Olwali
Amadaala gakuludde omukadde
Ebintu bye kizungu oyinza okulowooza nti bitawaanya ffe wano naye nedda. Waliwo otuseeko ku madaala agatambula nga tomanyi ngeri gy’ogabuukira gakutambuze. Kati yye ono omukyala omukadde alabye ntabisobola, amadaala gano ate kweyekutte. Omukyala ono abadde atambula akutaamiriza yegolodde amadaala gano bwegamuvuze nga bw’awogganira waggulu ng’asaba […]
Akaboozi akatundira buli wamu
Waliwo omukyala akwatiddwa okuva mu ssaza lye Hampshire ng’akaboozi akatembeyeza mu tterekero ly’ebitabo Ono abadde akaboozi abadde akagaba mu bukodyo ng’atambuza obupappula obubuuza ba kasitoma oba bandyagadde ku byamaguzi Wabula akappapula akatambuziddwa okutuuka ku mukyala keekabizadde ng’ono ayise poliisi mbagirawo Ekyewunyisa nti omukyala ono n’aba […]
Azadde Kanya
Mu ggwanga lya Indonesia okunonyereza kutandise ku mukyala agamba nti yazadde akanya Ekibinja ky’abakugu kisindikiddwa ku kyaalo awaliwo omukyala ono . Debi Nabutonis wa Myaka 31 ng’agamba nti bulijjo ali lubuto era akadde mulindwa katuuse kyokka okugenda okulaba nga kanya keekavuddeyo Omusawo eyazaalisizza omukyala ono […]
Ekiteteeyi ky’embaga akitunda lwa bwenzi
Omusajja asanze mukyala we mu bwenzi asazeewo kutunda kiteteeyi kya mbaga yaabwe azzeewo zeyamala ku mbaga. Omusajja ono agambye nti ekiteteeyi kino agambye nti kirabika kyekyajja n’emize gy’obwenzi era ng’akitaddeko ebigambo ebigamba nti “ atayagala kubeera mwesigwa ng’okyanyumirwa obwenzi ekiteteeyi kikiino
Obugaali babuvuze bali bukunya
Enkumi n’enkumi z’abavuzi b’obugaali beebetabye mu mpaka z’obukunya okutumbula okuvuga eggali Abantu bano bonna obugaali babutuddeko nga tebambadde yadde akagoye nga mu bitono oyinza okugamba nti babadde buswa. Empaka zino zibadde mu kubuga Manchester ne mu Brigthin n’ebibuga ebitali bimu okwetoolola amawanga agatali gamu. Mu […]
Akagaali k’abalema kaakano
Omusajja amaze omwaka mulamba ng’atambulira mu kagaali ayiyiizza akagaali abalema kebasobola okukozesa okuwalamba ensozi Calvin Williams kino yakiyiyiizza mu budde bw’amala mu kagaali era ng’akagaali ke kawagiddwa abantu okwetoloola ensi yonna Williams teyazaalibwa nga mulema wabula yava waggulu n’agwa era okuva olwo ali mu kagaali.
Yiino eccupa ekunyweesa amazzi
Mu ggwanga lya Bufaransa, abaayo bongedde okuyiiya engeri gyebayinza okuyambamu abantu okunywa amazzi. Bano bakozeeyo eccupa z’amazzi ezitegeeza omuntu nti ssaawa ya kunywa mazzi. Eccupa zino ziriko bendera emyuufu ng’eno yewuuba buli ssaawa z’okunywa amazzi zituuse Eccupa eno kino ekikola emirundi munaana olunaku. Kati gwe […]
Ono yejjusa kukendeeza masavu
Omusajja enzaalwa ye Romania abadde afa okusala amasavu akyejjusa oluvanyuma lw’okusala nga kati ate alinga mukadde. Olubadde olubuto olunene kati chapatti . Obunene omusajja ono bw’abaddeko nga tasobola kusiba kaguwa ka ngatto kyokka kati olususu oluyiika lw’asigazza terumukkiriza era ku busiba Omusajja ono atandise okwejjusa […]
Ice Cream azadde leenya
Abantu bwebabeera mu katyabaga baliko ennamba z’essimu zebakuba okufunaobuyambi. Kati yye ono omukyala mu kibuga West Midlands ayise poliisi liitiliiti okumuyambako oluvanyuma lw’okuseerebwa Icecream. Omukyala ono ategeezezza nti omusajja wa icrecream abadde yajjuzza kasoggo ke ate ng’atutte ssente ze.
Abagole bagudde mu nyanja
Abagole ababadde mu machati g’okwekubisa ebifananyi ku Nyanja emikolo gibabijjiridde bwebaguddemu bonna nebajojobala. Abagole bano ababadde batambulira mu nyonyi ekkakanye okumpi n’amazzi olwo obudaala bw’ennyonyi nebussibwa kyokka nga wakati mu kwekubisa ebifananyi, obudaala bukutuse n’ondabira Dan ne Jackie Anderson ekirungi nti amazzi gebaguddemu gabadde gumpi […]