Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Emboozi

Akagaali k’abalema kaakano

Omusajja amaze omwaka mulamba ng’atambulira mu kagaali ayiyiizza akagaali abalema kebasobola okukozesa okuwalamba ensozi Calvin Williams kino yakiyiyiizza mu budde bw’amala mu kagaali  era ng’akagaali ke kawagiddwa abantu okwetoloola ensi yonna Williams teyazaalibwa nga mulema wabula yava waggulu n’agwa era okuva olwo ali mu kagaali.

Read More

Yiino eccupa ekunyweesa amazzi

Mu ggwanga lya Bufaransa, abaayo bongedde okuyiiya engeri gyebayinza okuyambamu abantu okunywa amazzi. Bano bakozeeyo eccupa z’amazzi ezitegeeza omuntu nti ssaawa ya kunywa mazzi. Eccupa zino ziriko bendera emyuufu ng’eno yewuuba buli ssaawa z’okunywa amazzi zituuse Eccupa eno kino ekikola emirundi munaana olunaku. Kati gwe atalina ccupa eno, wakanywa amazzi emirundi emeka

Read More

Ono yejjusa kukendeeza masavu

Omusajja enzaalwa ye Romania abadde afa okusala amasavu akyejjusa oluvanyuma lw’okusala nga kati ate alinga mukadde. Olubadde olubuto olunene kati chapatti . Obunene omusajja ono bw’abaddeko nga tasobola kusiba kaguwa ka ngatto kyokka kati olususu oluyiika lw’asigazza terumukkiriza era ku busiba Omusajja ono atandise okwejjusa ekyamusazizza amasavu

Read More

Ice Cream azadde leenya

Abantu bwebabeera mu katyabaga baliko ennamba z’essimu zebakuba okufunaobuyambi. Kati yye ono omukyala mu kibuga West Midlands ayise poliisi liitiliiti okumuyambako oluvanyuma lw’okuseerebwa Icecream. Omukyala ono ategeezezza nti omusajja wa icrecream abadde yajjuzza kasoggo ke ate ng’atutte ssente ze.

Read More

Abagole bagudde mu nyanja

Abagole ababadde mu machati g’okwekubisa ebifananyi ku Nyanja emikolo gibabijjiridde bwebaguddemu bonna nebajojobala. Abagole bano ababadde batambulira mu nyonyi ekkakanye okumpi n’amazzi olwo obudaala bw’ennyonyi nebussibwa kyokka nga wakati mu kwekubisa ebifananyi, obudaala bukutuse n’ondabira Dan ne Jackie Anderson ekirungi nti amazzi gebaguddemu gabadde gumpi n’olubalama era bekunganyizza mangu okudduka mu mazzi nga tewabadde kyakutaasa

Read More

Ekitabo ky’ebyafaayo

Ekitabo ekyabula ku muwala nga wa myaka 11 kyadaaki kkyekomezzaawo kyokka Kitaawe w’omuwala ono yeeyali yamuwa ekitabo kino  nga kati wayiseewo emyaka 66 era ng’omuwala ono wa myaka 80 wetwogererera Betty Fowkes nga munnanasi wa Australia agamba nti ekitabo kino kyamuweebwa taata wa nga kirimu ebyamagero  mu ssematalo ow’okubiri era nga kyaali kyabula kyokka ng’akisanze mu ssa…

Read More

Ono bamuferedde ku facebook

Abawala bangi basanga abasajja ku mutimbagano nebabangaza era nga bw’owulira nga baboogerako olowooza babamanya dda. Ono nno bakimumazeeko kubanga omusajja gweyasanze ku mukutu gwa Facebook ate yeeyamunyugunyizza Omusajja ono yakozesezza akaseera kebaabadde balina okusisinkana okukuba omuwala ono ekiti ku mutwe n’amubba buli kamu Omuwala ono kyeyalabye ku muwala ono yabadde tattoo eyabadde ku bulago bw’omusajja . Wabula poliisi ya…

Read More

Setekeera babbi

Mu nsi muno ebyewunyisa tebiggwaawo. Mu ggwanga lya Ethiopia, waliwo omusajja akeera okugenda okulima ng’eno eba avuga akagaali eno ng’embuzi ye eri ku mugongo. Akabuzi kano nako kirabika kamanyiira nga kakanya kwenyeeza ng’eno mukama waako bw’avulumula akagaali ke. Abalabye ku katambi kano buli omu ayogera bibye ng’abamu bagamba nti kabadde kakooye n’akabikka ate abalala bagamba nti yabadde akatwaala…

Read More

Namukadde yeesuuba

Namukadde w’emyaka 70 gwebawadde ekuuma akeevuuma  asazeeo kutandika kuzannya gogolo. Omukadde ono akuuma kano akakeera bukeezi nga talina njawulo na bavubuka b’olaba ku nguudo ababuukira taxi. Omukadde ono  alabiddwaako mu kibuga nga yesaza ng’owa akagatto akamu era ebifananyi ebikwatiddwa ng’azannya bitunda nga keeki

Read More