Omusomesa mu ggwnga lya China eyetemye okunywegeera embizzi ssinga abayizi bakoma okumansa kasasiro bimukalidde ku matama
Hon Yaoming abayizi bakimukoze bwebekozeemu omulimu nebakoma okumansa kasasiro
Ono nno nga buli kimu kitegeke abadde takyalina kyakukola era bwatyo mu kwegumya n’anywegeera embizzi.
Omusajja abadde atamidde ayingidde mu kibookisi ky'abaana ng'abaziinya mooto beebamujjeeyo.
Omuvubuka eyiiyizza emmundu ng’eno eriko akasenya
Ekigendererwa kuyamba bajaasi buta ku mirimu nti basenya
Omuvubuka ono agambye nti kino akikoze okuyamba abajaasi okukuuma obuyonjo ate nga tebavudde ku mirimu.
Mu ggwanga lya Bosnia omulamuzi eyasangibwa mu ofiisi ye ng’ali bute ayota musana azze ku mulimu
Omulamuzi ono Enisa yasooka kubuukabuuka mu awo mu ngeri y’okukola exercise era olwa mala n’agalamira ku meeza ye okwota omusana ng’ali bute
Ono nno abamulengera baali basajja abaali bayita ku ofiisi ye nga bakwata buli kimu kamera nga bayita mu ndabirwaamu…
Abantu bangi boogerera nnyo banaabwe abaluma enjala, naye obadde okimanyi nti waliwo abalya emisumaali
Omusajja enzaalwa ye China buli lw’awujjaalamu ng’alya emisumaali kyokka ng’ekyewunyisa nti talina buzibu bwonna ku bulamu bwe
Takoma ku misumaali wabula alya ne Tayilo endabirwaamu n’ebirala ebizimbisibwa
Bino abinyweerako mazzi
Kino yatandika okukikola nga wa myaka 17 nga kati wa myaka 30
Omwana ow’emyezi etaano atandise okumera omukira yeeralikirizza nyina
Omwana ono yazaalibwa alina obuzibu ku mugongo gwe era nga tasobola kutuula.
Maama w’omwana ono asiiba akaaba ng’ayagala omwana we alongoosebwe kyokka ng’abasawo baamulabula nti kiyinza okukosa omwana ono
Abasawo era bagamba nti tebasobola nakusalako mwana ono mukira ogumumezeeko
Mu Amerika waliwo omuwala akoze ekitakoleka.
Ono yabbye emmundu n'agikweka e buziba.
Oluvanyuma lw’okuzza emisango egy'enjawulo omuwala ono ategerekese nga Archer yatwaliddwa mu kkomera asibwe.
Wabula abakuuma ekkomera bwebabadde bamwaza bagenze okuwulira nga balinga abakwata ku kintu ekikaluba mu sikaati.
Ono bamututte emanju era bagenze okumwaza obulungi nga emmundu agikwese mu bitundu bye eby’ekyama.
Kati oyo bw'ataba naluwali aba ani,…
Kati eno ensi buli omu agiyiiya bubwe.
Mu ggwanga lya china waliwo omukyala atandise okukamula amabeerege nagagyamu amata olwo n'agakolamu ssabuuni.
Ono yazudde sukaali ono oluvanyuma lwamutabaniwe omuwere okugana okuyinka olwo nasalawo amata gano agoozese kyeyalabye nti gatukuza era yagenze n’okugasiiga mutabani ku lususu nga gawonya obuwere.
Ono kati yatandise dda okweranga ku mukutu gwa yintaneti era abantu…
Kati ebiseera ebisinga abazungu balina omuze gw’okutambula nembwa, kale oba kappa.
Mu kibuga London ekya Bungereza waliwo omusajja ye ebyembwa ssibyaliko, asazewo okukwata embataze 2 nazisibamu emigwa olwo nakaalakaala nazo mu kibuga wakati nga zimukuilembeddemu.
Abantu abenjawulo bavudde ku byebakola olwo nebatunulira omusajja abadde atambula n’embaata.
Omusajja enzaalwa ye Itali amanyiddwa nga Romeo asibiddwa lwakuwoggaanira ba neyiba be mu kaseera k’okwesa empiki z’omukwano
Omusajja ono alagiddwa okwebaka e Luzira emyezi mukaaga oluvanyuma lwa neyiba be abawerera ddala 12 okwemulugunya
Omulamuzi asaze omusango guno amugambye nti ogumusinze gwakunyumirwa nnyo n’atuuka n’okuyingirira eddembe lya banne
Omusajja ono agambye nti agenda kujulira