Waliwo abakozi abawunikiriza ekibuga London, bwebakozi amasuuti eg'ekitundu olwo nebatandika okutambula mu kibuga ngabalumya abalabi.
Bano bakoze obuwale bw’amasuuti bubakoma mu bisambi ate ngabubatipye, olwo nebalaga eswagga.
Eyatunze amasuuti gano amaze wiiki bbiri ng'obwongo bumwesera
Omusajja omuyindi agenze okunaaba n’asanga goonya eyakula mu kinaabiro atuyaanye nga bwezikala
Kalpesh Patel agambye nti atunuulidde goonya eno amaanyi negamugwaamu nga tamanyi oba nnamu oba nfu kyokka agenze okulaba nga yenyeenya kwekukuba oluggi n’ateekako kakokola tondeka nyuma
Ekyaalo kyekungaanyizza nebakwata goonya eno.
Mu kibuga Johannesburg ekya South Africa, abantu bawunikiridde omukyala bweyeeyambudde n’asigala buswa ng’agenda okwekubisa ekifananyi n’ekibumbe kya Nelson Mandela
Omukyala ono asoose kukubira kibumbe kino saluti nga tannakigwa mu kifuba n’okukikuba bukiisi obw’okumukumu
Ebifananyi by’omukyala ono ebikwatiddwa bimwolese ng’ali buknta kyokka gay ye tafaayo era obwedda abaswaala beebabikka ku maaso.
Abantu bangi bagamba nti ekigambo laavu tekikyalina makulu naye nga baaba abakitegeera bakyaliyo
Mu Kibuga London, omusajja atambudde mailo omutwalo mulamba okutuuka ku muwala we gw’abadde ayagala okuwa ekimuli ku mazaalibwa ge
Jack Harries atambudde okumala essaawa 28 okusisinkana muganzi we ow’emyaka 19
Omusajja ono olugendo lwe alukutte ku lutambi nga luno lutunda nga keeki eyokya
Ekikere ekimize empeta y’omukyala w’awaka kimalidde wa musawo
Omukyala ono abadde akomyeewo ewaka yeeyambudde empeta n’agissa ku meeza era kuno ekikere kwekibadde kitudde
Omusajja nanyini kikere kino agambye nti abadde n’ekikere kino kati myaka 10 kyokka nga kibadde tekikola nga ko kikolwa kino.
Ekikere kino bakikozeeko nekiwona.
Abakulu mu poliisi ya China basabiddwa obutagoba mupoliisi eyalabiddwaako mu bifananyi nga yeeyambudde essaati okulwanagana n’omugoba w’emmotoka.
Jiang Hu akwatiddwa ku lutambi nga yeezoba n’omusajja gweyawadde tikiti ya paakingi kyokka n’agaana okusasula
Mu mbeera ng’eno wandisuubidde abantu okunyiiga kyokka ng’abantu bano kati basaba nti omupoliisi ono asonyiyibwe
Bangi bagamba nti waliwo abamucookozezza era nga tasobola kuva mu mbeera…
Mu ggwanga lya America, omukyala abadde yeemolera mu kateteyi akabbe essanyu lye teriwangadde poliisi bw’emuyodde
Danielle Saxton, 27 akagoye kano akabbye mu dduuka ly’engoye okumpi n’ekibuga mw’abeera ekya Illinois
Nga wakayita essaawa ntono, omukyala ono yekubisizza ebifananyi mu kateeteeyi kano n’abissa ku mukutu gwa Fecebook mu ngeri y’okwewaana engeri gyekamunyumidde
Omusajja awandikidde bba ebbaluwa eyoleka emirundi gyebakegatta ebintu bimukyukidde ate omukyala bw’anyiize obunyiizi
Omusajja ono kino akikoze okusanyusa mukyala we abadde agenda Safari ng’alaga n’emirundi gy’abadde amwesulubabba
Kino akikoze okumulaga nti asobola okulinda nga taliiwo kubanga era alinda yadde nga waali.
Omukyala ategeddemu birala era olupappula luno bba lw’amuwerezza ku ssimu ng’agenda ku kisaawe lumucankalanyizza okukkakkana ng’akubidde bba…
Akatambi akalaga ng’embwa esuna Enanga ate nga yonna bw’enyumirwa kafuuse luyiira
Abantu abasoba mu mitwalo 4 beebakalaba akatambi kano akooleka obwagaazi embwa eno bw’erina
Embwa eno erabika ng’ekunnukkiriza okutuuka ku nnanga era ng’ekyewunyisa nti mwattu ebadde ebintu ebisobola .
Abakozi ne bakasitoma ku garage emu mu Poland enviiri zibavudde ku mutwe, omukyala abadde obuswa bw’abakyaliddeko ku kkolero lyaabwe
Omukyala ono alinze bulungi ng’asimba mu lukalala lw’abakolebwaako
Omukyala ono avudde mu motoka ebadde enywa amafuta n’akyaama ku kaduuka akali okumpi ne garage okugula eby’okulya n’okunywa
Abasajja beebasinze okumunyumirwa era nga bangi balabiddwaako nga bayiika amalusu n’okusakaanya.