Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Emboozi

Gwe bagobye ku mulimu akozze

Abantu bangi bassaako omugejjo nga nebwebakola ki tegulina gyegulaga Ne Richard enzaalwa ye Bungereza yakola buli kimu naye nga tasala masavu naye mu bbanga ttomu omusajja ono kati nga wamulabye mutono muzibu Richard ono yagobwa ku mulimu gyebuvuddeko era ogubadde ogubiri kati kabiri olw’ebiroowozo Omusajja ono yali yalekera awo okuzina mu kiraabu ye gyeyalimu olwo obunene kyokka nga…

Read More

Abakazi tebaagala kukula

Eky’abakyala obutayagala kukula kirabika kiva buto. Mu ggwanga lya Bungereza, Nalongo asese enseko kata afe oluvanyuma lwa muwala we omu ku balongo okukaaba ng’awulidde nti awezezza emyaka ena. Omulenzi yye alabise nga tafaayo naye akawala kano kagambye maama waako nti okukuza amazaalibwa kitegeeza kukaddiwa ate nga kko tekakyagala Kano okukasanyusa bamaze kukagulira bwa kumatu nekasekamu Kati ndowoozo mutegedde gyekiva

Read More

Olunaku lw’okulimba- buli omu alwogerako bubwe

Leero lubadde lunaku lwakulimba naye nga bangi balwogerako bingi Abamu lubanyiiza okuba nti ssi lwakuwummula abalala ate abalala nti luggwaako lutya essaawa omukaaga Naye obadde okimanyi nti abamu olunaku luno lubanyiiza kubanga kizibu okwesiga omuntu yenna by’akugamba. Ate waliwo abagamba nti bbo bakoowa abantu abeekola obusolo kubanga bubanyiiza bunyiiza Kati ggwe eyalimbye ogwa wa…..kyewakoze omuntu kyamusanyusizza oba yakwetamiddwa Eky’okuddamu nze…

Read More

Omwana akimazeeko bakadde be

Abaana abato bwebabazzaako bakitwala mu ngeri ya njawulo. Abamu basanyuka ate abalala bayisibwa bubi era nebakyayiira ddala bato baabwe Kati nno mu ggwanga lya America, omwana omulenzi gwebazizzaako omuwala omulundi ogw’okubiri akubye emiranga egimazeeko bakadde be ebyewungula Bakadde b’omwana ono bakoze keeki mu ngeri y’okujaguza wabula bwebamubuulidde nti muto we muwala akaabye amaziga nga bw’awogganira waggulu nti akooye…

Read More

Emmese ebagobye mu kiyungu

Emmese eyakula n’ewola alesezzaawo abantu ekiyungu kyaabwe mu ggwanga lya Sweden Emmese eno ebadde okumanya nene ebadde efubutula ne kkapa y’ewaka n’edduka Omwami agambye nti mukyala we y’amukubidde essimu ng’ali ku mulimu n’amubuulira ku mmese eno era mu kusooka asoose kubiyita bya lusaago kyokka okugituukako kimuweddeko Omusajja ono agambye nti ekisinze okumutiisa y’emmese eno okumutunuulira nga temujjaako maaso…

Read More