Olwali
Ono Obubi abututte mu Banka
Kati abantu abamu ensonyi baazinaba ku maaso. Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omusajja akoze ekitasuubirwa bw’ayingidde banka ya Barclays neyeyambira okumpi n’abantu webasimba okufuna ssente buli omu ng’atunula. Omusajja ono alabise nga mukkakamu ekyetaago kye alabika abadde akooye okukimalira mu kabuyonjo kko ye kalumbe banka. […]
Bakoze empale mu watermelon
Aba China kyebatayiiye nga tekiriiyo Bano kati wetwogerera nga bayiiyizza empale enkole mu watermelon Watermelon eno bagikalakatamu ebimyuufu nga bagisazeemu omulundi gumu n’evaamu ekibakuli Ekibakuli kino kwebassa amagulu era nga bagamba nti kino kyakuyamba nnyo abaana mu biseera by’omusana kubanga ekikuta ky’ennannansi tekiyitamu […]
Embwa eyigirizza bbebi okwavuula
Embwa kyekimu ku bisolo ebigezi ennyo era ebifaayo ennyo Ku mukutu gwa Youtube, ekifananyi ky’embwa eyigiriza omwana okwavuula bangi kibalese bakuamukiridde Embwa eno obwedda yekuluula nga n’omwana bw’agoberera Mu lutambi, omwana asooka n’atunula nga tabitegeera era nga yetegereza embwa kyokka oluvanyuma lw’akabanga omwana ono atandika […]
ayambadde empale nga tagikutteeko
Olutambi lw’omusajja abadde ayambala empale nga tagikutteeko lufuuse ekyelolerwa Omusajja ono enzaalwa ye China yefunya mpola okuyingiza empale mu magulu era ng’agituusa bulungi mu kiwato nga tagikutteeko Omusajja ono takomye awo n’asiba n’omusipi
Ka dole akasoma amawulire kazze
Bannasayansi bayiiyiza ka robot akasoma amawulire nga kano kassaamu n’ebinonoggo Ka robot kano katandikidde mu ggwanga lya Japan era nga kasomyeeko amawulire agakwata ku Musisi eyise mu kitundu kino. Abakoze ka dole kano bagamba nti bagaala bafune kati n’akasoma amawulire ga TV Ka dole kano […]
Embwa ebadde ku mulimu ebuze
Tewali mulimu mwangu mu nsi eno. Mu ggwanga lya Bungereza, Embwa ya poliisi enkozi y’olusu ebadde egoba ekisolo egobye okutuuka lw’ebuze Embwa eno emaze ennaku nga telabikako era ng’omuyiggo ogwassiddwaawo poliisi n’abatuuze ku byaalo ebitali bimu kyekiyambye okuzuula embwa eno. Embwa eno ensangiddwa nga teriiko […]
KKampuni egobye abakozi bonna
Mu ggwanga lya America kkampuni ya zzaala bigisobodde n’egoba abakozi bonna Abamu bagaanye era ky’ekoze kwekubasasula bagende Bano baweebwa emitwaalo gya doola ebiri n’ekitundu okubivaamu. Aba kkampuni eno bagamba nti bagaala kugoba bakozi bonna kubanga tebamanyi byebagala nga y’ensonga lwaki bonna babagobye baleete abapya.
Abasajja abakwata ku bakyala- Kungufu
Abasajja abanguyiriza okukwata ku bakyala abaweereza mu nyonyi beesibe bbiri Mu ggwanga lya China, abawala bano bonna batendekeddwa okukuba kungufu Yadde nga obukodyo buno bwakukozesebwa mu kaseera ssinga abatujju baba balumbye, abawala bano bawereddwa olukusa obukodyo bwebumu ku basajja abatamiira nebabakwatirira n’abo ab’amaddu
Ono ekitone akirina mu mbwa
Abantu abalina ebitone tebaggwa mu nsi eno Mu ggwanga lya Bungereza, omusajja eyasalwa ku mulimu n’asalawo okuyiga obukodyo bw’okugunjula embwa ebintu bitandise okumufunira Alfonso asobola okukkakkanya buli kika kya mbwa omu n’endalu. Abamutuukirira nga bagaala agunjule embwa zaabwe ebeyongeredde ddala era nga bangi bamwongera namu […]
Omusana agwoota ali bute
Mu kibuga Vienna, omukyala eyeebakirizza ku ddirisa okwoota omusana ng’ali bukunya aleese omugotteko gw’ebidduka. Omukyala ono amagulu ge gasigadde galebeera nga n’akabina konna kali bweeru Omukyala ono yazimba ku kkubo era ng’obwedda abagoba b’emmotoka abayitawo basiba nebeelorera era gyebigweeredde ng’emmotoka zikutte. Ezimu ku mmotoka zikonaganye […]