Omusajja enzaalwa eya America asazeewo kumala mwaka mulamba nga tayambala ngatto okujjukiza abantu nti waliwo abaana abataliba ngatto.
Richard Hudgins wa myaka 28 nga mukozi mu saluuni era nga aliko n’embaga gyeyagenzeeko nga talina ngatto.
Ono ne mukutwala muwala we mu ssomero kko n’okugenda mu supamaket okugula ebintu etambuza bigere.
Omusajja ono agamba nti ayagala kuweza emitwalo gya…
Omuzadde abadde atambula agage kimuweddeko bwagudde ku mutabani we ng’ali mu kuzannya na bubwa obutaliiko nyini bwo
Omwana ono abadde abaza nga kitaawe ng’amulimba nti agenze kutambulamu ne banne olwo n’agenda eri obubwa buno
Omwana ono alabise ng’akikola buli lunaku kubanga obubwa olumulabye nebumuyiikira mu ngeri y’okumwaniriza
Bwebakebedde mu nsawo ye basazeemu emere gy’abadde yetikkira embwa eno buli…
Kano ka bakyala.
wali ofunyeeko ku kirowoozo ekikwata ekibeera ku maaso ga balo ssinga omugamba nti oli lubuto.
Kati yye omukyala ono yateze bba kamera olwo n’amutegeeza nga bwebabadde bagenda okuzzaako omwana waabwe kubanga yabadde lubuto
Omusajja ono yalabise ng’atidde kyokka ng’atya okukiraga mukyala we .
Mu kwebuzabuuza yasese amajemulukufu kyokka ate n’anyiiga omulundi gumu,.
Wano wewebuuliza nti abasajja bameka…
Omukyala abadde asuubira okuzaala abaana basatu kumuweddeko n’ow’okuna bw’avuddeyo
Omukyala ono ow’emyaka 42 wa mu kibuga Mississippi era nga balongoosezza mulongoose
Abasawo bagambye nti omwana ow’okuna omuwala abadde yekweka ng’emyezi gyonna omwenda tebamulaba yadde bakola sikaani ezitali zimu.
Abaana bano bonna bawala era nga bakyassiza ku byuuma kubanga bazaaliddwa nga tebannatuuka
Enjogera y’ekisa kitta etuukidde bulungi ku mboozi eno,
Mu ggwanga lya Germany, omukyala atutte endogoyi ewuwe okugiwonya omuyaga yejjusa
Endogoyi eno egaanye okuddayo ewaabwe waayo
Omukyala ono agambye nti alabye ng’omuyaga guno guyinza okweera endogoyi eno negujiviirako okufa era bw’atyo kwekugyetikka okutuusa ewuwe
Endogoyi eno asiiba yeeyagalira mu nju ey’ebbeeyi era nga Kati erya ne ku mmere y’abantu
Sebo endogoyi…
Omukyala ono atabuse nga ssi nsonga ndala wabula Kaboozi
Ashley Marie Prenovost, 24, nga wa mu kibuga Arizona, akanyizza kusendasenda bba nga talina ky'akola era ky'akoze kukwata mwana waabwe ow'emyezi ena n'adduka naye ngabw'awogganira waggulu nti bamummye akaboozi.
Mu Kwecakula kuno, omwana ono akubye omutwe ku ndabirwaamu n'alumizibwa
Ono era afunye ebisago kubanga akubye ekisenge ebikonde, era nga…
Abantu bangi naddala abagoba b’emmotoka bangi obasanga nga bawanda abapoliisi olulusu
Bangi bakoma wano naye ssi bangi eri ono abeera mu Kyrgyzstan.
Ono yayimiriziddwa owa poliisi era naye n’ayimirira wabula nageze azze mu maaso g’emmotoka n’asimbula
Mu kwewala okukoonebwa, omupoliisi abuukidde emmotoka neyenywereza ku bonnet kyokka tekirobedde mugoba wa motoka kugenda mu maaso.
Mu ggwanga lya Japan abasajja 9000 beyambudde engoye nebatandika okulwanira obuti bubiri obugambibwa okubeera obw’omukisa.
Bino bibeerawo buli mwaka nga abasajja bagyamu engoye nebalwanira obuti buno obuyitibwa shingi obugambibwa okubeera obw’omukisa enyo.
Entujjo eno yakamala emyaka 500 nga yeetabwamu abajapani bano.
Ebyewunyisa tebiggwa munsi naye mu ggwanga lya Brazil namukadde ow’emyaka 84 asangiddwamu omwana atanazalibwa mu lubuto lwe nga yakamalamu emyaka 44.
Namukadde ono agamba nti yali amanyi olubuto lwavaamu kubanga omwana yali takyekyuusa.
Wabula yatandise okulumwa ebisa nga ate ku kyalo tekulu basawo batendeke kwekusalawo okwolekera eddwaliro lya Porto Nacional eno gyebakamutemedde nga bwalina omwana munda.
Ono olumaze…
Abantu bangi balwaawo nga tebaliiko bagalana era nga bawulira okiwuubulo emirundi mingi nga tebalina ababeezabeeza
Kati nno abazungu engeri gyebayiiya buli kimu bayiyiiza ka pillow akaliko n’emimwa abatalina bagalwa kebanakozesanga okweyigiriza oba obuterebira bwebanywegeera
Bu pillow buno bukoleddwa mu kibuga Florida ekya America nga buyamba ko abo abamenyeka emitima nabatamanyi kunywegeera
Akoze bu pillow buno agambye nti abukoledde…