Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abasomesa b’e Makerere babanja

Ekibiina ekigatta abasomesa ku ssentendekero w’eMakerere batabukidde abatwala ettendekero lino okusasula mangu emisaala gy’abasomesa egy’omwezi gwa June.   Ssentebe w’ekibiina kino Muhammad Kiguddu agamba abasomesa banop nabo balina ebyetaago n’obuvunanyizibwa bwebalina okutukiriza ne ssente zino kale nga bazetaaga olunaku lwenkya nga telunaggwako wamu n’ensako yaabwe ey’emyezi 5.   Bano baweze okuteeka wansi ebikola mu lusoma oluggulawo omwezi ogujja okugyako…

Read More

Abasudani banji bakonzibye

Okukonziba mu baana byebimu ku bizibu ebisinga okutagaza ababundabunda okuva mu ggwanga lya South Sudan. Okusinziira ku kitongole kya  UNICEF abamu ku bayamba ku babundabunda bano, abaana 5 ku buli kikumi baakoziba olw’endya embi. Omwogezi w’ekitongole kino Proscovia Nakibuuka Mbonye agamba ebbula ly’amazzi n’obukyafu byebimu ku bisinze okutawanya abali mu nkambi mu kitundu kye Elegu. Wabula agamba kati…

Read More

Ekirwadde kyakatta 5 e Bukomansimbi

Omuwendo gw’abantu   abaakafa ekirwadde ekitanategrekeka e Bukomansimbi gulinye okutuuka ku bantu 5. Abaakafa ekilwadde kino kulikon Aisha Nabiddo, Jonathan Lukyamuzi n’omulalala atanaba kutegerekeka nga bonna bakukyalo Kamanda.   Abalala kuliko  Stella Nanyonjo ow’emyaka 2 nemukuluwe Juliet Namulindwa 4 bonna nga bawala ba Edward Kayondo omutuuze ku kyalo  Kiryamenvu mu gombolola ye Butenga.   Ssentebe wa disitulikiti ye  Bukomansimbi Muhammad Kateregga…

Read More

Eyaguze amayembe gamusse

  Entiisa ebutikidde abatuuze be Byakabanda mu disitulikiti ye Rakai amayembe bwegatuze munaabwe negamutta. Zaverio Matovu 70 omutuuze ku kyalo  Kasabukengere y’atondose n’afa oluvanyuma lw’amayembe okumulinya ku jjoba olumwamuse n’afa. Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo Kasabukengere Daniel Mpagi , Matovu ono y’ali yagamba banne nga ebyekika bwebyamulagira agende abitereeze mu kyalo nabitwala nga ebyolubalaato nebimutabukira.   Wabula akawungeezi akayise yapondoose n’akunganya…

Read More

Emisango gy’okusobya ku baana gyeyongedde e Mbale

Emisango gy’obutemu n’okusobya ku baana abatanetuuka gy’emisango egikulembedde mwegyo omulamuzi David Mwangutusi gy’agenda okuwulira ekirindi e Mbale.   Nga aggulawo kkooti y’ekikungo omulamuzi Wangatusi ategezezza nti ku misango 40 gy’agenda okuwulira , 16 gyabutemu, 16 gyakujjula bitanajja, 6 gyakubbisa mundu sso nga okukwata abakazi gili 2.   Omulamuzi agamba abazadde balina okunenyezebwa kubanga bangi abaana baabwe abobuwala baabafuula kyabusuubuzi…

Read More

Ababbi b’agayinja balumbye Sembabule

Poliisi ye Sembabule eri ku muyiggo gw’ababbi abalumbye ekyalo ekirala nebakinyagulula.  Abatuuze abasinze okukosebwa kuliko George William Muyimba gwebabbyeko obukadde bibiri mwemitwalo nsavu ne Sam Bbale Kasumba gwebanyazeko ensimbi eziwerako n’ebintu byomunyumba.   Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo Katimba , ababbi bano batyambula n’oguynza gwebaggunda ku nziji nebayingiza ekifuba nebanyagulula.   Mukasa kati agamba bali mu…

Read More

E Lwengo entobzzi bazimalawo

  Abamu ku batuuze mu disitulikiti ye Lwengo beralikiridde olw’abantu abasusizza okusanyaawo entobazi. Abatuuze bagamba waliwo abesomye okusanyawo ebitoogo okukybamu amataffaali n’abalala okulimiramu. Ssentebe wa disitulikiti ye Lwengo  George Mutabazi  alabudde abatandise okusanyawo obutonde bwensi nti bakuvunanibwa kubanga bebavuddeko ekyeeya okugoya ekitundu kyabwe.

Read More

Omusajja abbye embuzi 6

poliisi ye  Namutumba eriko omukazi ow’emyaka 34 gwekutte lwakubba embuzi 6. Omukwate ategerekese nga Esther Namulondo omutuuze mu tawuni kanso ye  Namutumba nga era embuzi za Christopher Nabongo ow’okukyalo kyekimu. Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Namutumba Michael Esau Odoi agamba embuzi zino zisangiddwa mu maka g’omukwate nga yasazeeko dda emu. Kati ono wakuggulwako gwakubba mbuzi.

Read More

Omusajja bamukutte n’eminya

Poliisi ye Jinja eriko omusajja gwekutte n’eminya 20 nga agenda gitunda. Omukwate ategerekese nga  Michael Obonyo nga akwatiddwa ku kkolero webal;ongosereza amaliba gy’abadde agenze okutunda eminya gino.   Abakuumi b’ekkolero lino bebakutte omusajja ono n’eminya n’ategeeza nga bwagiggye ku mukyalawe. Omwogezi wa poliisi mu Kiira north Samson Lubega agamba bakyanonyeerza wa omusajja ono gy’aggye eminya gino nga era bakumuggulako…

Read More