Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Enkuba ebagoyezza

Abasuubuzi neba kasitoma baabwe basigadde bakonkomalidde oluvanyuma lw’enkuba etonnya ku makya ga leero okutwaala emmali yaabwe Emidaala egyakazimbibwa ku luguudo lwa kafumbe Mukasa giyiise wakati mu mataba agayiseewo butereevu okutuuka mu maduuka g’abasuubuzi Bbo nno abasuubuzi omusango bagusalidde KCCA gyebagamba nti ekyalemereddwa okugogola emyaala Mu balala abakoseddwa kubaddeko aba USAFI, ne Nakivubo.

Read More

Agambibwa okutta omusirikale agaanye okunyega

Omusajja agambibwa okutta omusirikale mu kwekalakaasa okwaali mu kibuga emyaka esatu emabega asazeewo butanyega kagambo mu kkooti Edson Wako ng’ayita mu munnamateeka we Ssali Ssenkeezi agambye nti asazeewo okusirika Wako avunaanibwa kutta John Michael Ariong ng’ono yakubwa jjinja nga poliisi yezooba n’abantu abaali beekalakaasa mu biseera bya walk to work. Bino byonna byaali ku miniprice mu mwaka gwa…

Read More

Amasanga gakwatiddwa

Poliisi ku kisaawe Entebbe ekutte amasanga agaweza kilo 740 nga gabadde gakukusibwa okutuuka mu ggwanga lya Singapore Amasanga gano agabalirirwaano obuwumbi butaano nekitundu gawandiisibwa mu mannya ga munnayuganda akyayiggibwa Atwala poliisi ku kisaawe Entebbe Lodovick Awita agambye nti amasanga gano gabadde malambe nga kiraga nti gabadde tegava mu yuganda nga bakugekebejja okuzuula eggwanga bwegabadde gava Mu ngeri yeemu…

Read More

Bantariza azzeemu okulondebwa

  Pulezidenti Museveni azzeemu okulonda Col. Shaban Bantariza ng’omumyuka w’ekitebe ky’ebyamawulire ekya gavumenti ekya Media center Kino kikakasiddwa omwogezi wa gavumenti era nga yoomu y’atwala ekitebe kino Ofwono Opondo Bantariza yasooka okulondebwa mu mwaka gwa 2013 kyokka n’akwatibwa nga yakakolako emyezi ena era okuva olwo abadde atoba na misango gya kukozesa lukujjukujju okudibaga ensonga ku ssomero lya bannamaggye…

Read More

Omulabirizi Makumbi aziikiddwa

Abadde omulabirizi wa kkanisa mu kitundu kya West Buganda aziikiddwa ku lutikko e Kako mu disitulikiti ye Masaka Ssabalabirizi w’ekitundu kye Masaka John Baptist Kaggwa yoomu kubatenderezza omugenzi ng’akoze ennyo ku lw’eddiini n’eggwanga lye Ono era agambye nti omulabirizi Godfrey Makumbi akoze kyamaanyi okugatta abantu mu kitundu Omulabirizi Makumbi yafa ku lunaku lwa Sunday oluvanyuma lw’okumala ebbanga  ng’atawanyizibwa…

Read More

Abantu basusse okwagala akaboozi- Lokodo

Minisita w’empisa n’obuntu bulamu Fr Simon Lukodo agamba nti obulwadde bwa siriimu okwongera okubuna kivudde ku bantu okwagala nnyo okwegadanga nga wakiri obalesa emmere. Bweyabadde ku mikolo gy’okujjukira abazze bafa obulwadde buno mu kibuga e Gulu, minisita Lukodo yagambye nti ennaku zino ensonga za kaboozi tezikyali zankukutu ng’abantu obasanga emisana ttuku nga bali mu kwegadanga Asabye n’akakiiko…

Read More

Okwebaka obuswa kulungi eri obulamu

Abasawo bakizudde nti omuntu okwebaka nga tayambadde kagoye konna kimuwa otulo otujjude emirembe ate kikendeeza n’endwadde z’ensusu. Bino bizuuliddwa ab’ekibiina ekinonyereza ku bikwatagana n’okwebaka mu amerika ekya National Sleep Foundation Dr Sarah Brewer agamba nti okwebaka obuswa kikuuma omubiri nga tegulina bbugumu olwo omuntu neyebaka bulungi. Mu ngeri yeemu era abasawo bagamba nti okwebaka obuswa kiyamba okugoba obuwuka…

Read More

Poliyo akendedde mu Pakistan

Obulwadde bwa poliyo mu ggwanga lya Pakistan bukendeddde n’ebitundu 70 ku kikumi wakati mu kusika omuguwa ku kawefube w’okugema abaana agenda mu maaso. Abantu abasinga abaana okukkiriza okubagema, bassibwaako ryaanyi lya Maggye kyokka nga waliwo ekituukiddwako nga mu mwaka guno, abantu 25 bokka beebakakwatibwa ekirwadde kino. Mu gw’ekkumi omwaka oguwedde, Pakistan yanokolwaayo ng’erimu ku mawanga agasingamu poliyo…

Read More

Pulezidenti wakwogerako eri eggwanga olwaleero

Palamenti eddamu okutuula olwaleero oluvanyuma lw’oluwummula olw’ennaku 2 nga era ababaka betegese kuwuliriza omukulembeze w’eggwanga byazze nabyo olwaleero. Okwogera kuno kwekukulemberamu okusomwa kw’embalirira y’eggwanga nga era kunokolayo pulojekiti ez’enjawulio ezizze zikolebwa. Mu kwogerakwe eri eggwanga omwaka oguwedde, pulezidenti Museveni y’ategeeza nga gavumenti bw’egenda okuteeka essira ku by’obulimi amakolero ne tekinologiya. Wabula abantu ab’enjawulo bazze babuuza ebibuuzo ku bisuubizo…

Read More

Omuliro mu Ghana gusse 70

Mu ggwanga lya Ghana bantu abasoba mu 70 bafiiridde mu muliro ogukutte essundiro ly’amafuta mu kibuga ekikulu Accra. Abasinga bafudde begamye begamye nkuba etonyedde kati ennaku 2 nga era abasinga baasigadde tebalina webegeka luba nga n’amasanyualaze tekuli.   Mbeera yakakyankalano mu kibuga nga enguudo ezisinga zisibiddwa nga n’abantu batala nga buli omu anonya Muntu…

Read More