Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Lunaku lwa bakyala abali mu nsonga

Uganda olunaku lwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakyala abali mu nsonga. Olunaku luno lwassibwawo ekibiina ky’amawanga amagatte okutunuulira ebizibu abakyala byebayitamu nga bali mu nsonga omuli okuboolebwa kko n’ekizibu ky’okugula ebisabika ziyita paadi Mu Uganda abaana abawala bangi tebasoma buli lwebaba mu nsonga olw’okuboolebwa kwebafuna okuva eri abalenzi ate nga mu mawanga agamu, omukyala ali…

Read More

Nabagereka agemye abaana

Abantu abasoba mu 500 beebafunye obujjanjabi mu nkambi y’ebyobulamu ekubidde mu ssaza lye Kako mu disitulikiti ye Masaka. Enkambi eno etegekeddwa ekibiina kya maama Nabagereka ekya Nabagereka Development Foundation ng’abaana bagemeddwa, okujjanjaba endwadde ezitali zimu n’okubakebera Akulira ekibiina kino Solome Nakaweesi Kimbugweagambye nti ekigendererwa mu kino kukendeeza muwendo gw’abaana abafa n’okuddiza abantu ba ssabasajja Kabaka Yye maama Sylivia…

Read More

Kaihura atabukidde abasirikale be- mwebaka nnyo

Ssabapoliisi w’eggwanga  Gen. Kale Kaihura atandise okusisinkana abantu abetoolodde Namugongo mu kwetegekera olunaku lw’abajulizi. Atandikidde Mukono gy'asisinkanidde abatuuze ku ssomero lya Mukono High School. Eno agugumbudde abaserikale be okuba abanafu lubojje nebebaka mu kiro nga n'awamu poliisi ziggalwa Agambye nti bangi bakwatiddwa naddala mu kibuga Kampala n’asaba abaziyiza emisango  bongere okuyambako mu kulondoola emisango osanga kinakendeeza ku fayilo  ezibulira  mu…

Read More

Akakiiko ku zzaala kazze

Olukiiko lwabaminisita ba gavumenti bataddewo akakiiko akagenda okwekenenya ekizibu kya zaala , okukozesa ebiragalalagala wamu n’ebikolwa eby’obwenzi ebiwanise amatanga mu ggwanga. Akakiiko kano ak’abantu 8 kaakukulemberwamu minisita w’empisa n’obuntu bulamu  Father Simon Lokodo  nga era kasuubirwa okuleeta ebiteeso ku mateeka agasaana okulwanyisa obwononefu wamu n’okulaba nga abavubuka betaba mu mirimu egibagasa bave mu byongera okubaziika. Minisita w’ebyamawulire…

Read More

UPC eyongezezzaayo ttabamiruka-tewali ssente

Ab’ekibiina kya kya UPC bongezzaayo  ttabamiruka w’ekibiina kyabwe okutuusa omwezi gw’omusanvu lwabbula lyansimbi. Ttabamiruka abadde owokutuula nga 12 June kati  wakutuula nga 10 July .   Kino kibikuddwa ssenkagale w’ekibiina kino  Dr Olara Otunnu bw’abadde ayogerako eri bannakibiina mu bitundu bya West Nile ku Republican Hotel . Dr. Otunnu agamba ekibiina mu kiseera kino kiri mu katuubagiro kabyansimbi nga…

Read More

Omubaka Karuhanga bamuwangudde mu kkooti

Omubaka wa palamenti ow’abavubuka mu bugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga asaanye okwongera okukola enyo oluvanyuma lw’omusango gweyawaaba nga awakanya eky’okulondebwa kwa Steven Kavuma ku bw’omumyuka bwa ssabalamuzi w’eggwanga okumumegga. Kkooti enkulu eragidde Karuhanga asasule ensimbi zonna ezisasanyiziddwa Kavuma nga amutwala mu kkooti ku nsonga ezitaliimu. Omulamuzi  Steven Musota  agobye okusaba kwa Karuhanga kweyayisa mu munnamateekawe Eron Kiiza nga…

Read More

Abavuganya bazze na kapya

Bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya gavumenti batongozza kawefube omujja ow’okubanja enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda. Kawefube omujja atuumiddwa komya omuzanyi okubeera diifiri era kapiteni nga agendereddwamu kumanyisa bannayuganda nti omukulembeze w’eggwanga nga naye agenda kwesimbawo ku bwapuklezidenti neera ate y’alonda abakulira akakiiko k’ebyokulonda. Kawefube ono akulembeddwamu loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago nga era abali mu kino bagamba baagala kusisismula…

Read More

Abakozi mu gavumenti beetabe mu byobufuzi- NRM

Ab’ekibiina kya NRM baagala ababaka ba palamenti abatalina bibiina bawerebwe. Ekiteeso kino bakiwaddeyo eri akakiiko ka palamenti akakola ku bbago ly’etteeka mu nonngosereza za ssemateeka w’eggwanga.   Nga bakulembeddwamu amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Richard Todwong, bategezezza nga abatalina bibiina bwebanafuya enkola y’ebyobufuzi ey’ebibiina ebingi.   Bano era baagala Kati buli asala okuva mu kibiina ekimu okudda mu kirala nabo bafiirwe…

Read More

Obuwumbi obulala 50 mu kulonda

Akakiiko k’ebyokulonda kafunye obuwumbi 50 okuyamba okuziba eddibu lya ssente eribaddewo mu kuddukanya emirimu mu kwetegekera okulonda kwa 2016. Omuwandiisi w’akakiiko kano  Sam Rwakojo ategezezza nga bweabafunye ssente zino oluvanyuma lw’ensisinkano n’abakungu okuva mu minisitule y’ebyensimbi. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda gyebuvuddeko y’ategeeza ababaka ba palamenti nga akakiiko bwekaali ketaaga obuwumbi obusoba mu 70 okusobozesa emirimu okutambula obulungi.

Read More