Olwali
Pulezidenti afuse mu mpale
Olutambi olulaga omukulembeze w’eggwanga lya Colombia ng’afuse mu mpale lutunda nga keeki eyokya Abantu abasoba mu mitwalo 30 beebakalaba ku lutambi luno Pulezidenti Santas yabadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza kampeyini ze abantu bagenze okulaba ng’empale ze zitandise okutoba Omusajja ono ow’emyaka 62 atamanyiddwaako kirwadde kyonna […]
Omuzadde asindise omwana we ku ssomero ekyaamu
Omwana ow’emyaka etaano amaze olunaku lwonna ku ssomero ekyaamu lwakulinnya baasi nfu mu kibuga New York. Abakulira essomero lya Schenectady city school bagamba nti maama w’omwana ono yakkirizza nti yakoze ensobi omwana n’amuteeka ku baasi enfu kubanga yalabye dereeva ng’amumanyi. Ab’essomero babaddeko omwana omupya gwebasuubira […]
Adduse bukunya
Ebifananyi ebifulumiziddwa mu ggwnaga lya Malysia biraga nti omugoba w’enyonyi eyabula yali musajja mukugu era yakeberebwa bulungi ng’agenda okulinnya enyonyi eno Omugoba ono Zaharie Ahmad ow’emyaka 53 yali ayambibwaako Abdul Hamid ow’emyaka 27 Mu bifananyi ebifulumiziddwa, ababiri bano balagibwa nga bakeberebwa kisaawe mu kibuga Kuala […]
Kwata emmese ofune bbiya
Abayizi mu ggwanga lya NewZealand bali ku mulimu gwa kuyigga mmese Bano bawereddwa akakisa okuwangula bbiya ku buli mmese gyebakwata nga nnamu oba nfu Omu ku baggagga mu ggwanga lino y’atandise enkola eno nga yoomu eno era yakolako ne kawefube agoba kkapa mu ggwnaga lino. […]
Alengedde abanyumya akaboozi abaloopye ku poliisi
Omusajja abadde mu maka ge n’alengera abeerigomba ensonga ezitutte ku poliisi.. Bano nno babadde mu maka gaabwe nga bali mu kwesanyusa Omusajja ono ow’emyaa 34 agambye nti abadde ali mu ddirisa lye etunula ebweru kwekugwa ku bagalana nga befunyiridde era naye kwekukubira poliisi ng’agamba nti […]
Eno embwa terina bugumikiriza
Omuvubuka abadde ne muganzi we nga bakyamyeeko mu dduuka kibaweddeko bwebawulidde ng’engombe y’emmotoka yaabwe ekuba obutamala. Bano badduse ebweru okulaba ekigenda mu maaso era okusanga ng’embwa yaabwe gyebalese y’ekuba engombe Embwa eno ekyewunyisa nti ebadde mu mutto gw’emabega naye evuddeyo n’edda mu maaso.
Omwana akimazeeko nyina
Abazadde bangi basusuuta abaana baabwe gyebigweera nga babonoonye. Naye bangi abaana bano batuuka akaseera nebabaswaza mu bantu nga tebakyalina kyakukola Bwegubadde ku mukyala mu Bungereza abadde ayombesa mutabani we okugenda butereevu n’asaba jjajja we eky’okunywa ng’ate abadde waali. Omwana ono ow’emyaka 3 yecwacwanye era nyina […]
Akafudu kakimukoze
Abazungu bagaala nnyo ebisolo naye oyo yye bakimumazeeko. Omuvubuka ono abadde ayoyoota akafudu akato kimuweddeko bw’abadde akanywegeera nekaluma emimwa Takomye wano tekagiremera era obwedda buli bwekagisika ng’akuba enduulu. Omusajja ono oluvanyuma addukiriddwa abantu abamusiseeko akafudu kano naye ng’amaziga gamuyiseemu dda.
Embwa yiino enyweera ku ccupa
Embwa eno ento mu bungereza enyweera ku ccupa era emanyi n’okugyekwatiira
Embaga eyekibwatuukira
Omukyala amaze emyezi mukaaga nga tali ne muganzi we olw’emirimu essanyu kata limutte wba’asanze nga bba ategekese embaga yaabwe ku lunaku olwo lwenyini lw’akomyeewo. Omuwala ono olutuuse ewaka asanzeewo jjaja we amuwadde ebbaluwa era naye kwekugisumulula. Okusomako nga muganzi we amutegeeza nga bw’alindiddwa ku mbaga […]