Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ayokezza mukyala we lwa ssimu

Omusajja afunye obutakkaanya ne mukyala nga buva ku ssimu asazeewo kumwokya Abbo Isonjo enzalwa ye Congo yakkakanye ku mukyala we Easter Namutebi n’amuyiwako amafuta n’amwokya yenna lwakumusanga na bubaka bw’omukwano ku ssimu ate nga tebuva wuwe. Bano bamaze mu bufumbo bwaabwe emyaka 4 nga amulinamu omwana omu. Twogeddeko ne Namutebi ku ddwaliro e Mulago wabula ng’embeera ye yeeralikiriza.

Read More

Omwana agudde mu mata

Omwana eyagwa mu ntamu y’amata nga  nyina ng’ataasa banne obutatwalibwa mataba asaba buyambi. Gertrude Nambalira ow’emyaka 28 nga mutuuze we Namungona  agamba alina abaana basatu kyokka nga kitaabwe yalwalwa natwalibwa mu kyalo. Mu kiseera kino tebalina buyambi oluvanyuma lw’enkuba eyatonya ku ssande okutwala ebintu byabwe. Nambalirwa kati agumbye ku ddwaliro e Mulago n’abaana be bonna kyokka ng’omuto ow’emyezi…

Read More

Etterekero ly’eddagala lya kokoolo

Minisitule y’ebyobulamu efunye kkampuni egenda okuzimba ekifo omunaterekebwa eddagala erigema kokoolo wa nabaana Yadde gavumenti yali eyagala eddagala lino litandike okugabwa mu gw’okuna, tekyasoboka kubanga tewali waterekebwa ddagala. Kati minisita w’obujjanjabi obusookerwaako  Sarah Opendi agamba nti okuzimba etterekero lino kwakuggwa mu mwezi gw’ekkumi . Kokoolo wa nabaana yoomu kw’oyo asinga okutta abakyala mu Uganda n’ensi yonna okutwaliza awamu.

Read More

Owagganye mu kaboozi asibiddwa

Facebook picture of Gemma Wale. A woman has been jailed for two weeks for having sex so loudly that it upset her neighbours. See NTI story NTISEX. Gemma Wale, from Small Heath, Birmingham, was said to have 'screamed and shouted at a level of noise' which offended another resident during a ten-minute sex session in…

Read More

Amayembe galumbye essomero

Ab’obuyinza mu gombolola ye Kasambya e Mubende basazeewo okuggala essomero lya gavumenti erya Nakawala Primary School okumala Ssabbiiti namba olw’ebigambibwa okuba ebyokola  okuzingako abayizi ne bibasula eddalu nga n’abamu bafiiriddwa obulamu. Omukulu  w'esomero lino Amiisi Kitunzi ategezezza nga  bwebaawaliriziddwa okugalawo esomero lino okusobola okutaasa obulamu bwa bayizi. Kino kimaze emyezi mukaaga  era ng’embeera eno eviiriddeko abayizi okudduuka…

Read More

Eyatta bakazi be naye wakuttibwa

Kkooti ejulirwaamu eremezzaawo akalabba eri omusajja eyatta bakyala be babiri. Abalamuzi abasatu abatuula mu kkooti eno okuli Remmy Kasule, Faith Mwondha ne Richard Buteera bakkiriziganyizza n’okusalawo kw’omulamuzi wa kkooti ye Masaka Vincent Kibuuka Musoke nti omusajja ono asana kuttibwa Abalamuzi bakakasizza nti omwana omuto ow’emyaka 15 eyalaba kitaawe ng’atta bakazi ne tasobola kuba nga yalimba Omwana ono eyaleetebwa…

Read More

Ababaka bagenze mu luwummula

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagenze mu luwummula oluvanyuma lw’okuyisa embalirira y’eggwanga Bano okudda nga betegekera kwogera kwa mukulembeze w’eggwanga okugenda okubaawo ku lw’okuna Amyuka sipiika wa palamenti omukulu Jacob Olanya agambye nti ababaka babawaddemu obudde okuwummula bakomewo ku kwogera kwa pulezidenti nga bali kalaso Ono wabula agambye nti okwogera kuno okugenda okubeera ku Conference center kwakubaawo mu…

Read More

Rugunda atenderezza Nyerere

Ssabaminista w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda atenderezza eyali omukulembeze w’eggwang lya Tanzania Julius Nyerere gw’ayogeddeko ng’omusajja enjasa biggu ate omukkakkamu Ng’ayogerera mu missa y’okusabira Nyerere, Dr Rugunda agambye nti Nyerere yakolera nnyo emirembe ate nga yabudamyanga nebannayuganda bangi abayiggibwanga Idi Amin Dada Nyerere yalangirirwa mu lubu lw’abesiimi mu mwaka gwa 2009 era ng’olwaleero namwandu we Maria Nyerere abadde…

Read More

Omwana omulala akyusiddwa e Mulago

Waliwo abafumbo abalala abakubye eddwaliro lye Mulago mu mbuga z’amateeka lwakukyusakyusa mwana waabwe nebabawaamu omulambo gw’omwana omuwala Saudah Nabakiibi ne Farouk Bukenya bagamba nti bazaala omwana waabwe nga 13 July 2006 era ng’eyabazaazisa ye Dr. Asinja  Kapuru. Omukyala ono agamba nti omwana we gweyazaalira ku kiso bamutegeeza nti yali afudde nebamuwa omulambo gw’omuwala era nebamuziika Ono wabula agamba…

Read More

Uganda erimu effuga bbi- alipoota

Alipoota efulumiziddwa eraga nti Uganda yeemu ku mawanga agatassa kitiibwa mu mateeka Alipoota eno efulumiziddwa ekibiina kya World Justice Project era nti Uganda ekwata kya 95 ku mawanga 102 agatassa kitiibwa mu mateeka Uganda era ekwata kya 15 ku mawanga 18 agali wansi w’eddungu Sahara agatassa kitiibwa mu maka era ekwata kya 12 ku mawanga agalimu bamufuna…

Read More