Omusuubuzi eyatadde keesi y’abafu ku mugga n’eseyeeyeza okwo ayolese okuggulwaako emisango
Omusuubuzi ono mu ggwanga lya New Zealand keesi eno egisibyeeko ebipande ebiraga wwa gy’osanga kkampuni ye.
Omwogezi wa poliisi Nick Bohm agambye nti bayitiddwa bukubirire nga buli omu olowooza nti keesi eno mulimu omufu okwetegereza nga mulimu kagologoosi .
Meeya mu kibuga kya San Pedro ekisangibwa mu mu ggwanga lya Mexico asazeewo kufumbirwa ggoonya ku mukolo makeke ogusombodde abampi n’abawanvu
Omugole omukazi nga ye goonya ayambadde olugoye nga lweeru era obwedda abagenyi balwana bulwaanyi okuzinako naye
Goonya eno egambibwa okuba ng’eva mu lubu olulangira
Meeya ono agambye nti musanyufu okusiba empeta omumbejja wa goonya era lwelunaku olw’akasinga…
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abakyala abalya apple tebeesezza mpiki za mukwano bitooke byebigwa.
Bino okubituukako abanonyereza mu ggwanga lya Italy batunuulidde abakyala 731.
Abakyala beebatunuulidde bali wakati w’emyaka 18 ne 43.
Omukyala okufunamu alina okulya apple emu oba bbiri buli lunaku
Kati waliwo abasajja abatawena.
Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omusajja eyekyaaye neyesalako obusajja ng'ali mu kirabo ky'emmere.
Poliisi egezezaako okutangira omusajja ono wabula n'adduka mu bwangu neyesibira mu kiyungu olwo kamaanya n'amukwakkulako.
Omu ku bakulira ekirabo ky’emmere kino Zizzi ategezezza nga omusajja ono bwatalina kakwate konna ku kiriiro kyabwe.
Omusajja omulimi mu ggwanga lya America eyabulwaako essimu attidde omuntu bw’amukubidde essimu ng’agironze Japan.
Omulimu ono essimu yagipakirira mu birime byeyali atunda mu butanwa era nga yali yagivaako dda.
Kevin Whitney agamba nti essimu yabulako mu mwezi gw’ekkumi omwaka oguwedde era nga yali yagivaako dda
Omusajja ono amaze okufuna essimu ye oluvanyuma lw’okusindikibwa kuva mu japan okutuuka mu…
Mu ggwanga lya Ameriva omukyala atunda emmere y’embwa alabye eby’owketawaanya taabisobole naye n’atandika okulya kw’eno
Omukyala ono akikoledde kati omwaka mulamba
Omukyala ono alina edduuka mu kibuga Washington agambye nti kino yakikoze okukakasa abantu nti emmere y’embwa gy’atunda mpitirivu obulungi era terina bulabe eri omuntu.
Bw’oba olowooza nti abazungu tebakkiririza mu ddogo osaana kuwulira bino.
Omukyala enzaalwa ye Romania agamba nti jjajja we eyafa amuwerezza ekifananyi kye ku ssimu.
Gina Mihai ow’emyaka 34 agamba nti atandise okufuna ekirowoozo nti jjajja we tateredde mirembe era ng’ekifananyi kino ekitutte eri omusawuzi n’amukakasas nti jjajja we atulugunyizibwa gyali
Kati abakkirizza bakungaanye nga bagenda mu maaso n’okusabira…
Poliisi mu ggwanga lya Russia eri ku muyiggo gw’abagaalana abeegadangidde mu kibuga wakati nga tebafuddeyo ku bakola egyaabwe
Abantu ababalabye beebakubye ebifananyi nebabiwa poliisi ebitadde ku mukutu gwaayo ng’ebuuza oba waliwo abamanyi.
Mu katambi akakwatiddwa, abagalaana bano balabwaako nga bazze ku kabalaza k’oluguudo awali ekibumbe ekiyiika amazzi kyokka ng’eno abantu bwebali mu kukola ebyaabwe nm’abatono abasigadde nga…
Omusajja ono yye yasalawo kwagala abalongo nga kati bamaze emyezi 18 .
Tebafunangako buzibu bwonna yadde abalongo okulwana.
Eggwanga lya Equatorial Guinea ligobeddwa mu kusunsulamu abanetaba mu mpaka za Africa eza 2015 lwakuzanyisa muzanyi atali munansi.
Bano baawandulamu eggwanga lya Mauritania ku mugatte gwa ggoolo 3-1 mu luzanya olwayita wabula nebabawawabira lwakuzanyisa Thierry Fidjeu Tazemeta enzalwa ya Cameroon.
Kati kino kitegeeza Uganda yakuzanya Mauritania ku luzanya oluddako nga 19 July wano mu Kampala mu mupiira…