Abantu bangi ekibatwaala ku mbaga keeki.
Kati ate yyo mu Bungereza keeki bagitadde ku ddaala ddala nga keeki esayalibwa omulangira Charles n’omumbejja Diana mu mwaka gwa 1981 etundiddwa doola 1,375 nga mu za wano bwebukadde busatu n’ekitundu
Bw’owulira keeki oyinz aokulowooza nti nnamba naye kabajjo nga gwe k’olya ng’ogenze ku mbaga
Keeki emaze emyaka 33 ebadde akyali njeru…
Abantu abamu baaba tebafiirwa
Omukyala abadde anuuna ice cream ekinyonyi nekimuwalukako tayimirizaamu asigadde anuuna
Bino bibadde mu ggwanga lya New Zealand
Omuwala ono ekyewunyisa takyusizza yadde ne ku feesi okulaga oba kalimbwe abadde akaawa ekiraga nti awoomeddwa
Ba kitunzi tebaggwaayo na Bukodyo
Mu ggwanga lya Canada, omusajja akola ssabuuni akozesebwa okusimuula asazeewo okukozesa ssabuuni ono okulongoosa olukuubo w’ayiye emmere n’atandika okugirya
Ravi Dalchand akozesezza ssabuuno amanyiddwa nga Bissell Symphony okulongoosa olukuubo luno
Atuuse n’okukwata omugaati okugusiimuuza suupu abadde wansi n’oluvanyuma n’alya
Abamulabye basamaaliridde nga beebuza omusajja abadde ki, kyokka oluvanyuma abakakasizza nti ssabbuuni gw’akozesezza okulongoosa atta…
Namukadde w’emyaka ekinaana, enviiri zimuvudde ku mutwe bw’afunye ebbaluwa okuva eri abagaba ez’obukadde nga eraga nti yafudde
Omukyala ono Fulton ebbaluwa emutuuseeko nga wayise omwezi bukyanga ewandiikibwa
Omukyala ono yecwacwanye n’ategeeza nga yye bw’ali omulamu yadde nga bafubye okumukkakkanya
Kkampuni esoose kumwetondera ng’eddamu okumuwandiikira olwo n’akkakkana
Mu ggwanga lya South Africa abakozi batabuse nebatta omusajja nga bakozesa emicungwa
Gwebakubye emicungwa abadde mukozi munaabwe nga bafunyeemu obutakkaanya
Omusajja ono tabaddeko buvune bwonna nga poliisi egamba nti ntiisa y’emusse
Abantu abayiiya ensimbi tebaggwaayo
Mu ggwanga lya America, waliwo kkampuni ekubisizza kaadi nga ziranga abakyala b’okusanyusaamu ababeetaaze.
Kaadi zino zikoleddwa nga zigulwa bafumbo bokka abagaala okuziwereeza baganzi baabwe ab’ebbali era nga zisindikibwaako obumuli ne mu choclate
Ab’omukutu guno bbo bagamba nti ogwaabwe gwakukwatagana basajja n’abakyala baabwe ab’ebbali kubanga kituufu babeetaga.
Ndowooza kkampuni eno n’etuuka e Uganda, ensimbi ekola kisaganda
Omukyala mu kibuga Florida akkirizza nga bweyawa muwala we ensiringanyi ngayagala asale amasavu
Omukyala ono Osorio agambye nti omuwala ono yajja okumwebuzaako ku ngeri y’okukogga nga yenna olubuto lumuzimbye
Ensiringanyi zino wabula zatuuka nezifuuka ensonga ng’omuwala azimba buzimbi lubuto kukirako ndizaaala
Omuwala ono bamuwadde eddagala n’atandikirawo okufuluma ensiringanyi zino nate ng’atenda nyina ttima.
Yye nno maama we alumiriza nti…
Ebiseera ebisinga emmese olulaba omuntu nga edduka.
Naye mu kibuga Newyork waliwo nsomba byuuma etutte omukubi w’ebifananayi emisinde bwabadde agikuba ebifaananayi.
Josiah Ryan, akolera olupapula lwa TheBlaze, y’ataddeko kakokola tondeka nyuma nga bwabadde akuba emmese eno ebifaananayi.
Ono asizza ekikoowe n’ategeeza nga emmese bwebadde emuliddewo.
Mu ggwanga lya America wazzeewo omuzannyo ng’abagwetabamu beeyiira amazzi aganyogoga ng’omuzira
Ekigendererwa ky’omuzannyo guno kyakujjukiza bantu ku bantu abeesiba emisuwa era nga abamu ku bagagga nkugwe okuli ne Bill Gates amaze okugwetabamu
Wabula omu ku beetabye mu muzannyo guno kati afuuse mboozi , oluvanyuma lw’okusittuka amazzi gonna negamuyiikira yadde abadde agayiira mwanyina.
Omukyala ono kimuyitiriddeko nti aamaziga ga…
Omusajja enzaalwa ya America amazaalibwa ge ag’emyaka 73 gamusanze ku mulimu.
Omulimu gw’akola gwa mataala era nga kati agukoledde emyaka 73
Omusajja ono yagamba nga abantu nti alinda kuweza myaka 100 alekulire kyokka nga bweyagiweza n’akyuusa ekirowoozo.
Omusajja ono yatandika okukola emirimu gye mu mwaka gwa 1941