Gavumenti esabiddwa okuvaayo n’enteekateeka enayamba mu kuvujirira eby’obulimi ensimbi.
Okusinziira ku kitongole ekivunanyizibwa ku by’emiwendo bannayuganda abasoba mu bitundu 68% balimi wabula abasinga bakyali ku nnima eri enkadde.
Omu ku banonyereza okuva mu kibiina ekigatte abalimi mu ggwanga ekya Uganda Farmer’s Federation Prudence Ayebare agamba wasanye okuvaayo n’enkola enambulukufu okulaba nga ebyobulimi biyitimuka.
Ebibinja by’abalamazi ebirala bisuubirwa okusitula wiiki eno okugenda e Makka okukola Hijja.
Omwogezi w’olukiiko olufuzi olwabasiraamu Hajji Nsereko Mutumba agamba Uganda esuubirwa okuwereza abalamazi nga 750 .
Ku lwokutaano lwa wiiki ewedde Mufti sheikh Shaban Ramadhan Mubajje yasiibudde 65 nga n’abalala basuubirwa okugoberera.
Abaasibudde baakulembeddwa Sheikh Ali Juma Shiwuyo nga era batuuse dda e Jedda.
The President Yoweri Kaguta Museveni shakes hands with the Prime Minister of Japan Abey Chinzo shortly after their meeting at the on going Tokyo International Conference on African Development at Kenya International Conference Centre in Nairobi , Kenya on Sunday 28th August 2016.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye gavumenti ya Japan okusobozesa Uganda okuloba mu…
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Kabarole balabudde abakola oluguudo lwe Fortpaortal okudda e Kyenjojo okwewala omuze gw’okusobya ku baana wamu n’okukaka abakazi omukwano nga bakola emirimu gyabwe.
Omulimu gw’okuzimba oluguudo luno olw’obuwumbi 71 gwatandika mu June w’omwaka guno nga era kampuni y’aba China eya Wu Yi Co Ltd yeli ku kulukola.
Kati mu lukiiko lwebatuuziza ku kitebe kye…
Abakungu ku ddwaliro lye Naguru wano mu Kampala bemulugunyizza ku kuwoggana okususse okuva eri abali kumpi n’eddwaliro lino ekimazeeko emirembe abalwadde n’abasawo n’okusingira ddala abaana ababa baakazalibwa.
Akulira eddwaliro lino mu kitundu kino Gorret Tibifumuru agamba yadde nga balina ebizibu bingi gamba nga ebitanda ebitamala n’eddagala ettono, okuwoggana kususse.
Anyonyodde nti kino kivuddeko abakyala bangi okuzaala abaana…
Akakiiko k’ebyokulonda kakuwereza ebinakozesebwa mu kulonda kwa disitulikiti empya olwomukaaga luno.
Okusinziira ku nteekateeka z’akakiiko k’ebyokulonda okulonda ababaka ba palamenti wamu ne ba ssentebe bazidisitulikiti empya okuli Omoro, Rubanda, Kakumiro, Kagadi ne Kibale baakulondebwa nga 29 August 2016.
ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kigundu agamba abantu baakutandika okuweebwa opupapula obulaga gyebalina okulondera ku lwomukaaga ne ssande .
Agamba…
Minisita omubeezi ow’ebyamazzi Ronald Kibuule alabudde ku kutematema bu poloti ku ttaka ly’okulimirako.
Nga ayogerera mu lukungaana lw’ebyobulimi olwennaku 5 wali e Mukono, Minisita Kibuule agamba kino kizibu kyamanyi ekikosa obulimi obuli ku mulembe omuva ensimbi.
Agamba singa abalimi balemera ku nkola eno kyakulemesa Uganda okutuuka mu lusse lw’amawanga agali yadde yaddeko
E Bugiri omukazi yetuze oluvanyuma lw’okwekebeza n’asangibwa ne siriimu.
Margret Nakisuyi omutuuze ku kyalo Mayuge West mu gombolola ye Budaya y’asangiddwa nga yeyimbyemu ogwakabugu omulambo gwe nga glengejjera ku muti.
Aduumira poliisi ye Bugiri Edrisa Kyeyune agamba bakyanonyereza kun fa y’omukyala ono yadde nga baliraanwa bagamba amaze ennaku nga atolotooma oluvanyuma lw’okukizuula nti siriimu yamusenkenya dda.
Gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu nsawo y’abakadde okwongera okuwagira abakadde bano okwetolola eggwanga lyonna.
Enteekateeka eno yatandikibwawo emyaka 6 egiyise mu disitulikiti 15 okuli Kyenjojo, Kyegegwa, Zombo , Nebbi n’endala okusinziira ku kakiiko ka palamenti akalwanirira abantu nga abakadde.
Ssentebe w’akakiiko kano era omubaka omukyala owe Kyegegwa Flavia Kabahenda agamba ensimbi ntono ezitekebwa mu nsawo eno kale…
Omuntu omu y’aweereddwa ekitanda mu ddwaliro lya Kyegegwa health centre IV oluvanyuma lw’abatuuze okulwanagana ne poliisi nga era abalala 15 batemeza mabega wamitayimbwa lwakukuma muliro mu bantu.
Atwala poliisi ye kyegeggwa Mbusa Kiyonga, agamba bano baakwatiddwa nga batabangula emirembe mu gombolola Rwentuha .
Akavuyo konna kaavudde ku nkaayana z’ettaka nga eno gavumenti eriko bannayuganda abasoba mu 5000…