Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abalangira baweze okukyankalanya emikolo gyakyabazinga

Abalangira b’ekika  kyaba wakooli okuva mu ssaza lye Bukooli balangiridde nga bwebajja okukyankalanya emikolo gy’amatikkira gya Kayabazinga we Busoga William Nadiope ag’okubeerawo nga  Sept 13. Abalangira bano balumiriza Kyabazinga  Nadiope okukolagana neyewangamiza ku bukulu bw’essaza lyabwe nga entebe yaginyakula kuva ku mulangira David Kibubuka. Mu lukungaana klwebatuddemu abalangira bano bagambye  David Kawunhe Wakoli atuula ku lukiiko lw’obwakyabazinga okukiikirira…

Read More

Omuvubuka yetuze lwakibanja

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi bwebagudde ku munaabwe nga yetugidde ku muti lwakitaawe kumumma ttaka.   Godfrey Nalisita omutuuze ku kyalo  Butanga y’asangiddwa nga yetugidde ku muti gwa ffene emanju w’amaka gabakadde be.   Okusinziira ku taata w’omugenzi  John Ntambazi  , mutabaniwe yali yamutiisa nti singa tamwawuliza ku kibanja wakwetta ye nabiyita eby’olusaago.   Agamba  Nalisita yali…

Read More

Uganda esabiddwa okukyusa mungeri gyejanjabamu Siriimu

    Gavumenti etereddwa ku ninga ekyuuse mu mateeka g’okujanjaba siriimu buli mulwadde asobole okujanjabibwa awatali kulinda bya cd4s okulinya.   Mu lukungaana lw’okukubaganya ebirowoozo wano mu kampala, akulira ekibiina ky’ebyobulamu ekya Health Gap ono nga ye Asia Russen ategezezza nti omuntu olukeberebwa n’azulibwa nti alina siriimu alina okutandika eddagala ekitagobererwa wano mu Uganda.   Agamba ekitongole…

Read More

Eddwaliro liganye okukozesa ebyuma ebipya lwanfuufu

  Enfuufu etasalako eremesezza ab’eddwaliro lye Masindi okukozesa ebyuma byebakagula.   Akulira eddwaliro lino  Dr George Bateganya agamba enguudo ezetolodde eddwaliro lino zivaako enfuufu mpitirivu ekwatiridde ku byuma ebikebera endwadde n’ebya X ray kale nga kizibu okubikozesa kubanga enfuufu eno ebitta.   Anyonodde nti ekyuma kya X ray baakakifuna wabula tebasobola kukikozesa okutuusa nga enguudo baziyiye kolaansi.   Ssentebe wa disitulikiti ye…

Read More

Abadde ataasa abazaala bamusse

Entiisa ebutikidde abatuuze be Kayini mu ggombolola ye Kasawo mu district ye Mukono, omuvubuka bwakubye munne ekitti nafa. Joseph Mubutu owe myaka 22 abadde ayingidde mu lutalo okutaasa wakati wabavubuka ababiri abadde balwana olwa ssente ate ye gwebakubyemu. Katwere Andy ne munne Ssentamu Yunas babadde bazannya matatu, newabalukawo olutalo omugenzi kwevaayo abataase wano Katwere wanawukidde nava ku…

Read More

Abagambibwa okubeera abalogo balajanye

Waliwo abafumbo  abaddukidde ew’omubaka wa gavumenti e Mukono David Matovu nga bagala bayambibwe oluvanyuma lw’ebbiina lyabantu eryabalumbye nebasanyawo buli kimu nga babalumiriza okuleeta ebya wongo ku kyalo. Peter Kakooza ne kabiite we Edith Naluyima nga batuuze be Mbale mu gomboloola ye Mpunge mu district ye Mukono bebagudde ku kyokya. Balumiriza ssentebe we kyalo Erimiya Kamali okukulemberamu  ekibinja…

Read More

Abatali basomesa ku yunivasite balemeddeko

  Abakozi abatali basomesa mu yunivasite za gavumenti sibamativu ne sitetimenti minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni gyeyawadde eri palamenti eyalaze nga gavumenti bw’egenda okusasula emisaala gy’abakozi bano egy’emabega olunaku lw’enkya nga bwebakyateesa ku ky’okubongeza.   Ssentebe w’ekibiina ekigatta abakozi bano Jackson Betihama agamba ssibamativu nabino. Agamba baagala gavumenti esooke etangaaze ku byokubongeza omusaala nga tebanayogera ku byakusasula ssente zaabwe ez’emabega…

Read More

Sipiika Kadaga alabudde gavumenti ku by’ettaka

Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga asoomozezza gavumenti okwongera amaanyi mu kukuuma ettaka ly’amasomero gaayo nga bwekiba kyakugaziwa ensonga eno eyanguwa.   Sipiika okuvaayo bwati kiddiridde eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti Dr. Kizza Besigye okukolokota gavumenti olwokutunula obutunuzi nga bannakigwanyizi babba ettaka ly’amasomero gaayo mungeri etategerekeka.   Kati sipiika asabye minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni okufuba okulaba nga…

Read More

Kayihura bamulinze mu kkooti

Ssabapoliisi w’eggwanga  Gen. Kale Kayihura neba ofiisa be abalala 7 olwaleero basuubirwa mu kkooti ye Makindye okwewozaako ku musango gw’okutulugunya ogwabaggulwako.   Gen.Kayihura yetaagibwa mu kkooti ne ba ofiisa okuli James Ruhweza, Wesley Nganizi, Andrew Kaggwa , Geoffrey Kahebwa n’abalala.   Omulamuzi Juliet Nakitende nga  25th /July 2016 yayita bano babitebye opluvanyuma lw’bavubuka basatu okuli Andrew Ssebitozi, Rogers Ddiba ne…

Read More

Omubaka Kasibante alemedde ku by’ettaka lya UBC

Ettaka lya  UBC eyagulibwa omubaka we  Burahya Margaret Muhanga kizuliddwa nti likyaliko ebibuuzo bingi.   Omu ku babaka ba palamenti Moses Kasibante nga atuula ku kakiiko akalondoola eby’ettaka lino agamba ekyapa Muhanga kyeyaleese kiraga nga yiika 23 zonna bwezatundibbwa sso nga mu butuufu 18 zokka zezatundibwa.   Kasibante agamba abantu abalala bangi bakuzulibwa nti ddala bafuna ettaka mu bukyamu.   Kati…

Read More