Abantu bangi bagaala nnyo amawanga gaabwe naye wali olowoozezza ku bisolo.
Kati mu ggwanga lya Russia, ka kkapa akawulidde ng’oluyimba lw’eggwanga nga lukubwa kayimiridde nekegatta ku bayimba okutuusa oluyimba bweruwedde
Nanyini kkapa eno agambye nti na ye yewunyizza kubanga tebalina TV nga kirabika kabadde kalaba abayimba nga kayisa amaaso mu ddirisa
Omusajja ono agambye nti lweyasooka okulaba ka…
Omusajja abadde adedera omukyala kimuweddeko omukyala ono bweyekyaaye n’amweyambulira
Omukyala abadde atambuka agage akizudde nti wabaddewo omusajja amulinnya akagere ate ng’abadde talina bw’amwatuulira
Mu kino asazeewo okuyimirira n’atandika okweyambula engoye z’abaddemu lumu ku lumu n;asigala bukunya
Ababaddewo beebakiguddeko kubanga bafubye kukuba nduulu na kubikka maaso naye ng’omukyala ono tasalako
Omulambo gw’omukyala eyafudde ng’aweza emyaka 80 ab’enganda ze basazeewo kumutuuza mu katebe k’abadde asinga okwagala.
Omulambo gw’omukyala ono gwambazidddwa olugoye lw’embaga omugenzi gweyayambala ku mbaga ye eyokubiri.
Gwambaziddwa n’enkofiira olwo negwetoloozebwa ebimuli omugenz by’abadde asinga okwagaala
Muwala w’omukyala ono agambye nti takubangako kafananyi nga nyina afudde nga y’ensonga lwaki asazeewo kwambaaza nnyina engoye z’abadde asinga okwagala.
Mu nsi eno waliwo abantu nga bbo bazibu okutegeera
Omusajja enzaalwa ye Norway yesazeeko ekkudde erimu n’alifumba n’alirya .
Omusajja ono agambye nti enyama ye obuwoomi bwaayo bubadde nga bwa ndiga
Alexander ow’emyaka , 25, ekkudde lye eliriiridde ku lumonde n’olugiraasi lwa wayini.
Omusajja ono bino byonna azitegeezezza abantu ababadde bakungaanidde ku mukolo gw’okusiima abalina kitone ky’okukuba ebifananyi.
Abakyala basatu abeekubisizza bifananyi nga tebambadde bulawuzi bafuuse ekyelolerwa
Abawala bano okuli ow’emyaka 20,21 ne 20 basazeewo okugenda okwesanyusaamu nga tebambadde bulawuzi.
Obwedda buli gyebayita ng’abantu bakyuuka era ng’ababakubye ebifananyi nebabissa ku mutimbagano, bagamba nti bitunda nga keeki eyokya
Mu ggwanga lya Russia kkapa ebadade ayitiridde obuzito kyaddaaki asaze ku masavu oluvanyuma lw’okufuna akagaali k’ebadde esotta bulilunaku
Abantu bangi beebabuuza engeri kkapa eno gy’ebadde esambamu akagaali naye kino ebadde ekikola eri ne mu makama waayo
Oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka mukaaga, kkapa eno epimiddwa ng’esaza kiro bbiri.
Abakyala bagaala nnyo okulaba abaana baabwe nga bazannya nga kweekwava enjogera egamba nti omwana azannya lyessanyu ly’omuzadde.
Wabula yye omukyala ono asusse bw’ayiyiiza amadaala g’ekizimbe kye negafuuka gogolo.
Kuno abaana kwebasiiba nga beewuubira era nga tebakyakaaba kuwalampa madaala.
Mu ggwanga lya Russia,Omukyala abadde awuga, essanyu limuweddeko emmotoka bw’ematuse waggulu n’egwa mu kidiba ekizungu mw’abadde.
Ekidiba kye kiri mabega w’ekizimbe gaggadde nga kino emanju wasimba emmotoka.
Abadde avuga emmotoka eno emulemye okusiba okukkakkana ng’eyiseewo okutuuka mu puulu.
Omukyala ono azirikiddewo kyokka ng’abadde agivuga y’adduse okuva mu motoka n’ataasa omukyala ono abadde abide
Omusajja ono agamba nti yadde emotoka…
Mu ggwanga lya Italy, omulamuzi abadde awulira omusango aguyimirizza bw’alengedde abagalana babiri nga bali mu kigwo gwa mukwano okuliraana kkooti gy’abadde akubiriza.
Omulamuzi ono Anna Ivaldi asabye munnamateeka w’oludda oluwaabi abadde ayogera okusooka okuyimiriza kubanga abadde awulira amaloboozi agatategereka.
Omulamuzi ono atambuzizza amaaso era agasudde ku bagalana mu kasonda nga zazze dda okunywa.
Abagalana bano bagambye nti babadde…
Kakati bbyo ebyewunyisa tebiggwa mu nsi.
Mu ggwanga lya America, mu kibuga Los Angeles ,waliwo abalongo abagabana buli kimu.
Bano bagabana bingi omuli omukutu gwa facebook, essimu, engoye na buli kimu
Ekisinga okwewunyisa nti n’omusajja balina omu ate nga tebamulwanira