Poliisi mu ggwanga lya China eri ku muyiggo gwa mugoba wa nyonyi asimbye ku ssundiro ly’amafuta n’asimba mu lukalala lw’emmotoka ezinywa amafuta
Enyonyi eno ebadde entono tepapye erinze ng’emotoka endala era nebagisaamu amafuta
Okugiyiwamu nno amafuta tekubadde kwangu ng’assamu amafuta awalampye ku kiwaawo okutuuka ku ttanka
Omu ku bakozi ku ssundiro lino agambye nti enyonyi eno ebaddemu abantu…
Omufaaza abadde agatta abagole mu ggwanga lya Ireland asanyusizza abantu bw’asazeewo okubayimbumu obuyimba ku nkomerero y’omukolo .
Bano nno babadde balowooza nti abadde abayimbiramu buyimbizi kumbe abadde atongoza akayimba ke aka Halleluyah akapya
Omufaaza ono obwedda ayimba n’obwagaazi bw’amaze yebazizza abantu okubaawo ng’atongoza akayimba ke
Kuno kwebayita okuyiiya, tategese kivvulu ate nga n’abantu abafunye okutongoza akayimba ke
Omwana omuwala eyatwaala embizzi ye ku ssomero gy’asomero okugiwonya ekiwuubaalo ewaka kimuweddeko bw’asanze ng’ab’essomero bagisaze
Omuwala ono agamba nti ekyamutwaaza ensolo ye ku ssomero kuzannya n’endala ezibeerayo era nga yali tamanyi nti bayinza okugisala
Wabula bbo ab’essomero bagamba nti embizzi eno ebadde erwaana nnyo nga yagezaako n’okuluma omwana olumu
Abasabaaze mu ggaali y’omukka basattidde bwebalabye emmese ng’etambula nabo
Eggaali eno ebadde mu kibuga Newyork ng’edda mu Manhattan ng ‘omu ku basaabaze y’asoose okulaba emmese eno era mu kuwoggana abalala badduse.
abandi obwedda tebamanyi kiguddewo naye nga baddukira mu nkuubo za ggaali y’omukka eno
Embwa zimanyiddwa nnyo okwagala okulya kyokka nga ziboola mu zebirya.
Naye obadde okimanyi nti waliyo embwa eyefumbidde emmere yaayo.
Kati bangi balowooza balimba.
Embwa eno ya mu America ng’olumaze okufumba n’etuula ku dining bulungi n’ekwata fooko n’akambe n’etandika okulya
Embwa eno teyerabidde kwessaako kagoye okwewala okwetonnyeza
Olutambi olulaga embwa nga yejaga kati lutunda nga keeki…
Omusajja abadde agenze okulya lanki ne muganzi we kimuweddeko okudda ng’emmotoka mwebatambulira eri mu mwaala ebulirayo
Tomos Wiliams emmotoka abadde agisimbye okumpi n’omwaala olwo n’agenda okulya emmere.
Ebyembi nti emmotoka eno ebadde ya mulimu era amameeme gatandise okumukuba ne laavu n’emuggwaako.
Tekinnategerekeka oba emmotoka eno abadde gisimbye bubi oba waliwo owe ttima eisindiseewo kubanga w’abadde wabaddewo emmotoka endala…
Omwana omuwala eyasalako enviiri ze okulaga obuwagizi ku lutalo lwa kokoolo ayolese okubonerezebwa ku ssomero gy'asomera.
Omwana ono alagiddwa mu bwangu okwambala enviiri z'ekimpatiira
Jees Vine nga wa myaka 15 yasalako enviiri ze ezaali empanvu oluvanyuma lwa jjajja we okufa kokoolo
Maama w'omwana ono agamba nti omwana we bamugaanye okudda ku ssomero ng'alina akawalaata
Omukyala abadde avuga emmotoka okuyita mu miti kimuweddeko, ekinyonyi bwekiyise mu ndabirwaamu nekiwummulira mu siteliingi
Omukyala ono abadde ayita mu ssaza kye Adam ng’ava mu kibuga Colorada.
Omukyala ono awogganidde waggulu mu kutya ate nga kyo ekinyonyi kino yadde kifunyeeko obuvune naye tekifudde
Abazigu abalumbye enyumba y’omukadde tebakomye ku kino wabula bamukutte amagulu nebatandika okumuwuuba nga bwebamwetolooza
Ebifananyi ebifulumiziddwa mu ggwanga lya Romania biraga ng’omu ku babbi amuuba namukadde abadde awogganira waggula ng’asaba obuyamba
Banne b’abadde nabo b
Tuyingira mu nnaku za wiikendi era mu nnaku zino embaga zibeera nyingi.
Kati gwe omugole omukazi kubamu akafananyi nga bbaawo talabiseeko ku mukolo olw’omwenge gweyanywedde n’agangayira
Enkeera ejja yetonda wandikoze ki,
Mu ggwanga lya Australia omusajja ow’ekika kino alwaana kufuna kisonyiwo okuva eri mukyala we
Jacob Francis agambye nti teyagenderedde kugangayira nga yanyweddeyo obucupa busatu bwokka kyokka nga kyamuweddeko…