Omulamuzi wa kkooti ekola ku gy’obusubuzi Christopher Madrama agobye omusango ogwawaabwa omubaka Abdu Katuntu ng’ayagala bizinensi ya mobayilo mane eddukanyizibwe wansi w’etteeka elirambika ebyensimbi
Katuntu ne munne Kimberly Kasana baddukira mu kkooti nga bagamba nti kkampuni z’amasimu okuddukanya mobayilo mane kiyita ku lisinsi yaabwe ky’egamba eky’okusigala mu byempuliziganya
Ono yali yawaaba aba Mtn Uganda, Warid Uganda, Airtel…
Abalwadde n’ababalabirira ku waadi ya kazolite e Mulago basobeddwa mu nkuba etonnye emisana, amazzi bwegayingidde butereevu mu ddwaliro okukkakkana nga gabatuuseeko
Waadi yonna ekubyeeko amazzi ekiwalirizza abasawo okukyusa abalwadde bonna nebabafulumya
Waadi eno y’etuukirwamu abalwadde nga tebannaba kubawa bitanda
Amazzi gano era gazibikidde ne kabuyonjo kyokka ng’ab’eddwaliro bayise mangu ba yingiya okutereeza embeera
Ab’ekibiina kya Dialogue and democracy training Centre bagaala obuyigirize buveewo ku besimbawo okukiika mu palamenti n’abaataasoma bavuganye
Mu birowoozo byaabwe eri palementi, bano abakulembeddwaamu Henry Kasacca bagambye nti okusaba abantu ebbaluwa ya siniya y’omukaaga kulinyirira ddembe lyaabwe
Bano bagaala Uganda erabire ku Tanzania ejjewo eby’ebobuyigirize
Abakulira disitulikiti ye Wakiso ne Mukono bakkiriziganyizza okupangisa abapunta okupima ensalo ku kibangirizi ky’amakolero e Namanve ekikaayanirwa disitulikiti zonna.
Enjuyi zombi zaabadde n’olukungaana nebakkiriziganya okugira nga baggula ensalo eno okulekawo olwa sseruganda .
Akulira emirimu e Mukono Luke Lukorimo Lukuda baakukwatiza wamu ku bisale by’okuggulawo ensalo eno.
Enkaayana zatandika ku ntandikwa y’omwaka guno oluvanyuma lw’aba disitulikiti ye Wakiso…
Bakansala ku disitulikiti ye Luweero basimbidde ekkuuli omulanga gwa Nadduli ogw’okukubiriza abafumbo okuzaala enyo okwongera ku bungi bwabannayuganda.
Bakansala bagamba nti kawefube wa Nadduli talina mulamwa nga abantu olumala okuzaala batandika kusabiriza kuva eri bannabyabufuzi n’ebibiina byobwabakyewa.
Bakanasla bano bayisizza obukadde 5 okugenda eri enteekateeka y’okutumbula eby’obulamu naddala enkola yekizaala ggumba mukifo ky’okuwagira nadduli akubiriza abantu okuzaala…
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bategezezza nga poliisi okukibateekako nga bwebapangisa bamalaaya bagyeyambulire bwekiswaza.
Wiiki ewedde aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi y’ategeeza nga abavuganya gavumenti bwebapangisa bamalaaya nebagyeyambulira buli lwevagenda okubakwata.
Kino kyaddirira poliisi okukwata Nalongo Hamida nga akasaaniko era n’ategeeza nga bwebaamwambula engoye.
Ssenkagale w’ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa agamba ebigambo nga bino tebisaana kuva…
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa.
Besigye akwatiddwa ne dereeva we bwebabadde boolekera e Wankulukuku awabadde olukungaana lw’abavuganya ku nongosereza mu mateeka
Poliisi ekozesezza eryaanyi okwasa endabirwaamu y’emmotoka ya Besigye ey’emabega olwo n’ekubamu ttiyagaasi nga tennabasikambula mu motoka munda
Mu kavuvungano kano, abawagizi ba Besigye batandise okuyiika olwo omukka ogubalagala negulamula n’amasasi mu bbanga.
Twogeddeko era…
Abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwaamu balemezzaayo ekibonerezo eky’emyaka 32 egyaweebwa omusajja eyatta mutabani we ow’emyaka ebiri ng’amulanga kumukaabirira.
Abalamuzi bagambye nti buli kimu kiraga nti Charles Sekamatte yatta mutabani we Ronald Kayiwa omulambo gwe n’agusuula mu kasasiro gyegwajjibwa.
Abalamuzi abakulembeddwaamu Remmy Kasule ne Faith Mwondha beebakulembeddemu ensalawo eno.
Wabula omulamuzi Egonda Ntende awakanyizza balamuzi banne ng’agamba nti ekibonerezo…
Abasomesa basatu e Mubende bakwatiddwa poliisi lwa kusobya ku bayizi bataano ne babafunisa embuto ku ssomero lya gavument erya Kitenga Secondary School.
Abakwatiddwa kuliko Joseph Twinomasiko ne Bright Junior ate omulala ategerekeseko erya John nga bano babadde basomesa ku somero lya Kitenga Secondary School erisangibwa mu gombolola ye Kitenga mu disitulikiti ye Mubende .
Bano okukwatibwa kiddiridde…
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga lya South Africa kyeganye ebigambibwa abanoyereza ku misango mu ggwanga lya Amerika nti baawayo enguzi yabukadde bwa doola 10 okusobola okutegeka ekikopo ky’ensi yonna eky’omupiira mu 2010.
Bano bagamba nti okusaba kwabwe kwali kwamazima nga era kwakulemberewamu omugenzi Nelson Mandela olwo South Africa nerufuuka eggwanga lya Africa eryasooka okutegeka ekikopo kya…