zimuvudde ku mutwe bw’afunye ebbaluwa okuva eri abagaba ez’obukadde nga eraga nti yafudde Omukyala ono Fulton ebbaluwa emutuuseeko nga wayise omwezi bukyanga ewandiikibwa Omukyala ono yecwacwanye n’ategeeza nga yye bw’ali omulamu yadde nga bafubye okumukkakkanya Kkampuni esoose kumwetondera ng’eddamu okumuwandiikira olwo […]
Bamussizza micungwa
Mu ggwanga lya South Africa abakozi batabuse nebatta omusajja nga bakozesa emicungwa Gwebakubye emicungwa abadde mukozi munaabwe nga bafunyeemu obutakkaanya Omusajja ono tabaddeko buvune bwonna nga poliisi egamba nti ntiisa y’emusse
Abalina sayidi-Diishi balidde nga balimi
Abantu abayiiya ensimbi tebaggwaayo Mu ggwanga lya America, waliwo kkampuni ekubisizza kaadi nga ziranga abakyala b’okusanyusaamu ababeetaaze. Kaadi zino zikoleddwa nga zigulwa bafumbo bokka abagaala okuziwereeza baganzi baabwe ab’ebbali era nga zisindikibwaako obumuli ne mu choclate Ab’omukutu guno bbo bagamba nti ogwaabwe gwakukwatagana basajja n’abakyala […]
Awadde muwala we ensiringanyi okukogga
Omukyala mu kibuga Florida akkirizza nga bweyawa muwala we ensiringanyi ngayagala asale amasavu Omukyala ono Osorio agambye nti omuwala ono yajja okumwebuzaako ku ngeri y’okukogga nga yenna olubuto lumuzimbye Ensiringanyi zino wabula zatuuka nezifuuka ensonga ng’omuwala azimba buzimbi lubuto kukirako ndizaaala Omuwala ono bamuwadde eddagala […]
Emmese emututte etyagi
Ebiseera ebisinga emmese olulaba omuntu nga edduka. Naye mu kibuga Newyork waliwo nsomba byuuma etutte omukubi w’ebifananayi emisinde bwabadde agikuba ebifaananayi. Josiah Ryan, akolera olupapula lwa TheBlaze, y’ataddeko kakokola tondeka nyuma nga bwabadde akuba emmese eno ebifaananayi. Ono asizza ekikoowe n’ategeeza nga emmese bwebadde emuliddewo.
amazzi gabizadde
Mu ggwanga lya America wazzeewo omuzannyo ng’abagwetabamu beeyiira amazzi aganyogoga ng’omuzira Ekigendererwa ky’omuzannyo guno kyakujjukiza bantu ku bantu abeesiba emisuwa era nga abamu ku bagagga nkugwe okuli ne Bill Gates amaze okugwetabamu Wabula omu ku beetabye mu muzannyo guno kati afuuse mboozi , oluvanyuma lw’okusittuka […]
Omukadde awezezza emyaka 101 ku mulimu
Omusajja enzaalwa ya America amazaalibwa ge ag’emyaka 73 gamusanze ku mulimu. Omulimu gw’akola gwa mataala era nga kati agukoledde emyaka 73 Omusajja ono yagamba nga abantu nti alinda kuweza myaka 100 alekulire kyokka nga bweyagiweza n’akyuusa ekirowoozo. Omusajja ono yatandika okukola emirimu gye mu mwaka […]
Omufuusa afeze omupoliisi
Abagezi mu nsi tebaggwaayo. Mu ggwanga lya America waliwo omufuusa akutte omupoliisi obudongo okukkakkana ng’amuguzizza ensawo y’enjaga Omupoliiisi ono alabika nga naye alobye ng’enjogera bw’eri kubanga aba akwata ku nsaow bw’ati, omufuusa n’agibuzaawo Katambi akalaga bino kakalabwa abantu obukadde musanvu n’ekitundu
Abbye banka ng’ali Bukunya
Omusajja abbye banka oluvanyuma lw’okweyambulamu engoye zonna akwatiddwa lubona nga azzaako engoye zino mu kabuyonjo eriranyewo. Ezekial Deanda, 32, atuuse mu banka emu nagyamu engoye olwo nanyagulula banka eno olwo n’amanyuuka awatalai kagoye konna ku mubiri. Wabula abaserikale ba poliisi bamulinye akagere era bamusanze azzako […]