Bya Gertrude Mutyaba
Oluvanyuma lw’abazigu okulumba ekyalo kye Kyabakuza nebatema abantu, abatuuze mu kitundu kino bayisizza ekiteeso okusasula ensimbi okulaba nga b’ongere okunyweza eby’okwerinda.
Abatuuze kino bakituuseeko mu lukiiko olw’atudde akawungeezi ka ssande nebakkiriza okusasulira abavubuka bakanyama abanaasulanga nga balawuna ekitundu kyabwe.
Sentebe w'akabuga ke Kyabakuza Francis Mawanda agamba nti kino bakituuseeko oluvannyuma lw’abatuuze okusaba obukuumi obw’enjawulo basobole…
Bya Opio Sam Caleb
Nga kampeyini zikomekerezebwa olunaku lwaleero, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwaleero ayolekedde Kamuli okukubira munna NRM Rehema Watongola kampeyini ku kifo ky’omubaka w’ekitundu kino.
Pulezidenti azze akubira ab’ekibiina kye kampeyini mu bitundu ebyenjawulo naddala mu kuddamu okulonda
Pulezidenti Museveni asuubirwa okukuba enkungaana wali ku ssomero lya Buterimire Primary school .
Watongola avuganya ne munna FDC…
Bya Damali Mukhaye
Munnabyanjigiriza ow’ettendekero ekkulu erye Makerere ajjukirwa enyo okweyambula nga akaayanira ofiisi Dr. Stella Nyanzi asuubirwa mu kkooti olwaleero olw’okuvvoola mukomukulembeze w’eggwanga era minisita w’ebyenjigiriza.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Emilian Kayima akaaksizza ng Dr Nyanzi bw’avunanibwa emisango gy’okukozesa obubi compyuta n’akozesa olulimi oluvuma abantu nga era yamenya etteeka lya compyuta erya 2011 mu…
Bya Shamim Nateebwa
Polisi ye Nateete eriko omuwala gw’ekutte nga emuteberezza okuyiira muganzi we Asidi eyamukyaye.
Omuwala ono ategerekesseko nga Sarah kigambibwa yayiridde Husein Kato asidi oluvanyuma lw’kumukyawa sso nga ye abadde akayamwagala.
Kati ono aguddwako gwakugezaako kutta Muntu wabula nga ye Kato ali mu ddwaliro lye Kiruddu gy’ajanjabibwa era nga poliisi yaguddewo dda omusango o ku fayiro…
Bya Damali Mukhaye
Nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ebyobulamu mu nsi yonna nga essira liri ku nsonga ya kwenyika mu birowoozo, minisitule y’ebyobulamu etegezezza nga embeera eno bwesinga mu bifo ewali entalo n’enjala.
Dr. Hafsa Lukwata akulira ebyokujanajaba obulwadde bw’emitwe mu minisitule y’ebyobulamu agamba ekibi tebalina ssente zakukola kunonyereza kumanyisa bantu bameka abakosebwa embeera…
Bya Damali Mukhaye
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bakolokose palamenti Olw’okuyisa etteeka eriwa minisita obuyinza okukola enongosereza zonna mu mateeka agafuga eby’amawulire awatali kwebuuza ku palamenti.
Omukwanaganya w’ekibiina ekilwanirira eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Network Patrick Tumwiine agamba tebawagira kino kubanga kati abaamawulire babataddeko olukomera mu kukola emirimu gyabwe.
Agamba gavumenti yandileese mateeka agayamba bannamawulire okukola obulungi emirimu gyabwe mukifo…
Bya Shamim Nateebwa
Abayisiraamu okwetolola eggwanga olwaleero baakusabira ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II nga omutanda akuza amazaalibwa ge age 62.
Okusaba okukulu kwakbeera ku muzikiti e Kibuli wamu neku muzikiti gaggade ogwa Kampala Mukadde.
Okusinziira ku Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga wakubeerawo okusaba okwenjawulo ku kanisa y’aba Seventh Day e kireka namakinsa gabaseventh day…
Bya Eria Lugenda
Olukiiko olukulembnera eggombolola ye Busaana mu district ye Kayunga lutaddewo amateeka amakakali kukunywa saako n’okutunda omwenge muggombolola eno mukaweefube wokukendeeza kubumennyi bwamateeka n’obwakileeleesi mukitundu.
Sentebe weggombolola eno David Mubyaliwo agambye nti abatuuze
mu kitundu kino basusse okukeera mubirabo by’omwenge okwessiwa
entabaaza bakadde nebagangayira mubiseera ate mweebandibadde bakolera emirimu .
Kaakti okusinziira ku tteeka eppya teri kuggulawo kirabo…
Bya Malik Fahad
E Masaka ebimotoka by’amafuta 2 bigudde ku bubenje bubiri obwenjawulo ekimu nekikwata omuliro negusaasanira mu mayumba agabadde okumpi.
Akabenje akasooka kabadde wali e Kijjabwemi mu tawuni y’emasaka oluvanyuma lw’ekimotoka namba T438 DDJ/T450BKH ekibadde kidda e Kampala nga kiva Mbarara bwekilemeredde omugoba waakyo nakilindiggula ennume y’ekigwo.
Dereeva w’ekimotoka kino Abdu Mwine ategezezza nga ekimotoka kino bwekigaanye…
Bya Damali Mukhaye
Munnabyanjigiriza ajjukirwa enyo okweyambula nga akaayanira ofiisi ku yunivasite ye Makerere Dr.Stella Nyanzi aganye eby’okunyigirwa mu ttooke.
Nyanzi nga ayita mu munnamateekawe Isaac Ssemakadde ayagala kwewozzako era aganye ebyokumukangavvula ku by’okuvvoola mukomukulembeze w’eggwanga Janet Museveni.
Dr. Nyanzi yawumuziddwa okuva ku yunivasite ye Makerere lwakukozesa lulimi luvuma eri mukomukulembeze w’eggwanga era minisita w’ebyenjigiriza nga ayita ku…