Munnakibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye akedde kweyanjula ku kkooti enkulu nga omulamuzi bweyamulagira bweyali yeyimirirwa.
Gwemulundi ogusoose Besigye okweyanjula mu kkooti bukyanga ayimbulwa omulamuzi Masalu Musene nga 12 omwezi guno ku musango gw’okulya mu nsi ye olukwe.
Wabula Besigye avumiridde poliisi okumulemese okwetayiza mu ggwanga lye nga buli walaga bamukwata n’atuuka n’okubalangira nti ssibebamugulira…
Amawanga ga Africa nga ne Uganda mwogitwalidde galabuddwa okwewala okwewolawola okuva mu bitongole by’ensimbi ebweru w’amawanga gano kubanga gyebujja amabanja gandibalemerera.
Nga aggulawo olukungaana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte olw’ebyobusuubuzi n’enkulakulana mu Africa, eyebuuzibwako mu byenkulakulana mu kibiina kino Lindan Ndolve ategezezza nti okugyako nga amagoba amawanga gano kwegewolera gasiddwa, Uganda amabanja gandigyavuwaza.
Okusinziira ku alipoota y’ekibiina kino amabanja…
Nga obubenje bw’ongera okutirimbula abantu ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, poliisi kati esazeewo kuyimiriza emmotoka ku luguudo luno nga bwebasomesa abagoba baazo ku mateeka g’enguudo.
Kawefube ono atuumiddwa ddayo mu p1 nga era abagoba b’ebidduka bonna bayimirizibwa ku mabbali w’oluguudo mu kifo ky’okubakwata nebababangula.
Omwogezi wa poliisi mu gutundutundu gwa Katonga Phillip Mukasa agamba…
Ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale kaihura ategezezza nga bwali omwetegefu okwelwanako singa omuntu yenna amutwala mu kkooti ku bukambwe bwa poliisi bweyakozesa okukwata abawagizi ba DR Kiiza Besigye.
Kino wekijidde nga waliwo ebiyitingana nga Kayihura bweyayitiddwa yewozeeko mu kkooti y’amagye olwapoliisi okuyitiriza obukambwe.
Kati omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba mukamawe tafunananga bbaluwa yonna emuyita kale…
Kyandiba nga ababaka bangi bakyagobwa mu paalamenti olw’ensonga ezitali zimu.
Amakyagaleero kkooti ye Soroti egobye munna NRM Hellen Adoa mu palamenti lwakujingirira biwandiiko byabuyigirize okutiisatiisa abalonzi wamu n’okubba obululu.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC Alice Alaso yamuwawabira nga tamatidde byava mu kulonda okutuusa lw’amumezze.
Omulamuzi Henrietta Wolayo agamba obujulizi obuleeteddwa bubadde bumala okulaga nti ddala waaliwo okubba obululu era…
Omulamuzi wa kkooti ye Makindye agobye omusango ogubadde guvunanibwa munna FDC Dr. Kiiza Besigye gwokujeemera ebiragiro bya poliisi.
Besigye abadde avunanaibwa ne loodi meeya wa Kampala Mayor Elias Lukwago n’abalala nga babalanga kujeemera biragiro bya muduumizi wa poliisi mu Kampala South Siraje Bakaleke.
Omulamuzi Fortunate Nyapiri omusango guno agugobye oluvanyuma lw’oludda oluwaabi okuleetayo yadde omujulizi okulumiriza Besigye nebanne.
Kigambibwa…
Bannazilwanako mu disitulikiti ye Kasese baliko abajaasi ba UPDF bebalumiriza okuluka olukwe lw’okubakwata.
Bano bagamba abajaasi bano bebalondoola enkola ya gavumenti eyokukulakulanya abatuuze emanyiddwa nga operation wealth creation nga kati babalemesezza embeera bekiise mu buli nsulo ya nsimbi gyebalina.
bannazilwanako nga bakulembeddwamu Muthahunga, balumiriza Maj. Barnabas Mughongo ne Maj John Baptist Sibendiire Katusabe okubafuukira akayinja mu ngato…
Poliisi ye Luweero ebakanye n’okunonyereza ku bazigu abaakubye omuserikale waabwe nebakuliita n’emmundu ye.
Festo kibuuka mu kiseera kino ali mu ddwaliro ly’amagye e Bombo yeyatemeddwatemeddwa abazigu bano nebamanyuuka n’emmundu ye omwabadde amasasi 26.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agamba omuserikale ono yebbye okuva ku yunivasite ye Ndejje gyeyabadde akuuma okugenda mu tawuni ye…
Poliisi ye Soroti esambazze ebibadde bigambibwa nti abaana b’essomero lya Kids King Primary School 27 abaatwaliddwa mu ddwaliro nti baalidde butwa.
Omukulu w’essomero lino James Peter Odeke agamba abaana bano yalabidde awo nga batandise okusesema wamu n’okusinda olubuto ku lwokuna ekiro.
Aduumira poliisi ye Soroti Moses Ochieng agamba okunonyereza kwebakoze kulaga nga bano bwebawereddwa emmere enyogoga wabula…
Omukulembeze wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni awadde district y’eKalungu Obukadde bw’ensimbi 100 basobole okuzimba ekitebe kya district.
Ssentebe wa district eno Richard Kyabaggu yaayanjizza ensimbi zino naagamba nti ng’omukulembeze musanyufu okulaba nti bagenda kufuna ebizimbe byabwe olwensonga nti Buganda ebasaba ensimbi nnyingi ez’omwezi.
Akulira abakozi ku district y’eKalungu Davis Beyeza Dembe agamba ensimbi ezibaweereddwa zaakubayambako kinene era…