Okufuuweta sigala mu bifo by’olukale mu kibuga kya China ekikulu ekya Beijing kuwereddwa.
Eggwanga lya China lirina abanywi ba sigala abasoba mu bukadde 300 nga era abasoba mu kakadde akalamaba bafa endwadde eziva ku kufuweta sigala buli mwaka.
Amateeka gabaddewo ku kunywa sigala wabula nga gabadde manafu abakulira ekibuga kino kwekuvaayo n’amapya amakakali.
Kati…
Poliisi mu disitulikiti ye Mpigi eriko abakungu b’ekitongole ky’ebyebira 4 bekutte lwakumala gawandagaza masasi nebalumya omutuuze omu.
Okusinziira ku kunonyereza kwa poliisi okwasoose, abakwata bano baayimirizza biloole 2 byababadde batebereza okwetikka ebikondo n’enku okuva mu bibira ebyaganibwa okutemwamu emiti.
Wabula biloole bino byagaanye okuyimirira olwo abakuumi bano okabadde abajaasi 2 n’omuserikale wa poliisi nebawandagaza amasasi agaakwatiddemu n’omu…
Nga eggwanga lyetegekera okusomebwa kw’embalirira y’eggwanga wiiki ejja, bannayuganda bangi bakyatakula emitwe nga tebagitegeera bulungi.
Mu tteeka eppya embalirira y’eggwanga eyawuddwamu emirundi 2 nga esooka ey’obusiriivu 16 zigenda okukozesebwa mu nkulakulanya ezijja nga era zezigenda okuyisibwa palamenti.
Obusiriivu 7.9 zakulabirira bitongole bya gavumenti ebyatondebwawo mu mateeka nga zino palamenti ezimanyaako naye teziyisa .
Amyuka ssentebe w’akakiiko akakola ku…
Ab’enganda n’emikwano z’omulabirizi w’obulabirizi wa West Buganda the Right Rev. Godfrey Makumbi eyafudde mu kiro ekikeesezza olwaleero bakunganiddde ku ddwaliro ekkulu e Mulago.
Makumbi y’afudde ekirwadde kya kookolo mu ddwaliro ly’aba kookolo ku myaka 52.
Abamu ku bagenze ku ddwaliro lino kuliko mutabaniwe Edwin Mugambe ajukidde kitaawe nga omusajja omutukirivu.
Mugambe agamba kitaabwe y’aweebwa ekitanda ssabbiiti 2 eziyise…
Poliisi efulumizza amateeka agalina okugobererwa abagenda okulamaga ku kiggwa ky’abajulizi enamugongo ku lwokusatu lwa wiiki eno.
Emmotoka ssizakukkirizibwa kutuuka ku biggwa byonna okugyako ez’abakungu ezinaaba zitimbiddwako sitiika .
Abakungu abagenda ku kiggwa ky’abakatuliki baakuyita Kyaliwajjala basimbe ku kisaawe ky’essomero ssomero lya Namugongo Primary School sso nga abagenda ku kiggwa ky’abakulisitaayo bakuyita Bweyogerere ne Seeta.
Emmotoka z’obwanaanyini ,Taxis n’aba…
Abakulembeze okuva mu mawanga ga East Africa bazzemu okusaba omukulembeze w’eggwanga lya Burundi ayongezeeyo okulonda kw’omwezi guno.
Bano era basabye effujjo likome nga lyava ku pulezidenti Pierre Nkurunziza okwagala okwesimbawo ku kisanja ekyokusatu.
Okusaba kuno abakulembeze bakiyisizza mu kiwandiiko kyebafulumizza mu lukungaana lw’omukago gw’amawanga ga East Africa mu ggwanga lya Tanzania. …
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje ku luguudo lw’e Masaka nga n’abalala baddusiddwa mu ddwaliro ly’e Masaka nga bali bubi.
Akabenje kano kaguddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero nga era abagenzi bategerekese nga Abdukarimu Mbogga omutuuze w Bukomansimbi, Pauline Kabazoba, James Katabazi nga owokuna tanategerekeka.
Akabenje kano kaagudde wali e Lwera oluvanyuma lw’emmotoka ya buyonjo ey’ekika kya Premio UAB…
Omulabirizi w’obulabirizi bwa West Buganda Right Reverend Makumbi Godfrey afudde.
Bishop Makumbi afudde mu kiro ekikeesezza olwaleero mu ddwaliro ekkulu e Mulago gy’abadde ajanjabibwa ekirwadde kya kookolo.
Eyali ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo omugenzi amujukira nga omuweereza wa Katonda abadde omukozi enyo .
Palamenti eyisizza embalirira y’omwaka 2015/16 nga ya busiriivu 24.
Wabula embalirira eyisiddwa esinga ku nsawo y’eggwanga era ng’ebituli birinnye okutuuka mu bitundu 13 n’obutundu musanvu ku kikumi mu mwaka ogujja okuva ku bitundu 5 ,’obutundutundu mukaaga mu mwaka gwetukuba emabega
Minisita akola ku byensimbi Matia Kasaija agambye nti gavumenti erina okukola kyonna ekisoboka okunoonya amakubo omuva ensimbi…
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri asabye abavunanyizibwa ku kuteekateeka okulonda kwa 2016, okuwuliriza wamu n’okuteeka mu nkola ebirowoozo by’abantu.
Omutanda okwogera bino abadde ku mbuga y’essaza lye Kyaggwe bw’abadde atongoza olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu.
Omutanda agambye nti abantu ba Buganda balina okwenyigira obutereevu mu kulonda okutegekeddwa gavumenti.
Ssabasajja era ajjukizza abakulembeze b’ensikirano, wamu n’abakulembeze abalonde…