Abamu ku basomesa mu disitulikiti ye Butaleja tebakyayagala kulinya mu bibiina nga batya okukwatibwa olw’amabanja ga banka agabali mu bulago.
Akulira ebyenjigiriza ku disitulikiti Phillip Kalyebbi agamba banji ku basomesa bano balina amabanja wakati w’ana n’omukaaga.
Wabula Kalyebi enenya abasomesa bano kubanga mukifo ky’okwewola ssente nebakolamu bizineesi ezileeta ku ssente, bazisasuliramu baana baabwe fiizi mu masomero ag’ebbeeyi.
Abalwanirira eddembe lyabannamawulire basoomozeza ekya sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga okukubisa bannamawulire ebirayiro nga tebanatandika kukwata mawulire mu palamenti.
Sipiika agamba bannamawulire ba palamenti bawandiika kalebule ku palamenti kale nga betaaga okukomebwako.
Kati omukwanaganya w’ekibiina kya Human Rights netwrk for journalists Robert Ssempala agamba kino kikyamu nga kisanye okusimbirwa ekkuuli.
Ssempala agamba bannamawuliore balina bakama baabwe gyebakolera era …
Ab’ekibiina kya FDC bakolokose pulezidenti Museveni olwokumala gagabanga ssente eri ebibiina by’obwegassi mu butale.
Kino kiddiridde ebyafulumye nti pulezidenti aliko ekibiina ekitaliiyo kyeyawa obukadde 100 wali e Mulago kubbiri sso nga ssinakiwandiise.
Kati omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agamba pulezidenti alina kulungamya nkola yamirimu ya bibiina bino bonna bafune ensimbi ezokwekulakulanya.
Poliisi ye Jinja eriko paasita gw’ekutte lwakusangibwa n’abawala b’abadde akuumira mu kanisa gyeyakola mu makage.
Paasita Osubati Obako okuva e Kabaale y’akwatiddwa ku kyalo Naigobya .
Poliisi egamba abamu ku batuuze bafunye okweralikirira nti yandiba nga asobya ku bamu ku bawala bano nga era atwala poliisi ye busedde Kenneth Okwi agamba bwebayazizza enyumba eno kati ekola nga…
E Jinja waliwo omukazi atanaba kutegerekeka eyesaze obulago n’afiirawo.
Enjego eno ebadde mu tawuni ye Jinja ku luguudo lwa Eng Dhikusooka.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Samson Lubega agamba omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Jinja okwongera okwekebejebwa.
Lubega agamba poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza.
Ab’ebyobulamu mu disitulikiti ye Kable wamu n’abakungu okuva mu kitongole ky’amazzi ne kazambi babakanye ne kawefube w’okuggala enzizi ezasangiddwa nti amazzi gaazo mulimu empitambi.
Bano nga gakulembeddwamu akulira ekitongole ky’amazzi e Kable Lenny Otai n’akulira ebyobulamu ku disitulikiti Andrew Beija bagkuggala enzizi ezili eyo mu 20 okutaasa abantuuze okunywa empitambi.
Abamu ku bantu abakoseddwa mu kikwekweto kino…
Minisita atalina mulimu gwankalakalira Al-Hajji Abdul Nadduli ategezezza nga bw’ayagala okutuukirira omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni awatali kuyita mu muntu yenna.
Nadduli agamba abmu ku bantu pulezidenti beyesiga okumutuusako obubaka tebabutuusa olw’ebigendererwa byabwe eby’okweyagaliza bokka kale nga kati naye ayagala yetuukire awatali kusindika mabaluwa kuyita mu muntu yenna.
Nadduli alumiriza nti olumu pulezidenti Museveni yamuweereza obukadde 240…
Abakulembeze mu gombolola ye Makindye embwa ezitaayaaya zongedde okubalumya emitwe.
Kino kiddiridde abatuuze okwongera okwekubira enduulu ku mbwa zino eziva ku byokunonya ebyokulya ku kasasiro neziluma abatambuze.
Kati Meeya w’egombolola eno Ali Mulyanyama agamba ekileese obuzibu bebananyini mbwa zino abatiisatiisa abobuyinza okubakuba mu mbuga z’amateeka singa batta embwa zaabwe.
Mulyanyama era avumiridde ba crime preventers abakaalakaala n’embwa enyingi…
Kkooti enkulu wano mu kampala eragidde abaakwatibwa 14 ku misango gy’okutta bamaseeka 2 okuli shiekhMustafa Bahiga ne Ibrahim Hassan Kirya bagende mu maaso n'okwewozaako.
Kino kiddiridde omulamuzi Justice Duncan Gaswaga okukakasa nga bano bwebaguddwako emisango 4 okuli ogw’obutujju, obutemu n’okugezaako okutta Sheikh Haruna Jjemba .
Nga tanawa kilagiro kino, omulamuzi Gaswaga alaze obujulizi bwebagenda okukozesa okuvunaana 14…
Ab’ekibiina kya FDC baagala gavumenti ekomyewo kuno eyali omuyambi wa DR Kiiza Besigye ono nga ye Sam Mugumya nebanne abalala 4 abaakwatibwa munda mu ggwanga lya DR.Congo.
Mugumya nebanne bano baakwatibwa nga basala ensalo okwesogga Congo mu 2014.
Mugumya ono yategeezako olupapul;a lwa Daily Monitor nga bweyali adduka mu Uganda oluvanyuma lw’okutuntuzibwa.
Kati amyuka omuwandiisi wa FDC Harold…