Enkumi n’enkumi z’abakulisitu wano mu Kampala baakutambula nga bagoberera ekkubo eryayitibwamu abajulizi nga bagenda okutibwa ku biragiro bya ssekabaka Mwanga.
Bano baakutandikira Munyonyo ewatibwa Andrew Kaggwa ne Donozio Ssebugwawo olwo beyongereyo e Kyamula nga wano posiano Ngondwe weyatibwe ,boolekere mu katale ka St Balikudembe ewatibwa Balikuddembe bakomekereze ku kanisa ya St Matia Mulumba ku Old Kampala…
E soroti omukazi bamutemyeko omukono oluvanyuma lw’abasawo abekikwangala okumukuba eddagala effu n’asanyalala omukono .
Janet Aliano owo kukyalo Arusi nga aeza emyaka 54 y’agenda mu ddwaliro mu katawuni ke Takum okumujanjaba omusajja gw’ensiri, omusawo eyali mu kalwaliro Justine Elangota n’amukuba empiso ku Mukono okuva olwo negusasnyalala okutuusa lwebagutemyeko.
Okusinziira ku musawo mu ddwaliro ekkulu e Soroti Dr.…
Olukiiko lwabaminisita luwadde gavumenti olukusa okwewola obuwumbi 280 okwongera ku bunji bw’amasanyalaze mu ggwanga.
Ku zino obukadde bwa Euro 45 bwakuva mu ekitongole kya Bufaransa ekyebyenkulaklana sso nga obukadde 40 zaakuva mu banka mu ggwanga ya Germany eya German Development Bank.
Zino zaakuzimba ebbibiro ly’amasanyalaze erya Muzizi nga lino lisangibwa mu disitulikiti ye Kibaale.
Minisita w’ebyamawulire Jim Muhwezi…
Sarah Nabikolo nga ono ye namwandu w’omugenzi Eria Ssebunya bangi gwebamanyi nga Kasiwukira asindikiddwa mu kkooti enkulu ne banne abalala babiri ku musango gw’okutta bba.
Ono abadde alabiseeko mu kkooti ye Makindye
Obujulizi obuleeteddwa mu kkooti eno bulaze nga Kasiwukira ne mukyalawe bwebaalina obutakkaanya mu bufumbo bwabwe .
Obujulizi era bulaze nga mukyala Kasiwukira bweyalumiriza bba okubeera n’amayembe…
Poliisi erumirizza loodi meeya Erias Lukwago n’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr.Kiiza Besigye nti bapangisa bamalaaya okugyeyambulira buli lwebaba babakwata nga bakuba enkungaana z’enongosereza mu mateeka g’eggwanga.
Aduumira ebikwekweto mu mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi ategezezza nti ababiri bano baagala kutabangula mirembe mu Kampala nga bekwaasa nti babanja nkyukakyuka.
Kaweesi agamba nti baakitegeddeko nga bamalaaya bano bwebaagala…
Bannabyabufuzi 10 abavunaanibwa okufuuka ekisekererwa kyaddaaki beyimiriddwa .
Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City Hall Moses Nabende.
Ekkumi bano kuliko n’omuyambi wa loodi meeya wa Kampala Deo Mbabazi nga eya beyimiriddwa ku mitwalo 50 buli omi nga ababeyimiridde buli omu akabbe wa kakadde kamu ezitali zabuliwo.
Omulamuzi abalagidde beyanjule mu kkooti nga 10 June okutandika…
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagaanye okuwaayo endowooza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka w’eggwanga olwa bannaabwe abakwatiddwa.
Bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu ne ssenkagale w’ekibiina kya FDC Mugisha Muntu bategezezza nga bwebatayinza Kuteesa nga banaabwe tebaliiko.
Bano babadde balina okulabikako mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka okuwa endowooza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka…
Ng’abasomesa bagenda mu maaso n’okwekalakaasa, abazadde abasinga leero basazeewo butatawaana kusindika baana ku ssomero
Ku ssomero lya Kyagwe road primary school, Nakivubo blue primary, Nakivubo settlement ne Bat valley primary school , abayizi balabise nga baakendedde okusinziira ku baatandise olunaku lwajjo
Abasomesa betwogeddeko nabo bagamba nti balinze ebinaava mu Lukiiko olw’okuna wakati w’ekibiina kyaabwe ne gavumenti
Akulira omukago…
Eby’ekibiina kya FDC okugenda mu palamenti okuwa endowoza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka kwongedde okukaluba.
Kati akulira abakyala mu FDC Ingrid Turinawe akwatiddwa wamu ne banne abalala 2 wali ku palamenti gyebabadde bagenze okuwayo endowooza zaabwe.
Akulira abavubuka ba FDC Francis Mwijukye agambye nti bano bakwatiddwa n'omukyala ategerekese nga Nalongo Hamida ng'ono yye ayambuddwa n'okukubwa ensambaggere ezimutwazizza…