Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Emboozi

Omusajja ali lubuto

Ebyewunyisa tebiggwa mu nsi Mu ggwanga lya America omusajja eyasanyuka ennyo nga mukyala we afunye olubuto bitandise okumuggwaako Harry Asby etandise okufuna obubonero bwonna omukyala bw’afuna ng’ali lubuto okuli n’okusesema Omusajja ono ayoyeza ddala ng’ali olubuto nga kati atandise n’okumera amabeere Omusajja ono yye agamba nti yasooka kunyiiga kyokka kati musanyufu nti asobodde okumanya mukyala we obuzibu bw’ayiseemu

Read More

Okuganza mukozi munne- bangi tebawangaala

Abantu bangi boogera bubi eky’okwagala abantu bebakola nabo naye nga bangi bakikola Kigambibwa okuba nti ku buli bantu 20 b’osanga, 1 aba yaganza omuntu gw’akola naye Kigambibwa okuba nti abantu bangi batuuka n’okuviiramu webatalaga nga byonna babikola okubuzabuuza abalala ku mirimu gyebakolera. Wabula okunonyereza kuno okukoleddwa mu Bungereza kulaga nti omukwano gwekika kino teguwangaala nga gufa olw’engambo.

Read More

Eyagwa ku kabenje atandise kwogera lu china

Omusajja amaze wiiki nnamba ng’azirise oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje agenze okudda engulu ng’ayogera lu China. Ben McMahon okuva mu Australia atiisizza  abenganda ze bw’atandise okwogera byebatategeera Ono ng’alaba abantu bamutunuulira mu ngeri eyewunyisa, abasabye ekkalamu n’awandiika wansi kyokka ng’era mu lu China Bakadde be bagamba nti omwana waabwe tayogerangako lu china yadde okulowandiika

Read More

Asinga obukadde awezezza emyaka 127

Omukyala asinga obukulu mu nsi yonna ng’ono nzaalwa ya Mexico yawezezza emyaka 127 ku lunaku lwa ssande Lumbreras agamba nti yazaalibwa nga 31 ,mu mwezi gw’omunaana mu mwaka gwa 1887. Ab’enganda ze bagamba nti ekyaama ekituusizza omukyala ono ku bukadde buno kwekulya chocolate, okwebaaka ennyo n’obutafumbirwa Omukadde ono alina abazzukulu nakabiri 73 n’abazzukulu nakasatu 55

Read More

Akooye amazzia amabisi

Ebibbisa abantu tebiggwa mu nsi eno, Mu kibuga Lextington mu America, omusajja akwatiddwa lwakumenya nyumba ya Neyiba ng’ekimutwalayo kunaaba ku mazzi gookya Ryan Carpenter  ayise mu dirisa okutuuka mu nyumba Omusajja ono bw’abuuziddwa lwaki amenye enyumba ya Neyiba agambye nti abadde akooye okunaaba amazzi amabisi

Read More