Omuvubuka abadde ne muganzi we nga bakyamyeeko mu dduuka kibaweddeko bwebawulidde ng’engombe y’emmotoka yaabwe ekuba obutamala.
Bano badduse ebweru okulaba ekigenda mu maaso era okusanga ng’embwa yaabwe gyebalese y’ekuba engombe
Embwa eno ekyewunyisa nti ebadde mu mutto gw’emabega naye evuddeyo n’edda mu maaso.
Abazadde bangi basusuuta abaana baabwe gyebigweera nga babonoonye.
Naye bangi abaana bano batuuka akaseera nebabaswaza mu bantu nga tebakyalina kyakukola
Bwegubadde ku mukyala mu Bungereza abadde ayombesa mutabani we okugenda butereevu n’asaba jjajja we eky’okunywa ng’ate abadde waali.
Omwana ono ow’emyaka 3 yecwacwanye era nyina mu kumuddamu naye amuwogganidde nti sirika.
Ababatitiibya ndowooza muliko kyemuyize.
Abazungu bagaala nnyo ebisolo naye oyo yye bakimumazeeko.
Omuvubuka ono abadde ayoyoota akafudu akato kimuweddeko bw’abadde akanywegeera nekaluma emimwa
Takomye wano tekagiremera era obwedda buli bwekagisika ng’akuba enduulu.
Omusajja ono oluvanyuma addukiriddwa abantu abamusiseeko akafudu kano naye ng’amaziga gamuyiseemu dda.
Embwa eno ento mu bungereza enyweera ku ccupa era emanyi n'okugyekwatiira
Omukyala amaze emyezi mukaaga nga tali ne muganzi we olw’emirimu essanyu kata limutte wba’asanze nga bba ategekese embaga yaabwe ku lunaku olwo lwenyini lw’akomyeewo.
Omuwala ono olutuuse ewaka asanzeewo jjaja we amuwadde ebbaluwa era naye kwekugisumulula.
Okusomako nga muganzi we amutegeeza nga bw’alindiddwa ku mbaga era wano jjajja we egyeeyo ekiteteeyi kye n’amwambaza era wakati mu ssnayu…
Abazungu byebakola tebiggwaayo.
Kati yye ono egeze embwa ye eri mu kulongoosebwa n’akwata omusaayi gwaayop n’agukozesa okugikubako ttatu
Ttatu eno ebadde ya mUtima oguyiseemu akasaale nga kabonero ka mukwano era bw’amaze awo n’awandiika ko n’erinnya lya mukyala we
Bino byonna ebikoze ng’embwa esirisiddwa era ng’ebadde mu tulo naye nga bagirongoosa
Wabula omusajja ono ayolese okuvunanaibwa emisnago gy’okulinyirira edembe ly’ebisolo.
Abalabye…
Abantu byebegomba bikusobera mu nsi.
Kati yye omuvubuka ono yezira kulaba ku kiyenje kyonna ng’akuba mu ttama
Omuvubuka ono agamba nti ebiwuka ayoya biyoye ng’aby’akererako , by’alya ekyemisana nga n’ekyeggulo bw’atyo.
Yasooka kulya nzige ezamuwoomera kwekugezaako ebiwuka ebirala nga nabyo biwooma era tadda nga mabega
Abantu bangi bagaala nnyo embwa era abalala batuuka n’okuzagaala okusinga ku bantu
Guno bweguli naye ate kw’ono gwasusse.
Mu ggwanga lya Colombia, omusajja ayigirizza embwa ye okuvuga eggaali era embwa eno ekwatiddwa ku lutambi ng’essa mu nkola ebigisomeseddwa
Embwa eno erabise ng’enyumirwa by’ekola kumpi kutuuka kufuuwa luwa
Omuwala abadde tamanyi nti ali lubuto kata asuule omwana mu tooyi
Omuwala ono ow’emyaka 25 ng’abadde akyabeera wa bakadde be, olubuto olubadde lumuluma ennyo lwelumujje mu tolo ng’obudde bukya
Omuwala ono addukidde mu ttooyi kyokka kimuweddeko okuwulira nga bbebi akaaba
Omuala ono agambye bw’awulidde omwana akaaba, ayanguye okumubaka era nga bagenze okumupmai ng’akunukkiriza mu kilo ssatu
Wali olabyeeko abantu abafagana nga kizibu nnyo okubaawula.
Kubamu akafanyi ng’oli musomesa ng’olina emigogo gy’abalongo ng’ena mu kibiina ky’osomesa, osobola okubawuula?
Kati nno omusomesa mu ggwanga lya China yye abivuddeko olw’ekibiina ky’asomesa okubaamu emigogo gy’abalongo 10.
Bano baweza abaana 20 ku bayizi 22 b’alina mu kibiina Abaana bano bafanagana okufaako obufi nga tasobola kubwuula
Omukyala ono agambye nti tasobola…