Bya Shamim Nateebwa
Omukazi atutte bba we ku poliisi lwakumuwendulira mayembe negamkuba emiggo kate gimutte.
Halima Naigaga owemyak 23 alumirizza bba Isa Isabirye owemyaka 31 okumutwala musabo gyebamukubidde emiggo nga mukiseera kino takyasoboola kutuula.
Naigaga agamba ,Isabirye ,yakomyewo namugamba amuwerekereko era baasibidde mu ssabo ebintu gye byamukubidde kibooko.
Ayongeddeko nti obwedda ebintu by’atalaba bimukuba bwe nga bwebimubuuza oba talinaayo…
Eyali minisita w’ebyokwerinda mu gavumenti yekisiikirize Kaps Hassan Fungaroo asanyukidde ekya Uganda okugya amagye gaayo mu ggwanga lya Central African Republic.
Mukiseera kino ekibinja ky’abajaasi ekisooka kyakomyewo dda ku butaka kwabo abasoba mu 2000 abali mu ggwanga lino.
Fungaroo nga era mubaka wa palamenti nga atuula ku kakiiko k’ebyokwerinda n’ensonga zomunda w’eggwanga agamba baali baalwawo.
Agamba ensimbi nyingi…
Yadde nga gavumenti yayongezzaayo nsalesale w’okuwandiisa kaadi z’amassimu, ab’oludda oluvuganya gavumenti bagamba ennaku neera zetaaga okwongezebwayo okusinga kwezo ezalambikiddwa.
Gavumenti yasazizzaamu nsalesale wa nga 20 April okugyako amassimu g’abo abataaziwandiisa okutuusa nga 19 May wabula ab’oludda oluvuganya gavumenti bagamba ennaku zino zikyali ntono ddala.
Omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agamba okusooka yali nsobi okuwa nsalesale…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi ye Mayuge eriko omulambo gw’omusajja ow’emyaka 52 gweguddeko wabula nga omutwe gwatemeddwako.
Entiisa eno ebadde ku kyalo Mugiri mu gombolola ye Mpungwe
Ekiwuduwudu kya Musa Magumba kisangiddwa mu musiri gwa muwogo.
Omukyala abadde agenze okulima y’agudde ku mulambo n’alaya enduulu esombodde abalala
Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Mayuge Abdallah Nasser Mulimira ategezezza nga…
By Abubaker Kirunda
Laddu ekubye omuntu omu n’emuttirawo mu disitulikiti ye Buyende.
Omugenzi ategerekese nga Van Moningi omutuuze ku mwalo gwe Bumogoli mu gombolola ye Buyende.
Omugenzi laddu okumukuba abadde agabula bakasitooma be caayi.
Ssentebe w’abavubuka ku muluka gwe Bumogoli Richard Gumula ategezezza nga omugenzi bw’abadde nanyini kiriiro ky’emmere ekimu ku mwalo guno.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa
Poliisi tenaba…
Omuntu omu afiiriddewo oluvanyuma lw’amataba okweera taxi wali mu bitundu bye Mbale.
Amataba gasoose kweera lutindo lwe Gadumire olwo taxi oluzze nayo nelugenderamu.
Taxi eno namba UAU 808U y’eguddemu nga era n’abalala abawerako babuuse n’ebisango ebyamanyi wabula nga tebanamanyika muwendo.
Omusasi waffe Mudangha Kolyangha atutegezezza nga omugenzi y’abadde agezaako okubuuka mu taxi eno amataba negamweera.
Mu kiseera kino oluguudo…
Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja asiimye abantu abali eyo mu mitwalo 13 abebibanja abawandiisibwa bawebwe ebyapa mu nkola etuumidwa kyapa mu ngalo nga ensimbi zisalidwako ebitundu 200%nga enkola eno ekoma mumwezi gwa 10
Bw’abadde atongoza enkola eno, Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategezezza nga kino bwekigenda okwongera enkolagana wakati w’obwakabaka bwa Buganda n’abali ku ttaka lino wamu…
Nga ebula olunaku lumu lwokka nsalesale w’okuwandiisa kaadi z’amassimu aggweko, bannayuganda abawerako naddala abali mu byalo baandilekebwa ebbali.
Abakakiiko akalungamya ku byempuliziganya aka UCC kaategeeza nga nsalesale bw’agenda okuggwako nga 20 April anaaba teyewandiisizza essimu yakugibwako.
Omwogezi w’akakiiko kano Fred Otunu teri kwongezaayo nsalesale ono nga era anaaba teyewandiisizza ebyessimu abyerabire.
Mungeri yeemu ekibiina kyabannamateeka wamu n’abamu ku…
Aba University ye Makerere bagobye abayizi 15 abajingirira empapula za dipulooma okuweebwa ebifo mu ssomo ly’obusawo wamu n’okutabula eddagala.
Abagobeddwa kuliko abasoma obusawo 13 mu mwaka ogusooka sso nga abasoma okutabula eddagala bali 2.
Nga 9 March omuwandiisi wa University Alfred Masikye Namoah, yawandiikira bano bonna okweyanjula mu kakiiko akakwasisa empisa bewozeeko nga tebanagobwa.
Wabula 11 bokka bebeyanjula…
Bya Malik Fahad
Omuntu omu y’afiiriddewo n’abalala 3 nebabuuka n’ebisago ebyamanyi oluvanyuma lw’akabenje akabaddemu emmotoka 3 mu disitulikiti ye Lwengo.
Omugenzi ategerekese nga Willy Bbosa omusaabaze mu baasi ya kampuni ya Bismarkana namba UAM 813C ebadde eva e Kabale ngedda e Kampala.
Akabenje kano kabadde ku kyalo Malongo ku luguudo oluva e Mbarara okuda e Masaka.
Okusinziira ku beerabiddeko…