Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Emisolo gisaliddwako mu mbalirira empya

Bya Ibrahim A Manzil Omukulembeze w’eggwanga Yoweri  Kaguta Museveni nga ayita mu minisita omubeezi ow’ebyensimbi  David Bahati ayanjizza eri palamenti embalirira yabutabalika (Twillion) 28 ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017/2018. Ensimbi ebitundu 75.4  zakukunganyizibwa  mu misolo gyakuno. Bahati ategezezza palamenti nti gavumenti esuubira enkulakulana eri wakati w’ebitundu 6-7% oluvanyuma lwa gavumenti okukendeeza ku bbeeyi y’amassanyalaze eri abagakozesa. Minisita w’ebyensimbi  Matia Kasaija agamba…

Read More

Mutaase banaffe abavundira mu makomera-Bakansala

Bya Damali mukyaye Bakansala ba KCCA bakedde kugumba ku bizimbe bya palamenti nga bawakanya ekya bannayuganda ababonabonera mu Mawaga gabawarabu. Bano nga bakulembeddwamu Kansala we Kaeempe Muhammad Ssegirinya bazze n’emifaliso okwewabaka ku palamenti okulaga obutali bumativu. Abakulembeze bano balumiriza palamenti okutunula obutunuzi awatali kikolebwa nga bannayuganda baisibwa nga ekyokuttale mu maanga gano sso nga n’abandi bavundira mu makomera…

Read More

Asobezza ku kawala k’essomero

  Bya Shamim Nateebwa Pollisi egalidde omuvubuka agambibwa okulimbalimba akawala k’essomero  n’akasobyako. Sharif Ssuuna owemyaka 18 nga mutuuze we Zzana mu zooni ya Kirimanyaga yatemeza emabega wemitayimbwa oluvanyuma lwa poliisi okumukwatira  mu muzigo gwe n’akawala kessomero ngamaze okukasobyako. Akulira poliisi eno, John Katushabe ategeezezza nti Ssuuna yalimbyelimbye omwana owa ssiniya eyokusatu  Zana Mixed SS  namutwala namusuza mu nju ye…

Read More

Ebya Sheikh Kamoga ne banne bibi

  Kkooti enkulu ewozesa emisango gyanaggomola eragidde akulira abatabuliiki ku muzikiti gwe Nakasero nebanne 13  abavunaanibwa okutta abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga okwewozaako ku misango gy’obutemu, obutujju n’okugezaako okutta.   Abalamuzi nga bakulembeddwamu munaabwe  Ezekiel Muhanguzi ategezezza nga obujulizi obwaleetebwa abajulizi 36 bwebulumika abantu bano kale nga balina okwewozaako era nebabalagira okudda mu kkooti nga 25 April batendike okwewozaako. . Kkooti…

Read More

Omukuumi w’ekizimbe asse abadde yekalakaasa

  Omukuumi ku kizimbe ky’omugagga John Bosco Muwonge ku Arua park akubye omusajja essasi n’amuttirawo. Kino kiddiridde abapangisa ku kizimbe kino okwekalakaasa amakya galeero ku kizimbe kya Superior Complex nga bawakanya eky’okubongeza ensimbi z’obupangisa.   Abasuubuzi bano baasazewo okuggalawo amaduuka gaabwe mu kwekalakaasa oluvanyuma lw’omugagga Muwonge okubongeza ez’obupangisa n’ebitundu 100%.   Kaakati mu kavuvungano akabaddewo, omukuumi wa kampuni ya SGA akubye…

Read More

Abakozi ku kampuni y’eddagala bediimye

  Abakozi ku kampuni entabuzi y’eddagala eya Abacus Parenteral Drugs Ltd balumbye poliisi ye Mbalala e Mukono nga baagala banaabwe abakwatiddwa olwokwediima bayimbulwe mangu. Abakozi bano abasoba mu 100 bakedde kwekunganya kwolekera poliisi nga balumiriza nti banaabwe tebalina musango. Abakozi bano baatadde wansi ebikola nga bagamba bakolera mu mbeera mbi sso nga bakama baabwe tebafuddeyo kujilongoosa. Bano batutegezezza nti…

Read More

Liigi ezzemu-ttiimu zirwanira bifo

  Liigi y’eggwanga eddamu okutojera olwaleero n’emipiira egyenjawulo. Ku kisaawe kya St Mary’s e Kitende bananyinimu aba Vipers baakwabika ne  Sadolin. Bannamantameggwa ba liigi aba KCCA baagala kulaba nga baziba edibu ku bakulembedde aba Villa nga era baakukyaza aba Bright Stars ku kisaawe kya Phillip Omondi Stadium e Lugogo. E Kakindu BUL FC yakuzanya aba  URA .   SC Villa ekyakulembeddemu…

Read More

Kapiteeni wa Cranes omuggya

Omukwasi wa goolo ya Uganda  Dennis Onyango ye kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga the Cranes omuggya. Onyango asikidde  Geoffrey Massa eyawumudde ogw’eggwanga oluvanyuma lw’emyaka 12 nga awereza. Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga Micho Sredejovic akakasizza kino n’ategeeza nga Onyango bw’alina obumanyirivu okukulembera bulungi banne.   Mukiseera kino Onyango ali ne kiraabu ye eye South Africa eya  Mamelodi Sundowns nga era wakukulemberamu…

Read More

Wuuno omuzimbabwe atasasula za woteeri-Bamuggalidde

  Bya Ruth Anderah Munansi  w’eggwanga lya  Zimbabwe avunaniddwa natwalibwa mu Komera e Luzira lwakusula mu Hotel emu mu Kampala nalemererwa okusasula. Moyo Handsome avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende nasomebwa omusango naye n’agwegaana. Oludda oluwaabi lutegezezza kkooti nti omuzimbabwe ono okuva 7th December 2016 okutuusa jolyabalamu  e Kiwatule mu Kampala…

Read More

Abbye obumonde bamusindise Luzira

  Bya Ruth Anderah Omufumbi  ku restaurant emu mu Kampala  akwatiddwa natwalibwa  ku  alimanda  e  Luzira  ku  bigambibwa  nti  yabbye obumonde obuzungu  okuva  ku  bakama be. Tatibu  myaka 20 chef ku Chill restaurant  Kisementi  mu Kampala  yasimbiddwa  mu  kkooti  ya  City Hall  mu maaso g’omulamuzi  we   daala  erisooka  Moses  Nabende  namusindika  mu  Kamera  e  Luzira  ajira  yebaka  yo…

Read More