Abantu 32 abateberezebwa okubeera emabega w’okutta abakulembeze b’abayisiraamu batuuse wali ku kkooti enkulu.
Bano bakulembeddwamu akulira abatabuliiki ku muzikiti gwe Nakasero Sheikh Yunus Kamoga nga era bavunanibwa gwa butemu, okugezaako okutta, ogeobutujju n’okutyoboola eddembe ly’obuntu.
Bano bavunanibwa kutta Sheikh Hassan Kirya wali e Bweyogerere, Sheik Bahiga e Bwebajja n’okugezaako okutta Dr. Sheik Mustafa Jjemba.
Abalamuzi 3 okuli Ezekiel…
Bannayuganda abasoba mu 10 bakyatubidde mu ggwanga lya Kenya olw’okubulwa ensimbi z’okweyimirirwa bwebakwatibwa n’ebiwandiiko ebijingirire.
Akwanaganya ekitongole ekilwanyisa okukukua abantu wano mu ggwanga Moses Binoga agamba bannayuganda 34 Ugandans baakwatibwa mu kibuga Nairobi mu myezi 2 egiyise nga balina ebipapula ebijingirire kwebaali batambulira.
Agamba kati abasoba mu 10 bakyasibiddwa mu kkomera lye Logati e Nairobi kubanga tebalina…
Nga sizoni y’enkuba erabika nga etandise, abantu bonna baweereddwa amagezi okwewala okuyita mu nguudo ezanjalamu amataba okusobola okutaasa obulamu.
Akulira poliisi enzinya mooto Joseph Mugisa y’awadde okulabula kuno oluvanyuma lw’amataba okutta abantu 2 e Namuwongo wiiki eno yennyini.
Ono era asabye abasula mu bitundu omubeera amataba nga Bwaise, Nsooba n’e walala okusala amagezi okulwanyisa amataba gano.
Abanoonyi bobubudamu abali mu 5000 basabye government ebawe ku ttaka basobole okwerimira bawone okusabirizanga.
Bino webijidde nga gavumenti Government yasengula abanoonyi bobubudamu 5000 okuva mu kambi ye Ssango-Bay e Tanzania nebabaleeta kuno mu district ye Kyegegwa.
Ate omusajja mu district ye Mayuge asabye poliisi okumuwa omutwe gwa muganda we, ogwatwaliddwa okwekebejjebwa.
Ahmed Sanyu omutuuze ku kyalo Bukunja mu ggombolola ye Busakira agamba omutwe gwa muganda we Ahmed Batambuze gwatwalibwa poliisi omwaka oguwedde okutuusa kati teguzibwanga.
Ono muganda we yabula okuva awaka omwaka oguwedde wabula oluvanyuma embwa zalabwako nga ziwalabanya akawanga akaali kateberezebwa okuba…
Police ye Luuka egalidde omusajja wa myaka 27 ngono kigambibwa y'akidde mukyala we n'amukuba nasigalako katetera, ngoluyombo lwavudde ku nyama omwami gyeyaguze awaka.
Samuel Lugada omutuuze we Bugoba mu ggombolola ye Bukanga yeyakidde mukyala we Catherine Lugada namukuba ngamunenya okuddira ennyama yonna nagigabira abagenyi.
Akolanga omuddumizi wa poliisi mu district ye Luuka Vincent Elema akaksizza okukwatibwa kwomusajja ono…
Poliisi ye Kabagalaga eriko abantu 10 bekyakuumira mu buduukulu bwayo oluvanyuma lw’okubakwata akawungeezi akayise okuva mu bbaala ya Venom nga babatebereza okubeera abasiyazi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emiliano Kayima agambye nti waliwo abaabatemezzako nti waliwo abantu abaabadde bakubye olukiiko wabula nga tebategerekeka nga bagamba bandiba nga benyogira mu bikolwa ebyokweggula bbuutu.
Poliisi yasitukiddemu n’ebakwata nga…
Waliwo omukazi akubye kampuni ya UMEME mu kkooti bamuliyirire obukadde 100 olwomuliro ogwava ku masanyalaze okusanyawo ekkolero lye erye mmwanyi.
Irene Nankabirwa agamba nga 10 February 2016 aba UMEME bateeka talansifooma empya ku kkolero lye erosangibwa wali e ssemuto wabula wayita ennaku 4 zokka nelikwata omuliro lwabulagajavu lwabayunga ziwaya.
Nankabirwa alumiriza aba UMEME okukozesa abantu abatalina bumanyirivu…
Abantu 7 bawonye okugajambulwa abatuuze ababadde baswakidde ku kyalo Nawampiti oluvanyuma lw’okubakwata n’embuzi enzibe.
Abakwate bano basangiddwa n’embuzi 5 nga endala baabadde baamaze dda okuzibaaga era poliisi eyingiddewo mu budde okubataasa.
Aduumira poliisi ye Luuka Samuel Kintu agamba bvano kati bali ku poliisi ye Nakabugu nga bwebabakunya ku musango gw’obubbi.
Wabula alabudde ekyabatuuze okutwalira amateeka mu ngalo nga…
Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga kwekateralikiridde kuddamu kutegeka kulonda mu bifo kkooti gyeyalagidde okulonda kuddibwemu.
Mukiseera kino ababaka ba palamenti 201 bebakagobwa mu palamenti nga era era kkooti yalagira ewsainga okulonda kudibwemu.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa agamba bbo balinze emisango gy’okulonda gyonna giggweyo bategeke okulonda.