Olwali
Empaka za z’ebisolo ebisinga obulungi
Waliwo empaka z’ebisolo ezitegekeddwa mu ggwanga lya Bungereza Empaka zino zeetabiddwaamu embwa, kkapa n’enjiibwa kyokka nga kkapa emu eyaleeteddwa y’ekyanywedde mu bisolo ebirala akendo Omuwanguzi w’empaka zino agenda kulangirirwa nga 13 omwezi guno.
Essasi liramudde
Abasajja bangi abakyala babakubira amasimu nebagatunulako nebaleka awo nga tebagakutte Eyakikoze mu kibuga Florida mmundu yebimaze. Omuwala ono abadde amaze emyaka 2 nga bayomba ne bba era lwabutakwaata ssimu kyokka nga ku luno yamujjiddeyo emmundu era nebatandika okugirwanira Mu butanwa essasi lyakubye omusajja era nga […]
ono ebizibu bye biwedde
Omukozi mu kifo ekiriibwaamu emmere, mu ssanyu eringi akubye omulanga, abazze okulya bwebamusasulidde amasanyalaze g’omu maka ge Khadijah Muhammad abadde alemereddwa okusasula amasanyalaze oluvanyuma lw’okukozesa ensimbi zonna z’afuna ku mulimu kujjanjaba nyina abeera mu kibuga Ohio ekya America. Omuwala ono yakubisizza akapappula keyassizza ku nju […]
Bimuwedde n’atema ekikumi
Omuvubuka azuukuse n’asanga ng’awabadde emmotoka ye waliwo ekinnya ataddeko kakokola tondaka nyuma . Omuvubuka ono adduse n’ayita nyina ne kitaawe omuto nebabulawo nga batya nti beebaddamu okubulira mu ttaka Abakugu mu mbeera z’obudde batandise okunonyereza ekivuddeko ekintu kino
Ono alya lipusitiika
Abantu gyebayoyoza enkoko n’enyama ono yye ayoya bakyala byebakozesa okwebyuula. Britoni okuva mu kibuga Ohio wa myaka 22 ng’alya lipusitiika, ayishado ,’ebirala
Asingisiddwa gwa kukwata nte na ndiga
Omusajja ono asingisiddwa omusango gw’okukwata ente n’endiga mu Kibuga Totenham ekya Bungereza. Omusajja ono yasangibwa abagaalana abaali bawummuddemu nga yeberese ku nte. Omusajja ono yegaana emisnago yadde nga yasnagibwa ali mu sitokisi na ngatto zokka.
Ente efunye amagulu
Ente eyamenyeka amagulu gyebuvuddeko etadise okutambula oluvanyuma lw’okugifunira age kimpatiira Ente eno nyini yo abeera mu kibuga Texas
Eyemoleedde ku mupoliisi gamumyuuse
Waliwo omusajja akwatiddwa oluvanyuma lw’okuzinira mu maaso g’omupoliisi omukyala mu ngeri esoomooza ng’amuyita bano abazina obukunya Omusajja ono atandise okuzina nga bw’awuuba akatawulo obwedda k’akoona ku musirikale ono Omusajja ono abadde asiibye ng’anywa ayanguye okusemberera omupoliisi ono abadde anonyereza era ku batamiivu balala abaali basiwuuka […]
Esweeta ekoleddwa mu nviiri
Abayiiya tebaggwa mu nsi. Mu ggwanga lya China, omukyala ayiyiiza esweeta okuva mu nviiri ze Omukyala ono eyali omusomesa amaze emyaka 11 ng’atunga esweeta eno . Enviiri mw’atunze esweeta abadde aziggya mu kasanirizo ke k’akozesa buli lunaku. Omukyala ono agambye nti abantu bangi beegomba enviiri […]
embwa efunye engatto
Abaganda bagamba nti buli mbwa n’olwaayo. Akagero kano katuukidde ku mbwa eyambadde engatto omulundi ogusoose Embwa eno bakama baayo bagyigulidde engatto olw’omuzira oguusukkiridde mu kibuga New York kyokka ng’erabiddwaako nga yonna acacanca nga bw’edduka okwetoloola enyumba.