Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Emboozi

Eyemoleedde ku mupoliisi gamumyuuse

Waliwo omusajja akwatiddwa oluvanyuma lw’okuzinira mu maaso g’omupoliisi omukyala mu ngeri esoomooza ng’amuyita bano abazina obukunya Omusajja ono atandise okuzina nga bw’awuuba akatawulo obwedda k’akoona ku musirikale ono Omusajja ono abadde asiibye ng’anywa  ayanguye okusemberera omupoliisi ono abadde anonyereza era ku batamiivu balala abaali basiwuuka empisa

Read More

Esweeta ekoleddwa mu nviiri

Abayiiya tebaggwa mu nsi. Mu ggwanga lya China, omukyala ayiyiiza esweeta okuva mu nviiri ze Omukyala ono eyali omusomesa amaze emyaka 11 ng’atunga esweeta eno . Enviiri mw'atunze esweeta abadde aziggya mu kasanirizo ke k'akozesa buli lunaku. Omukyala ono agambye nti abantu bangi beegomba enviiri ze olw’okunyirira nga y’ensonga lwaki abadde takyazisuula

Read More

Ono omukwano gumusudde eddalu

Abantu bakola obumodi obutali bumu okusanyusa baganzi baabwe. Kati yye omuvubuka abadde ayagala okusaba muganzi we okumukkiriza amufumbirwe abiyingizizzaamu poliisi. Mat van ateesezza n’aba poliisi nebamukwata ne muganzi we nga batambulira mu mmotoka . Babasanze batambula nebamusikayo  mu motoka era wano omuwala n’atandikirawo okukaaka. Wano omupoliisi w’ajjiddeyo empingu naye nga mu kugyaawula munda agyemu empeta n’ajiwa omusajja era mu…

Read More

Owa Man U yekyaaye

Omusajja abadde yesiye amagengere akubidde poliisi essimu ng’ayomba Ono asoose kubasaba nti ayagala kwogera ne Ferguson era bwebamwirisizza n’abatandikako Akulira poliisi mu Kibuga Manchester agambye nti kiba kya nnaku nyo ng’omuntu tiimu ye ewanguddwa kyokka nga’okukuba essiimu yaabwe ssi kye ky’okuddamu

Read More

Abanja za ssaala ze

Waliwo omusajja enzaalwa ya South Africa akubye kkampuni y’amasanyalaze mu mbuga z’amateeka ng’alumiriza nti essaala ze zeezalemezaako amasanyaalaze mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ezaali mu ggwanga lino mu mwaka 2010. Omusajja ono ayagala aba Eskom ababunya amasanyalaze mu South Africa bamusasule obukadde 250 olw’essaala ze ng’amasanyalaze tegavaako yadde olunaku olumu. Ono agambye nti amasanyalaze gaali gavaako nnyo…

Read More

Ono omukka ogujjuza emipiira aguyisa mu nyindo

Ebyewunyisa tebiggwa mu nsi. Omusajja ow'emyaka 61 mu ggwanga lya China yeegulidde erinnya lwakukozesa nyindo ye kufuuwa mukka mu mipiira. gwe gy'ogendera ku masundiro g'amafuta okupika omukka mu mipiira yye addira nyindo ye n'atandika okusikuma ommukka era wayita mbale omupiira guno nga gujjudde Nie Yongbing ekyewunyisa nti kino asobola okukikola nga waliwo alinnye ku mupiira ogwo. Ono agambye nti…

Read More

Bu kkapa bwambala jiini

Abantu bangi balina ebisolo naye nga tebamanyi ngeri yakubisanyusa Obadde okimanyi nti teri kisanyusa kkapa nga kwambala jiini Bu kkapa buno kizuuliddwa nti bwagala nnyo okwambala jiini nga zisibiddwaamu n’omusipi nga buli bwebutambula nga bugikulula ee, esanyu nerikirako omwookyi wa gonja Gujabagira ssinga bu kkapa buba bubiri nga bwebwegoba, anti buli akatunuulira kanne nga kasanyuka olwo amaka gaabwo…

Read More