Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Uganda eyiye amagye ku nsalo ya South Sudan

Oluvanyuma lwokulwanagana okudda mu ggwanga lya South Sudan, Uganda eyiye amagye ku nsalo eyawulo amawanga gombi okwewala okulwanagana okuyingira mu nsalo zaayo.   Okulwanagana kwazzemu ku lwokutaano lwa sabbiiti ewedde nga amagye g’omukulembeze w’eggwanga Salva Kiir n’agakiririza mu mumyukawe   Riak Machar bwegegudde mu malaka.   Amagye ga  Riek Machar galumiriza aga gavumenti okulumba enfo zaabwe. Mu 2014 bwewaliyo okulwanagana Uganda…

Read More

Gwebamenyedde omudaala alumbye KCCA

Wabaddewo katemba ku kitebe ky'ekitongole kya KCCA wano mu Kampala, omukyala bwagumbye awo nabamaka ge nganenya abekitongole ekitwala ekibuga okumenya omudaala gwe. Nassazi Annet omutuuze mu bitundu bye Kisaasi, nga nakazadde w’abaana 4 yekalakasizza ngalaga obutali bumativu oluvanyuma lwabakwasisa amateeka mu KCCA okumenya omuddaala gwe wali katale ka Usafi ku Kalitunsi ku luguudo lwe Entebbe. Nassazi agamba…

Read More

owa NRM aluyiseeko

Kooti enkulu wano mu Kampala egobye omusango gwebyokulonda ogubadde guwakanya obuwanguzi bwa munna NRM Agnes Kunihira ngomubaka omukyala akikirirra abakozi. Eyali omubaka Marion Tunde yawalawala Kunihira okutuuk mu kkooti nga mulumiriza okumenya amateeka gebyokulonda okwali nokugulika abalonzi nakakiiko kebyokulonda akamenya amateeka negatagobererwa mu kulonda kwabakozi okwaliwo mugwokusattu omwaka guno. Omulamuzi Rugadya Atwooki ategezezza nti Tunde alamerereddwa okukakasa ensonga…

Read More

Ababbi ba mobile money babakutte

Poliisi  mu kiwayi Flying Squad eriko emmundu 2 z’enunudde n'ekwata nabantu 9 nga bekuusa ku bubbi bwazzi mobile money saako ne mmotoka. Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku CPS, ekitebbe kya poliisi mu Kampala omuddumizi wekiwayi kino Rutaaya Muhangi ategezezza nti emmundu zajiddwa mu district ye Iganga nga n'ezimu bazikukunudde wano Kawempe. Abakwate kigambibwa bebabba ne mmotokka yomuyimbi…

Read More

Abantu 3 battiddwa mu district ye Shema.

Poliisi mu district ye Shema ekutte abantu 6 ku byekuusa ku ttemu eribadde mu district eno, abantu 3 bwebattiddwa mu bulumbaganyi obwabadde ku ssomero lya kyojera Secondary School. Okusinziira ku poliisi, abatamanya ngamba balumbye essomero lino nebatta abakuumi 2 n’omufumbi omu mu kiro. Bw’abadde ayogerako naffe, omuddumizi wa poliisi mu district ye Shema Christopher Ruhunde abalumbye babadde…

Read More

Eid ya nkya

Oluvanyuma lw’omwezi obutaboneka akawungeezi k’eggulo abayisiraamu kati basabiddwa okwetegekera okukuza Eid fitr olunaku lwenkya.   Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa akulira ekitongole kya Sharia mu Uganda Muslim Supree Council Sheik Yahaya Kakungulu, abasiraamu kati bakujuza ennaku 30 ekitegeeza nti Eid yankya.   Omwogezi w’olukiiko luno wali ku kampala mukadde Hajji Nsereko Mutumba agamba okusaala kwakugenda mu maaso mu mizikiti egyenjawulo.

Read More

Omuzzukulu asse Jajjawe lwa ttaka

File Photo: Police nga ekola ogwayo Poliisi ye Kabale ekutte omuvubuka ow’emyaka 20 lwakutta jajjawe ow’emyaka 78. Omukwate ono ategerekese nga  Peter Rukundo omuyizi ku ssomero lya  Kigata high school. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye  kigezi  Elly matte, omukwate ono kigambibwa okuba nti yasse Daniel Munanura owokukyalo  Rushambya mu gombolola ye  Kanjobe . Omuzzukulu ono yafuna obutakkanya ne…

Read More

Abatujju balumbye ekibuga kya Nabbi Muhammad

Nga beetegekera Eid olunaku lw'enkya, bananasi mu ggwanga lya Saudi Arabia baguddemu entiisa lumira mwoyo bweyetulisizzako bbomu mu kibuga kya Nabbi ekitukuvu ekye Madina nemufiiramu abakuumi 4.   Lumira mwoyo ono abadde agezaako okuyingira omuzikiti gwa Nabbi nebamulabukirira wabweru neyetulisa.   Omuzikiti guno Mukulu nyo mu byafaayo byobuyisiraamu nga webaziika nabbi Muhammad. Abamu…

Read More

Boda ezisoba mu 5000 ziyooleddwa

  Poliisi y’ebidduka wano mu kampala n’emiriraano yakayoola pikipiki za bodaboda ezisoba mu 5000 lwakumenya mateeka gakunguudo. File Photo: Abavuuzi ba Boda boda Aduumira poliisi y’ebiduka mu Kampala n’emiriraano Norman Musinga agamba basinze kukwata boda z’abo abatalina pamiti, abatikka omusaabaze asukka mwomu abavuga obubi n’ebisobyo ebirala.   Musinga agamba bino temuli byabufuzi baagala kutereeza byantambula mu Kampala.

Read More

2 bafiiridde mu kabenje

Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Maska okudda e Mbarara. Akabenje kano kagudde mu Lwengo baasi ya Kampuni ya Jaguar bweyambalaganye bukanzu ne kanta y’amatooke ebadde eyingira Kampala.   Abafudde kubaddeko Nathan Kabagumira ne Kikungire Teopista nga bonna babadde mu kanta y’amatooke.   Omwogezi wa  poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Ibn Ssenkumbi ategezezza nga akabenje kano…

Read More