Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

amaggye galongoosezza

Amaggye g’eggwanga olwaleero gakwataganye n’aba KCCA okusimba emiti mu kawefube atuumiddwa “Go Green” campaign, Bano basimbye emiti 20 e Banda mu divizoni ye Nakawa, okuyoola kasasiro n’okulongoosa ebifo ebyenjawulo Akulembeddemu bannamaggye Col John Paul Ssonko agambye nti bakusigala era bakunga abantu okutumbula obuyonjo kubanga ekibuga kya buli omu Ssonko era agamba nti era bakwongera okuwayaamu ne KCCA ku…

Read More

Enkuba esse omu

Omuntu omu yeeyafiiridde mu nkuba eyatonye olunaku lwajjo Isaac Okello yagudde mu mwala gwe Bwaise era ng’omulambo gwe gwasobodde okuzuulibwa. Mu ngeri yeemu waliwo omusajja eyategerekese nga Robert eyanunuddwa okuva mu mwala gwa Nakivubo era natwalibwa mu ddwaliro e Mulago. Ate bbo abantu babiri banyiga biwundu oluvanyuma lw’enyumba mwebabadde okubagwiira mu nkuba eyatonnye olunaku lwajjo. Bilia Lukia ne Florence…

Read More

Blatter akunze ku bumu

Akulira ekibiina kya FIFA Sepp Blatter obubaka bwe bwetoololodde ku bumu ng’okulonda omukulembeze omuggya kugenda mu maaso. Okuonda kuno kujjidde wakati mu kunonyereza ku nguzi efumbekedde ekibiina kya FIFA nga waliwo n’abakwatibw agyebuvuddeko Blatter asuubirwa okulya ekisanja ky’okutaano asabye abantu okuba obumu okusobola okutwaala omuzannyo gw’omupiira mu maaso.

Read More

Gavumenti eyagala kunzita- Besigye

Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atadde akaka ku byamutuusiddwaako olunaku lwajjo ng’agamba nti wandibaawo olukwe okumutta. Besigye yakwatiddwa olunaku lwajjo bweyabadde ayolekera Wankulukuku era mu kavuvugano, emotoka ye yayasidwa naye kenyini okukubwa kamulali Ng’ayogerako eri bannamawulire e Kasangati, Besigye agambye nti tewali nsonga lwaki abasirikale babadde bamuyingirira ng’ali ku gagwe nebatuuka n’okumukuba kamulali butereevu…

Read More

enjaga mu bimuli

Abaddukanya ekibuga ekimanyiddwa nga Kazakh batandise okunonyereza ku njaga ebadde erimibwa mu bimuli by’ekibuga Abatuuze beebalabye ng’ebimuli bijimuse nga bijjuddemu njaga ng’ebadde ewunya n’okuwunya ku nguudo Abaddukanya ekibuga kino bagamba nti bagala akuzuula oba enjaga eno yalimwa mu butanwa oba mu bugenderevu

Read More

Ono kimuweddeko

The Remarkable Moment Rebekah Sees Brother's Donated Face Omukyala eyafiirwaako mwanyina ebigambo bimuweddeko bw’asanze omusajja omulala ng’alina feesi y’ey’omugenzi Richard Norris ow’ewaka 39 feesi ye kumpi yaggwaawo bweyekuba amasasi mu butanwa mu mwaka gwa 1997 kyokka n’aweebwa feesi endala ey’omusajja eyali afiiridde mu kabenje Omukyala ono olulengedde omusajja ono asoose kusooka kuwakana ng’alowooza alabye muzimu kyokka okumusemberera n’amukwatako…

Read More

Yesimidde entaana

Waliwo akatambi akafulumye okuva mu ggwanga lya Syria ng’abakambwe ba Islamic State bakaka omusibe okusima entaana mw’abadde agenda okuziikibwa Omusajja ono abadde mu yunifoomu y’abasibe eya kipapaali alabibwa mu katambi ng’akwata ensuluulu, enkumbi n’ekitiiyo okusimba entaana ye. Abakambwe bano olumaze nebamusalako omutwe nebamukasuka mu ntaana esimiddwa olwo nebeyongerayo Nga tebannamusalako mutwe, basoose kumulagira akufamire mu maaso g’entaana olwo…

Read More

Abayizi be Makerere abatta munaabwe bakyakaliko

Abayizi be Makerere basatu abagambibwa okutta munaabwe bagaanye okweyimirirwa. Abasatu bano abagambibwa okutta David Ojok balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Albert Rugadya Atwooki Abayizi baali basabye basaba bayimbulwe okusobola okukola ebigezo byaabwe Omulamuzi agambye nti abayizi bano basobola okukola ebigezo nga bali mu kkomera nga kati tewlai nsonga lwaki bayimbulwa Abavunaanibwa kuliko Ivan Mutungi Nkurumah Hall chairman, Marvin Atukwase ne…

Read More