Bya Shamim Nateebwa
Ng’abakulistaayo betegekera okukuza amazukira, Poliisi eriko ekiwandiiko ky’efulumizza mwebakakasirizza nti eggwanga bweritebenkedde awatali bwerakirivu bwonna.
Ekiwandiiko kino kisomeddwa omogezi wa poliisi AIGP Hassan Kasigye era nasaba abantu babulijjo okujaguza mu mirembe ate okusigala bulindaala k kabi konna akayinza okubatusibwako abantu abakyamu.
Kati ku butemu obwabadde mu bitundu bye Kireka ne Bweyogerere, Kasigye agambye nti buno…
Bya Shamim Nateebwa
Nga twetegekera okukuza amazuukira ga Yesu Kristo ag’omwaka guno,Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda II asabye abantu bbe Okwenyigira mu by’obulimi n’obulunzi okukozessa ennimiro okulima ebirime ebyanguwa okukula n’okweyambisa amagezi agabawebwa abakuggu.
Ssabasajja mungeri yemu yenyamidde olw’obulwadde bwa sirimu obwali butandiise okukendera naye nga kati bweyongera buli kiseera bwatyo n’akubiriza abantu bbe okukola ekisoboka okwewala edwadde…
Bya basasi baffe
Abakulisitu okwetoloola eggwanga batandise okutambula mu kkubo ly’omusaalaba nga bajjukira Yeesu Kulisitu olunaku lweyatibwa.
Mu kampala amakanisa egenjawulo gasuubirwa okukunganira ku ssomero lya Old Kampala mu kusaba okwawamu.
Ab’ekeleziya ye Rubaga bakulembeddwamu Fr. Joseph Ssebunya nga era baakuyita Mengo Kisenyi boolekere Old Kampala.
Ssabassumba w’ekanisa ya Uganda Stanley Ntagali yakumebeddemu abavudde ku Kanisa ya Allsaints
Ate Vicar…
By Sam Ssebuliba
Abakozi ba kampuni ya CNOOC oil abazimba ebbibiro ly’amasanyalaze erya Karuma Hydro Power Project e Kiryandongo bediimye nga bemulugunya ku misolo emikakali egibwagibwa n’obukyafu obususse.
Abakozi bagamba abadisistulikiti ye Kiryandongo baabasabye omusolo 10$ ku musaala gwabwe nga kwotadde ogwa gavumenti wamu n’ezekitavu ky’abakozi zebagamba nti ziyitiridde.
Bano bagamba nti bazze basaba okwongezebwa omusaala olw’emisolo gino…
Bya Gertrude Mutyaba
Omuyizi wa Seniya esooka akwatiddwa lwakusangibwa nga yoomu kwabo abenyigira mu kusuula ebibaluwa ebyewanisa banna Masaka emitima.
Omukwate (amannya gasirikiddwa) muyizi ku ssomero lya Holy Family Secondary School erisangibwa mu gombolola ye Kyamuliibwa mu district e Kalungu.
Afande Alex Nuwamanya nga yaakulira poliisi ye Kyamuliibwa akakasizza okukwatibwa kw’omuyizi ono wabula naagamba nti bagenda kwongera okumunonyerezaako.
Okukwatibwa…
Bya Ruth Anderah
Omusajja ow’emyaka 43 akwatiddwa nasimbibwa mu mbuga z’amateeka lwakubba Mbuzi biri.
Kugonza Kamara Henry g’akola mubimuli bya Makerere University asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende nakiriza omusango neyetonda era nasaba ekisonyiwo.
Kugonza ategezezza kkooti nti embuzi biri yazibba naye emu yamubulako nga ey’okubiri yo weeri era nga…
Enkumi n’enkumi z’abantu batandise owkekulumulala okuva ebule n’ebweya nga boolekera essomero lya Lubiri High school e Buloba okwetaba mu mikolo gy’okukuza amazaalibwa ga ssabasajja ag’emyaka 62.
Byo eby’okwerinda bbirigguluggulu okuviira ddala ku Lubiri e Bulange Mengo.
Abakungu ba ssabasaaja abenjawulo okuli Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nebaminisita be nga kwotadde abava mu gavumenti eyawakati basuubirwa ku…
Munna NRM Rehema Watongola N’abawagizi be bakyagyaganya oluvanyuma lw’okuddamu okuwangula akalulu ka municipaali ye Kamuli nebamegga munna FDC Salaamu Musumba eyamuwawabira nebamugoba mu palamenti nti teyasoma.
Watongola yakukumbye obululu 8,726 olwo Musumba nafunayo 5,778 mu kalulu akaabaddeko n’obugombe.
Wabula neera Musumba agamba okulonda kuno tekwabadde kwamazima nga mwabaddemu okugulirira abalonzi, okukuba abalonzi be n’okubakwata.
Musumba agamba wakusalawo ekyokuzzaako…
Ab’ekibiina kya FDC beganye ebigambibwa nti bebaaluse olukwe lw’okukwata minisita omubeezi ow’ebakozi nga alya enguzi ey’obukadde 5 okuva mu bakampuni ya AYA..
Bweyabadde alabiseeko mu kkooti ewozesa abakenuzi olunaku lw’eggulo Kabafunzaki y’ategezezz anti teri Mulala FDC yeyagala avundire mu kkomera.
Wabula ye omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agamba Kabafunzaki yandiba nga yaloose nga FDC temuli obubi…
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bategezezza nga bwekitali kyabwenkanya abakakiiko akalungamya ebyempuliziganya aka Uganda Communications Commission ne poliisi okulagira bananyuganda bonna okuddamu okuwandiisa kaadi z’essimu zaabwe.
Akakiiko kano n’abalala bekikwatako olunaku lw’eggulo baawadde bannayuganda bonna ennaku 7 zokka nga bamaze okuwandiisa amassimu gaabwe oba sikkyo gajibweko nga era kuluno abalina endaga Muntu bokka bebagenda okuwandiisibwa.
Akulira akakiiko kano Godfrey…