Poliisi ku nsalo mu kitundu kye Elegu ekyakola bukubirire okulaba nga egyawo ekibinja ky’abantu ekyokubiri bebanunudde okuva mu ggwanga lya South Sudan olunaku lweggulo.
Omwogezi w’amagye ga UPDF LT col Paddy Ankunda agamba abantu 4500 bebanunuddwa okuva mu ggwanga lya South Sudan.
Kati omwogezi wa poliisi okuva mu bitundu bya Aswa Jimmy Patrick Okema agamba bakolagana n’ebitongole…
Poliisi ye Kamuli eyodde abantu 60 abakeera mu birabo by’omwenge okutamiruukuka.
Bano poliisi amakya gleero ebakedde nga misa nga era bano baateredde dda bawunzika ndeku.
Mu bakwatiddwa kubaddeko n’abaana b’amasomero 30 nga bano okunywa omwenge kubasinga ebitabo.
Akulira ebikwekweto hya poliisi e Kamuli Awuyo morris agamba abantu tebakyakola bakeera kukongojja omumbejja Namaalwa.
Agamba abawala abakwatiddwa bakukola bulungi bwansi
Ono asabye…
Amadda g’omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze okuva mu ddwaliro e South Africa gongezeddwayo.
Nambooze abadde alina kudda olunaku lwaleero okuva mu kibuga Jihannesburg.
Wabula omuyambi w’omubaka ono Namugera Robert agamba abasawo baawadde Nambooze amagezi agira alindako embeera ye eterere olwo asobole okutambula obulungi.
Nambooze yaddusibwa mu ggwanga lya South Africa oluvanyuma lw’okufuna okulumizibwa mu lubuto.
Gavumenti yakuno esabiddwa okwongera okubangula bekikwatako ku nsonga z’ettaka okusobola okulwanyisa enkaaya z’ettaka mu ggwanga.
Ab’ekibiina ekilwanirira obwerufu ekya Transparency International Uganda bagamba osanga kino kinayamba ankaayana zino okukkakana.
Mu lukungaana lwakubye nebekikwatako ku by’ettaka e Mukono, omukwanaganya w’ekibiina kino Paddy Auyo era asabye nebanaansi babojiwaze ku nsonga ezikwata ku by’ettaka.
Agamba abantu bangi batulugunyizibwa wabula tebamanyi wakuddukira…
Amasasi ganyoose ku poliisi ye Bukomansimbi omusibe bw’atolose mu kaduukulu ka poliisi.
Omusibe onio ategerekeseko erya Edward poliisi yamutasiiza ku batuuze abaabadde baagala okumutta oluvanyuma lw’okumukwata n’emmwanyi enzibe.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Ibin Ssenkumbi agamba omusajja ono baamutadde mu kaduukulu akawufu ku balala kubanga y’abadde atonyolokoka musaayi nga yetaaga okujanjabibwa.
Wabula kabbira ono olwafunyemu amaayi…
Poliisi ye Kibinge mu disitulikiti ye Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’ababbi abatanaba kutegerekeka abaalumbye ebyalo ebyanjawulo nabanyagulula abatuuze.
Ssentebe w’egombolola ye Kibinge Sowedi SSerwadda agamba ababbi bano okusinga banyaguludde sitoowa z’emmwanyi.
Omu ku basinze okukosebwa ye Patrick Kibirige gwebabbyeko ensawo z’emmwanyi 20 nga ne Patrick Sseruyange bamubyeko emmwanyi ezibalirwamu obukadde obusoba mu 2.
Ssentebe Sserwadda agamba batebereza okuba…
Abasawo mu ddwaliro lye Naguru bemlugunyizza eri minisita wa Kampala Betty Kamya ku bbula ly’ebisenge webateeka abalwadde abayitiidde abeyiwa eno oluvanyuma lw’okuggala ebimu ku bitundu by’eddwaliro ekkulu e Mulago.
Minisita Kamya , meeya we Nakawa Ronald Balimweso wamu nebakansalabe balambudde eddwaliro lino okulaba embeera gyelirimu n’engero y’okubayambamu.
kati akulira eddwaliro lino ategezezza nga bwebafunaabalwadde abasoba mu 1000…
Kkooti enkulu yakusalawo olunaku lwenkya ku kusaba kwa DR Kiiza Besigye okweyimirirwa.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Wilson Masalu Musene amakya galeero lwawulirizza okusaba kuno n’asalawo ensalaye agiwe olunaku lwenkya.
Besigye nga ayita mu munnamateekawe Earnest Kalibbala ayanjizza ensonga ezenjawulo lwaki ayagala omuntun we ayimbulwe n’ategeeza nga Besigye bwakuliridde ku myaka 62, ssemateeka amukkiriza okweyimirirwa sso nga alina…
Kikakasiddwa nga bannayuganda 2 bwebafiiridde mu kulwanagana okugenda mu maaso mu ggwanga lya South Sudan.
Abagenzi bategerekese nga Dr kyandiga Ben omutabuzi w’eddagala ne Batere ceaser abadde avuga emmotoka z’ekibiina ky’amawanga amagatte .
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga embeera ekyali ya bwerinde nga kati teli munnayuganda wakukirizibwa kusala kuyingira South Sudan okutuusa nga…
Olwaleero bwejiweze emyaka 6 bukyanga batujju ba Al-Shabaab batta abasoba mu 70 mu 2010.
Abatujju bano batulisa bbomu ezemirundi wali ku Ethiopian Village e Kabalagala wamu ne ku Kyaddondo Rugby grounds nemufiiramu abaali balaba fayinolo za world cup.
Amyuka akulira essengejjero lya mawulire ga gavumenti Col Shaban Bantariza agamba kuluno teri mikolo gyakujjukira lunaku luno kubanga ensonga…