Bya Ali Mivule
Ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde eyingidde enkambi nga basuzibwayo nga beetegekera empaka z’olukalu lwa Africa ezigenda okubeerawo omwezi ogujja .
Empaka zino zakubeera mu ggwanga lya Congo Brazzaville okuva nga May 27.
Mukiseera kino abazanyi bonna basuzibwa mu kisulo kya National Council of Sports e Lugogo nga era batendekebwa emirundi 2 buli lunaku.
Omutendesi wa ttiimu Patrick Lihanda…
Bya Ruth Andera
Kyaddaaki kkooti eyimbudde omubaka we kawempe North Mubarak Munyagwa nga ono abadde amaze sabiiti 2 namba mu komera , oluvanyuma lwokulemwa okusasula ebbanja lya Bukadde 100 million ezaali zimubanjibwa John Baptist Maali.
wabula wabaddewo katemba ku kkooti nga bakyala ba Munywagwa buli omu y'ayagala okubeera ku mwanjo gwa bba.
Bano berangidde ebisongovu nga mukyala…
Bya Ali Mivule
Jjjaja w’obuyisiraamu mu ggwanga Al Hajj Nakibinge Kakungulu asabye gavumenti okwongera ku bukuumi bw’ewa bannayuganda.
Bino webijidde nga bannayuganda banji bali mu kutya olw’ebibaluwa bi kiro kitwala ounaku ebizze bisuulibwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga bitiisatiisa abantu okubatta.
Omulangira ategezezza nga buli Muntu kati bwali mu kutya naye nga mwomutwalidde kale nga y’ensonga lwaki atambula…
Omubaka w’essaza lye Bufumbira nga yaliko minisita w’empisa n’obuntubulamu James Nsaba Buturo asabye Paasita Aloysius Bugingo ow’ekanisa ya House of Prayer Ministries okwetondera eggwanga olw’okwokya bayibuli.
Bangi bazze bakolokota Bugingo oluvanyuma lw’okwokya bayibuli ezimu nga agamba nti zirimu ebikyamu.
Kati Nsaba Butuuro agamba yadde nga tewali alina lukisa kuteeka Bugingo ku musaalaba okumunenya, paasita ono asaanye okwegayirira…
Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority ebbanja ly’akatale ka USAFI libasuza bakukunadde nga kati baagala gavumenti ebaweeyo obuwumbi 10 okufunira ddala obwananyini ku katale kano.
Bweyabadde alabiseeko eri palamenti , minisita wa Kampala, Betty Kamya y’ategezezza nti ku buwumbi 15 obubabanjibwa, gavumenti y’awaddeyo obuwumbi 5 bwokka kale nga kino kibateeka mu nsobi y’okumenya andagaano ne nanyini…
Bya Malik Fahad
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kiseeka mu disitulikiti ye Lwengo omwana ow’emyaka 10 bwakubiddwa amasanyalaze agamutiddewo.
Omugenzi ategerekese nga Emma Ssali mutabani wa John Ssali nga era amasanyalaze gamukubye akwata nswa mu nnimiro .
Kitegerekese nti amasanyalaze gano ga muliranwa Jane Namugerwa abadde agabbirira nga agayisa mu ttaka.
Ssentebe w’ekyalo Pascal Kiiza agamba omulenzi ono alinye ku…
Ofiisi ya ssabaminisita eraze okutya olw’eddibu ery’obuwumbi 15 zebetaaga okugulira abantu emmere mu bitundu ebirimu enjala mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyasindikiddwa eri palamenti okuva eri minisita akola guno naguli mu ofiisi ya ssabaminisita Mary Karooro Okurut , minisitule y’ebyensimbi esanye okuddamu okwetegereza obuwumbi 22 zeteeka mu bigwatebiraze kubanga kati enjala yeyongedde mu bantu.
Okusinziira…
Bya Ali Mivule
Poliisi mu disitulikiti ya Abim eriko abasajja 3 bekutte nga batunda amaliba g’olugave agabalirirwamu obukadde 6.
Bano bakwatiddwa n'amaliba g'olugave 2 n'olulamu lumu nga bagatunda.
Abakwatiddwa kuliko n’omuserikale wa poliisi Orebo Felix,ne banne Logel Bosco wamu ne Omara Sylvester .
Atwala poliisi ya Abim Dickens Turinawe bano baakwatiddwa mu katego akategeddwa eb’ekibiian ekilwanirira eddembe ly’ebisolo byomunsiko…
Bannadiini ebenjawulo bongedde okuvumirira omusumba w’abalokole eyayokezza bayibuli.
Rev Eng Emmanuel Mwesigwa owekanisa ya University ye Kyambogo agamba kino kikyamu nga era bbo ab’ekibiina kya bible society of Uganda batiisizza n’okumukuba mu mbuga z’amateeka.
Wabula ye Rev Mwesigwa agamba okutwala pasita Bujingo mu mbuga z’amateeka tekijja kugonjoola bizibu wabula yetaaga kubuulirira era yetondera eggwanga lyonna.
Ku nkomerero ya…
Abantu 13 basimbiddwa mu kooti maaso g’omulamuzi we Nakawa nebavunanibwa emisango gyokutemula eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi.
Kati 13 amannya gaabwe getugenda okukakasa, basimbiddwa maaso g’omulamuzi we ddaala erisooka Noah Sajjabi nebasomerwa emisango 5 okuli obutemu, obutujju nemiralala nga gyekuusa ku kukuba obwa kondo.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga 17th March 2017 wali e Kulambiro…