Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

abalamazi bakyatambula

Abakulisitu wano mu Kampala bakyasaba essaala nga bwebatambulira mu kkubo omwayita abajulizi nga bagenda okutibwa ssekabaka Mwanga mu kyaasa ekya 19. Olunaku olw’eggulo bano baatambudde okuva e Munyonyo ewatibwa  Andrew Kaggwa ne  Donozio Ssebugwawo , nebagenda e Kyamula ewatibwa   Kyamula ne  Ponsiano Ngondwe nebagenda  mu katale ka Owino eatibwa Balikudembe nga era baamalidde ku keleziya ya…

Read More

Abaali basomera e Makerere bazze mu bulamu

Abaali basomeddeko ku ttendekero ekkulu e Makerere batunuulidde eddwaliro lya kkookolo nga pulojekiti kati gyebaagala okusondera ensimbi. Omu ku bakulira abaasomerako ku ttendekero lino Deus Kamunyu Muhwezi, agamba oluvanyuma lw’okusonda nebazimba ekisenge okwetolola ettendekero lino, kati baagala kuyamba ku kuddabirizibwa  kw’eddwliro lya kkookolo okutaasa bannayuganda. Muhwezi agamba bateekateeka kugula bikozesebwa ebipya, ssaako n’okukubiriza abamu ku baali abayizi…

Read More

Ayidde

Omusajja eyawalampye ekizimbe ng’ali bukunya, bamujjeeyo tamanyi kiri mu nsi oluvanyuma lw’ekyuuma okumwokya Omusajja ono tategedde nti abadde ayimiridde wakati w’ebyuuma era omukka gwebifulumya gumubabudde yenna Ekimututteyo nze naawe kyokka nga bibadde mu kibuga Florida

Read More

Ono talina bbuba

Abasajja bangi bwebategeera abasajja ababagaalira abakyala babajjirayo majambiya Ssi bwegubadde eri omuvubuka ategedde nti mukyala we abaddeyo n’omuvubuka ebbali Ono ng’ayita mu ssimu ya mukyala we afunye essiimu ya musangi we n’amuggulako omukwano era okukkakkana nga balidde ekyemisana Omusajja ono agambye nti abadde ayagala kumanya kiki musajja munne ky’amusingako Bibadde mu ggwanga lya China.

Read More

Etteeka kukufuuwa sigala liriwa

Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization kyagaala palamenti eyise etteeka erikoma ku bantu okufuweeta sigala Etteeka lino lisuubirwa okuyamba okutaasa obulamu bw’abamunywa n’abatamunywa Omukungu mu kibiina kino Benjamin Sensasi agamba nti sigala ono yoomu ku bisinga okuvaako endwadde ezitasiigibwa Bino bizze nga Yuganda yeteekateeka okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okulwanyisa taaba ku lunaku lwa…

Read More

Tumukunde ayimiriziddwa

KKooti eyisizza ekiragiro ekigaana munnamaggye Brig Henry Tumukunde okusengula abantu ku ttaka lya Jomayi eriweza yiika 200. Ettaka lino liriko ebyaalo nga Njagi , ne Bujuuko ku luguudo lwe Mityana. Amyuka omuwandiisi wa kkooti Thaddeus Opeseni agambye nti waliwo ebitategerekeka wakati w’endagaano eyakolebwa jomayi ne Tumukunde kale ng’omulamuzi alina okubyetegereza Kkooti era eragidde Tumukunde okukomya…

Read More

Agambibwa okutta Kagezi akwatiddwa

Poliisi e Kasese ekutte omusajja agambibwa okukulemberamu okutta eyali amyuka ssabawaabi wa gavumenti Joan Kagezi. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono ng’agamba nti bamuyooleddwa mu bikwekweto byebakola okufuuza obuzzi bw’emisango. Enanga agambye nti omusajja ono gwebatayagala kwatuukiriza mannya bazze bamugoberera okuva Kagezi lweyafa Omusajja ono bamukwatidde ku siteegi emanyiddwa nga Kiteso- Kamaiba gy’agezaako…

Read More

Omuvubuka asse kitaawe

Abatuuze mu zooni ye Kisugu central wano e Namuwongo baguddemu entiisa omuvubuka  bw’akkakkanye ku kitaawe n’amutemateema okukkakkana ng’amusse. Omuvubuka ono ategerekeseeko erya Kazungu kigambibwa nti akkakkanye ku kitaawe James Kizza namutta ng’abadde ayagala okumubbako ssente eziweza akakadde kamu mu emitwalo nsanvu Kigambibwa nti ensimbi zino Kizza abadde yakazifuna okuva mu kibiina mwabadde atereka era ng’abadde agenda kuzizimbamu…

Read More

Bonna balina okufuna ekisonyiwo

Ekitongole ekigabi ky’ekisonyiwo  kitandise okukunganya ebikwata ku baali abayeekera abebbirira  nebadda mu ggwanga nga tebanaweebwa satifikeeti za kisonyiwo. Kamissiona w’ekitongole kino  Msgr Thomas Kisembo ategezezza nga bwebagenda okuwandiisa abo bonna abakomawo mu ggwanga nebetabika mu balala nga tebafunye lukusa. Kisembp agamba abagenda okuganyulwa mu nteekateeka eno beebo abazze balwanyisa gavumenti okuva mu 1986 era n’asaba buli muyeekera…

Read More

Abakukusa bakyusizza enkuba

  Poliisi eyanise enkubya empya abakukusa gyebazze nayo. oluvanyuma lw’okubatayiza wano mu ggwanga bano kati bakozesa ggwanga lya Kenya nga era kati buli lunaku bannayuganda kumpi 10 bakukusibwa nga babayisa eyo. Omukwanaganya w’akakiiko akateekebwawo okulwanyisa okukukusa abantu mu minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga  Moses Binoga agamba bebakukusa befuula abagenze e Kenya okukyalira ku b’enganda zaabwe nebayitamu buyisi okwolekera amawanga…

Read More