Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde embalirira ya buwuumbi obusoba mu 73, eri olukiiko lwa Buganda olutudde ku Bulange e Mengo.
Bw’abadde ayanja embalirira eno, Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategezeeza nga Obwakabaka bwe bulina ekirubirirwa eky’okutumbuula embeera y’abantu ba Buganda naddala mu by’obulamu, eby’obulimi-n’0buluuzi saako eby’enjigiriza.
Nsibirwa ategezeeza nti Buganda n’ekigendererwa eky’okutuuka ku ntiko, esaana okunyweeza…
Ekirwadde kya Cholera kizzemu okubalukawo mu disitulikiti ye Hoima.
Avunanayizibwa ku kulondoola endwadde mu disitulikiti eno Fred Kugonza agamba kati abantu 100 bebakakwatibwa obulwadde buno nga era bbo bategezezza minisitule y’ebyobulamu ku nsonga eno.
Ab’ebyobuloamu kati babakanye ne kawefube w’okukunga abantu okuzimba zi kabuyonjo wamu n’okuddabiriza ezo eziri mu mbeera embi nga kwotadde n’okusomesa abantu akalungi akali…
Abantu 31 abavunanibwa okutta abakulembeze babayisiraamu okwetolola eggwanga babatuusizza wali mu kkooti enkulu.
Zzo enguudo zonna ezoolekera ku kkooti eno zigaddwa nga era okuyitawo osooka kwazibwa.
Omusango guno gwakubeera mu maaso g’abalamuzi 3 okuli Ezekiel Muhanguzi, Percy Tuhaise ne Jane Kigundu.
Abavunaanwa kuliko akulira abatabuliiki ku muzikiti gwe Nakasero seeka Yunus Kamoga ne muganadawe seeka Kawooya bano nga…
Fille Photo: Akena nga yogeera
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kiiza aweze obutateeka muntu yenna ava mu kibiina kya UPC mu gavumenti ye eyekisiikirize esuubirwa okulangirirwa essaawa yonna okuva kati.
Kino kiddiridde ab’ekibiina kino ekilemberwa Jimmy Akena okwongera okwekwenyakwenya n’abekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM nga era bakyavumirira ekya munna UPC Betty Amongi nga era…
Abekalakaasi mu ggwanga lya kenya bakwekalakasa n’emmese 200 mu kibuga Nyeri.
Akulira abekalakaasi bano John Wamagata agamba bakuleeta emmese zino 200 zidduke okwetolola ekibuga kyonna.
Bano bawakanya ekiteeso kya palamenti okusasanya obukadde bwe Kenya 75 okuzimba ekifo ababaka bano webasobola okukolera duyiro.
Ekifo kino kyakubeerako gym, ekidiba webawugira sauna n’ebirala.
Ebbula ly’omusaayi lizinzeeko disitulikiti ye Buliisa.
Akulira ebyobulamu mu disitulikiti eno Dr Samuel Onyait agamba abakyala bangi bafiira mu ssanya n’abaana baabwe lwabbula lyamusaayi mu ddwaliro ekkuli erye Hoima.
Agamba eddwaliro lino tebaliwaanga lukusa kubeera nakifo kyalyo webatereka omusaayi kale nga bafuna obuzibu okufuna omusaayi okutaasa obulamu.
Dr Onyait agamba kizibu okufuna omusaayi okuva mu tterekero ly’omusaayi e…
File Photo: Muna Fdc Ingrid Turinawe
omukunzi w’ekibiina kya FDC Ingrid Turinawe n’bakyala abalala abatanaba kutegerekeka bakwatiddwa nga batambula okuva ku kkooti.
Bano bakwatiddwa bakunumba mu kibinja olwo poliisi nebayoola nga batuuse wali ku spear motors.
Aduumira poliisi mu bukiika kkono bwa Kampala Siraje Bakaleke ategezezza nga bano bwebatwaliddwa ku poliisi ya kiira nga era bakugulwako gwakumenya tteeka…
File Photo:Muna Fdc Winne kizza nga layiila
Omubaka wa disitulikiti ye Kasese Winnie Kiiza akwasiddwa ofiisi y’akulira abavuganya gavumenti mu butongole okudda mu kifo kya Wafula Ogutu.
Kiizakati yweokuna okutuula mu ofiisi eno era omukyala asookedde ddala bukyanga Uganda yefuga.
Amangu ddala nga yakalayira, Kiiza asabye gavumenti okussa ekitiibwa mu bitongole byayo wamu n’okukomya okutuntuza ab’oludda oluvuganya gavumenti.
Ono…
Omubaka omulala agobeddwa mu palamenti.
Kkooti enkulu eye Mbale egobye omubaka Vincent Woboya ow’ekibiina kya NRM lwabutalekulira mulimu gwe nga tanaba kwesimbawo nga amateeka bwegalagira.
Omulamuzi Andrew Bashaija mu nsalaye ategezezza nga Woboyo bw’alamereddwa okulaga kkooti nti ddala yalekulira omulimu gwe ogwa gavumenti nga omukozi mu ofiisi ya ssabaminisita nga tanasunsulibwa.
Nga awa ansalaye ku musango guno, omulamuzi…
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Mitijera mu disitulikiti ye Bukomansimbi oluvanyuma lwomu ku munaabwe okunywa waragi n’amukanula.
Omugenzi ategerekese nga Paul Kasujjanga era kigambibwa okuba nti akawungeezi akayise y’anywedde omwenge nga asiibula ensi okukkakana nga era agisibudde.
Abatuuze bagamba nti Kasujja abadde mutamiivu walulango nga era era mukuwunzika endeku tawunyikamu wabula nga bwebagamba nti kitta akimanyidde enyanja…