Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku by’okwerinda batenderezza poliisi olw’engeri gyeyakuttemu Amama Mbabazi ne Dr Kiiza Besigye olunaku lwajjo
Nga boogerako eri bannamawulire, ababaka bano abakulembeddemu Benny Namugwanya bagambye nti baludde nga basaba poliisi obutakozesa lyaanyi ku bakulembeze era nga ku luno babawulirizza
Namugwanya agamba nti poliisi erina okufuba okulaba nti tekwata bubi beekalakaasa kyokka…
File Photo : Abalwani ba Alshabab
Abasirikale bannakenya babiri abawambibwa aba Alshabaab emyaka ebiri emabega kyaddaaki bayimbuddwa
Aduumira poliisi ye Kenya Joseph Boinnet agambye nti bano balamu bulungi yadde nga bakyaalimu ensisi.
Abasirikale bano bwambibwa mu bulumbaganyi obwakolebwa ku yunivasite ye Garissa mu mwaka gwa 2013
Mu bulumbaganyi buno abantu 148 beebalusuulamu akaba
Omusajja ayise akavubuka nekamwanukula nga kamuvuma aguze ssabbuuni n’akanaaza mu kamwa ng’agamba nti kasusse
Omusajja ono enzaalwa ye Bungereza akaana k’awadde essomo ka myaka mukaaga
Wetwogerera nga naye awerennemba nga misango gyakutulugunya bbujje
File Photo: Mbabazi eyali sabaminisita
Ab’ekibiina kya NRM bagamba nti eyali ssabaminisita Amama Mbabazi waddembe okwebuuza ku balonzi be ssinga amala n’ajjayo ffoomu z’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga ssabbiiti ejja.
Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa abo bonna abagaala okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga, okukiika mu palamenti , ku bwa loodimeeya kko n’obwa ssentebe , bakutandika okujjayo foomu nga 14 omwezi…
Omusajja ow’emyaka 22 aguddwaako emisango gy’okufuuka ekyetere era n’asindikibwa mu kkomera e Luzira.
Claude Bihoyiti kondakita wa Taxi ogumuvunaanibwa kufuka kumulyango gwa paaka enkadde
Ono alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti City Hall Moses Nabende era emisango n’agyegaana
Oludda oluwaabi lugamba nti Bihoyiti yasangiddwa mu paaka enkadde ng’atiirisa mu kifo ky’olukale
Kkooti etegeezezza ng’okunonyereza ku musango guno bwekuwedde era…
Omukyala asanze omusajja nga yekakatiise ku kawala ke ak’emyaka ena atanziddwa emitwalo 30.
Agnes Nabirumbi agguddwaako misango gya kulumya Arnold Kakeeto gweyagwiridde n’akuba
Omukyala ono bw’abadde mu maaso g’omulamuzi wa kkooti city hall Moses Nabende era nga teyegaanye misango.
Nabirumbi asabye omulamuzi obutamukaliga nnyo kubanga bwabadde busungu oluvanyuma lw’okusanga omusajja ku muwala we kyokka omulamuzi n’amutegeeza nga bweyandibadde…
Abayizi basatu beebawereddwa ebitanda nga bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’omuliro okukwata essomero mu disitulikiti ye Masaka
Omuliro guno gukutte ssomero lya St. Kizito Luvule Senior Secondary e Bukakata mu disitulikiti ye Masaka negusanyaawo n’ebintu ebibalirirwaamu obukadde n’obukadde
Omuliro guno gutandikidde mu kisulo ky’abayizi abawala era nga basatu mu kulwana nagwo balumiziddwa nebaddusibwa mu ddwaliro e Masaka.
Ebintu…
Abatuuze mu Ggombolola ye Bukuya e Mubende balajaanidde abatwala eby'obulamu ku disitulikiti okusitukiramu baddabulule kabuyonjo ze ddwaliro lya Bukuya health centre III zebagamba nti zajula dda ng’abalwadde n’abasawo tebalina webakyamira.
Abatuuze mu ngeri yeemu bategezezza nga n’ebiku bwebyazingako edda eddwaliro ate nga n’ebitanda okujanjabirwa abalwadde temuli ekikosezza ennyo eby'obulamu mu kitundu kino.
Wabula bwetwogedeko ne Ssentebe wa…
Waliwo eddagala erizuuliddwa mu ggwanga lya Bangladesh nga ligema obulwadde bwa kkolera ate nga teriseerebwa nnyo
Eddagaala lino balikuba mu kamwa.
Likozeseddwa ku bantu emitwalo 26 era nga kyeyolese nti abantu abafuna kkolera n’ebitundu 37 ku kikumi.
Abakugu baanirizza ebizuuliddwa nga bagamba nti eddagala lino lijja kuyamba nnyo mu mawanga g’abaavu
Okusinziira ku kibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna, abantu…
Ebbago ly’etteeka ku kufuweeta sigala kyaddaaki lyanjiddwa mu palamenti omulundi ogw’okubiri.
Ebbago lino liwa aba minisitule y’ebyobulamu obuyinza okussa mu nkola obuwaayiro bwaalyo.
Ng’ayogerako eri palamenti, akulira akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu Medard Bitekyerezo awadde palamenti amagezi okulonda atwala ebyobulamu mu minisitule y’ebyobulamu okukulemberamu akakiiko akagenda okwekenneenya ebbago.
Aleese ebbago lino nga ye mubaka omukyala owe Shema Rose Nyakikogoro…