Abagezi mu nsi tebaggwaayo.
Mu ggwanga lya America waliwo omufuusa akutte omupoliisi obudongo okukkakkana ng’amuguzizza ensawo y’enjaga
Omupoliiisi ono alabika nga naye alobye ng’enjogera bw’eri kubanga aba akwata ku nsaow bw’ati, omufuusa n’agibuzaawo
Katambi akalaga bino kakalabwa abantu obukadde musanvu n’ekitundu
Omusajja abbye banka oluvanyuma lw’okweyambulamu engoye zonna akwatiddwa lubona nga azzaako engoye zino mu kabuyonjo eriranyewo.
Ezekial Deanda, 32, atuuse mu banka emu nagyamu engoye olwo nanyagulula banka eno olwo n’amanyuuka awatalai kagoye konna ku mubiri.
Wabula abaserikale ba poliisi bamulinye akagere era bamusanze azzako engoye zino mu kabuyonjo emu nga bwabala ne kavu.
Olukwatiddwa nafujjira abaserikale bano…
Omukyala w’omukono ogumu asitula obuzito afuuse ekyelorerwa
Krystal Cantu eyatemebwaako omukono omwaka gumu ebanga oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje asitula akazito ka kilo 210 ng’akozesa omukono gumu
Omukyala ono agamba nti tayagala bya kwekubagiza nga y’ensonga lwaki abeera akozesa omubiri gwe
Mu ggwanga lya china waliwo akabizzi akaazaliddwa nga kalina amagulu 6.
Kano kazaaliddwa mu ssaza lye Sichuan wabula nga amagulu agamu galiko obulinya 2 ekitegeeza nti kalina obugere 8.
Kkwo okutambula kukakalubirizaamu olw’obutanywera bulungi ku ttaka nga katambula.
Abasibe mu kkomera erisangibwa ku kizinga kye Rikers mu kibuga Nweyork beekalaasizza nga si kirala wabula butalaba TV.
Abaddukanya ekkomera lino basindise abasibe okwebaka nga bukyaali okwawukanako nga bwebiba bulijjo abakulu bano kyebatakkirizza
Abasibe bano bwebalagiddwa okugenda okwebaka babigaanye era mu kwezooba n’abakuumi okusukka essaawa 2, eryaanyi likozeseddwa nga bakubwaamu omukka ogubalagala.
Abasibe bano babadde beebakanga ssaawa 11…
Poliisi mu ggwanga lya China etandise okukwata abavuga emotoka nga bamazeeyo amataala gaabwe kiyite full lights
Beebakwata ekibonerezo ekibaweebwa kjyakutunula mu mataala gano okumala eddakiika ttano
Ba dereeva bano kati balagirwa okutuula ku butebe , nebabakubamu amataala gano okumala eddakiika ttano olwo nebabata
Abakoze ku kibonerezo kino balulojja nga n’abamu amaaso gati batunula bagakkekkereza
Kati nga tonnafa tewevuma nsi.
Mu ggwanga lya Amerika mu kibuga Washington, waliwo namukadde ow’emyaka 87 aweereddwa ogw’obukuumi bwokukyalo.
Davis Olinger okuva bwekiri nti yazilwanako mu ssematalo owokubiri abatwala eby’obutebenkevu bakirabye nti ssabbaawa gyeyalina mu ssematalo yandiyamba okukuuma ekyaalo.
Ono kati yaweereddwa dda sselubwatula era akuuma kyalo.
Abantu abakola ebyewunyisa tebaggwa mu nsi.
Omusajja enzaalwa ya Amerika akungaanyizza abakyala 200 n’abasaba bakkirize okwebaka naye mu kiseera kyekimu.
Omusajja ono okuva mu ssaza lye Kalifoniya bino ebikutte ku katambi k’assizza ku mukutu gwa Youtube.
Omusajja ono lw’asooka okusaba abakyala bano bonna bagaana
.
Mu kibuga San Fransciso , omusajja eyakuza ekirevu nga kati akifudde sowaani afuuse ekyelolerwa
Isaiah Webb agamba nti mukyala we eyamuwa ekirowoozo yeeyamuwa amaanyi okukozesa ekirevu kye
Mu Alabama, omusajja enzaalwa ya America addukidde mu kkooti okuwaaba omubbi eyayingiridde amaka ge n’anuusa evvu lya mukyala we eyafa. .
Phillip yaviibwaako mukyala we era nga bw’eri ennono y’abazungua bamu, nebamwokya evvu n’alitereka
Wabula zaleese omubbi ng’ono olwalabye kku vvu lino n’alissa mu kappapula olw n’alinuusa ng’enjaga yenyini
Omusajja ono agambye nti omubbi ono mu kunuusa evvu…